TOP

Spice Diana alaze waaka

By Martin Ndijjo

Added 5th July 2018

Abaneerijjako mbakubisa waaka nga nneeyongerayo” bwatyo Spice Diana bwe yatandise ng’ayogera ku nnyimba ze empya.

B 703x422

Spice Diana ng'ayogera

Abaneerijjako mbakubisa waaka nga nneeyongerayo” bwatyo Spice Diana bwe yatandise ng’ayogera ku nnyimba ze empya.

 

Mu nkola etali ya bulijjo, Spice Diana (Hajjara Namukwaya) yafulumizza ennyimba biri (Bwebityo ne Twebereremu) omulundi gumu era yazitongolezza mu lukung’aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku Laftaz  ekimu ku bifo ebisanyukirwamu ku Centenary Park mu Kampala.

 

“Bulijjo ennyimba tuzitongelezza mu mabbala oba ku bivvulu naye ku mulundi nsanzewo waaka wange nsooke mulage  bannamawulire okubasiima olw’omulumu omulungi gwe mukoze okutumbula erinnya lyange ne nnyimba zange.”  Spice Diana omu ku bayimbi abaleese amaanyi mu nsiike y’okuyimba wano mu ggwanga bwe yagambye.

 

Ennyimba zombi zazannyiddwa ku ntimbe za Ttiivi mu maaso ga bannamawulire nga ziwedde yabagambye nti buli muntu wa ddembe okuwabula oba okwogera ekyo ky’alaba ekibuuzemu.

 

Ng’ayogera ku luyimba ‘Twebereremu’ yagambye  nti omulamwa nti oluyimba yaluggya ku mbeera abayimbi gye bazze bafamu etategereekeka okuli; Moze Radio n’abalala

 pice iana nabamu ku bayimbi be yabadde nabbo Spice Diana n'abamu ku bayimbi be yabadde nabbo

 

 

Eby’abasajja si byendiko.

Mu bimu ku bibuuzo abamawulire bye bamubuuzizza y’enkolagana ye ne Weasel era ababulire n’omusajja amubiita.

 

Wabula Spice Diana yazzemu nti “Ndi muwala mulungi  mu ndabika, ffiiga ninna era nkimanyi abasajja bangi abaneegwanyiza naye mu kiseera kino siri ku bya laavu nkyemalidde ku muziki wange okulaba nga ntuukiriza ebirooto byange.”

 

Ku kya Weasel yagambye nti mukwano gwange okumala ebbanga era nennyimba ezawamu nga 32 n’enddala ziri mu situduyo.

 

Alajjanye ku musolo gwa ‘soso mediya’

Spice Diana naye yeegase ku bayimbi n’abantu abalala abavuddeyo okusaba gavumenti ebakwatireko ku musolo gwa soso mediya agamba gukosezza enzirukaya y’emirimu.

 

“Emikutu gya ‘soso midiya’ gye gimu mikutu gye tukozesa okutumbula bye tukola era ffe abamu twatandise dda okukosebwa. Ku Ssande omusolo guno 200/- lwe gwatandise okukola ninna obubaka bwe natadde ku mukutu gwange ogwa Face book, ekyewuunyisa nafunye abantu basatu mu lunaku olulamba abawereeza obubaka kw’ebyo bye nawandiise kyokka buli lwe mbadde nteekayo nga nfuna abantu abataka wansi wa 100.”

 

Ye Weasel okwawuukanaku ne Spice Diana yagambye nti omusolo guno gugenda kubayamba ku bantu ababadde ba bayita ku mikutu gya sosolo midiya okubavuma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namu 220x290

Tuzudde enfo ya Mugisha eyattaowa...

Bosco Mugisha eyakwatibwa ku katambi ne Young Mulo nga batuga owa bodaboda, abadde n’enfo mu Ndeeba w’abadde asinziira...

Youngmulo 220x290

Akabinja ka Young Mulo kabadde...

AKABINJA ka Young Mulo, mu myezi mukaaga gyokka kabadde kaakatta abantu 11 mu Makindye ne Lubaga wokka!

Siiga 220x290

Boogedde ebifo gye batunda pikipiki...

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti Mulo ne banne baabagambye nti pikipiki ze babadde babba...

Yomba1 220x290

Aba Flying Squad bakutte omulala...

AB’EKITONGOLE kya poliisi ekya Flying Squad Unit bongedde okukwata abagambibwa okutta ababodaboda n’okubabba. Ku...

Dybala 220x290

Juventus etaddewo obukwakkulizo...

ManU eyagala kugula Dybala wabula Juventus egamba nti erina okutuukiriza obukwakkulizo bwonna bw'eba yaakumutwala....