TOP

Aba 'Mobile Money' beezoobye ne Poliisi

By Ponsiano Nsimbi

Added 5th July 2018

ABAKOLA bizinensi ya mobile money mu Kampala abeegattira mu kibiina kya Kampala Mobile Money Dealers Association beezoobye ne poliisi ng’ebalemesa okutwala ekiwandiiko kyabwe ewa siipika wa palamenti Rebecca Kadaga mwe bawakanyiza omusolo ogwateekeddwa ku bizinesi zaabwe.

Mobile 703x422

Abapoliisi nga banywezezza Lukyamuzi, eyakuliddemu aba Mobile money okwekalakaasa.

 
Ku Lwokuna ku makya nga bakulembeddwaamu ssentebe waabwe Mathias Lukyamuzi, olugendo baalutandikidde ku nkulungo y’e Kibuye nga bambadde emijoozi gya kkampuni z’amasimu okuli MTN ne Airtel. Baabadde bakutte n’ebipande okuli ebigambo ebyenjawulo.
 
Mu bimu ku bigambo kwabaddeko n’ebyatulira ababaka ba palamenti nti bye bateesa tebabitegeera bulungi (nga bajjukiza nti ababaka baabwe baaliwo nga bayisa omusolo guno), okulumba gavumenti okubaggyako emisolo egikosa bizinensi zaabwe n’ensonga endala.
 
Wabula bano poliisi teyabaganyizza kutuuka ku mulyango gwa palamenti n’ebambalira nga bw’ebaggyako ebipande bye baabadde bakutte.
 
Oluvannyuma poliisi yabawulirizza n’ebasaba beerondemu bannaabwe basatu bokka okutwala ekiwandiiko kyabwe ewa siipika kyokka olwabadde okwesowolayo ate poliisi n’ebeefuulira n’ebakwata n’ebakuba ku kabangali zaayo olwo abalala ne babuna emiwabo.
 
Lukyamuzi yavumiridde ekikolwa kya poliisi okubalemesa okutuusa ekiwandiiko kyabwe n’okukwata bannaabwe ate nga baabadde bafunye olukusa okuva ew’omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola.
 
Salmah Nassuuna, omu ku bakulu mu kibiina ky’aba Mobile Money yagambye nti gavumenti erina okubawuliriza okwewala bizinensi zaabwe okusaanawo.
 
Poliisi ekuuma ku Palamenti yalabye abeekalakaasa beeyongera nayo n’eyongera obukuumi n’okuyita ebimotoka ebikkakkanya obujagalalo ebyagobye abantu okubatuusa ku kibangirizi kya Consititution Square.
 
Bino we bijjidde nga Pulezidenti Museveni yaakalagira ekitongole kya URA okuyimiriza okuggya omusolo ku bantu nga bateeka ssente ku ssimu zaabwe era n’alagira n’abo abaziggyayo okusalibwako omusolo omutono gwa butundu kya 0.5 ku 100, mu kifo kya ekitundu 1 ku 100 nga bwe kyasoose okutegeezebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...