TOP
  • Home
  • Agookya
  • Abaserikale abagambibwa okwenyigira mu kutta Kaweesi babaggyeeko omusaayi

Abaserikale abagambibwa okwenyigira mu kutta Kaweesi babaggyeeko omusaayi

By Musasi wa Bukedde

Added 5th July 2018

Abaserikale abagambibwa okwenyigira mu kutta Kaweesi babaggyeeko omusaayi

Aaaaaaabig703422 703x422

Omugenzi Kaweesi

Abaserikale ba poliisi abagambibwa okwenyigira mu butemu bw’eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga AIGP/Andrew Felix Kaweesi abaakakwatibwa abaali ab’ekitongole kya Flying squad bonna bagenda kutwalibwa baggyibweko omusaayi bagukebere okwongera okuzuula ekituufu.

Ab’ebitongole by’amagye ebikessi okuli ekya ISO ekikettera munda mu ggwanga ne CIM baakwata abaserikale ba Flying Squad okwali n’eyali agiduumira AC, Herbert Muhangi n’abalala okwali Abel Kitagenda eyayamba ennyo okubabuulira ebyaliwo na buli omu kye yakola era oluvannyuma ne batandika okukwata ne bakama be.

Abaserikale bano bonna baakuggyibwako omusaayi bongere okugwetegereza nga bagugeraageranya n’obujulizi obulala bwe baggya mu kifo we battira Kaweesi n’emmundu ezigambibwa nti ze baakozesa okumutta.

Nga kino kiwedde amagye gagenda kubazzaayo e Kkulambiro we battira Kaweesi bongere okubabuuza n’okuzuula ebiyinza okwongera okuleeta obujulizi bw’obutemu, banguyirwe okunoonyereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

Kid2 220x290

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga...

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga bijanjaalo

Got2 220x290

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale...

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke