TOP
  • Home
  • Agookya
  • ISO ne CMI balwana bwezizingirire okuziba ebituli mu musango gw'abatta Kaweesi

ISO ne CMI balwana bwezizingirire okuziba ebituli mu musango gw'abatta Kaweesi

By Musasi wa Bukedde

Added 6th July 2018

Okunoonyereza ku by’okutemula Kaweesi okupya kunaatera okumalirizibwa fayiro esindikibwe mu kkooti kyokka kino, tekibadde kyangu naddala ku ludda lwa ISO ne CMI olw’ebituli ebingi bye babadde balina okuziba mu fayiro.

Kawe 703x422

Kayihura ( ku ddyo) ne Kaweesi lwe baali bava e Makerere we battira Abachina.

Okunoonyereza ku by’okutemula Kaweesi okupya kunaatera okumalirizibwa fayiro esindikibwe mu kkooti kyokka kino, tekibadde kyangu naddala ku ludda lwa ISO ne CMI olw’ebituli ebingi bye babadde balina okuziba mu fayiro.

ISO ne CMI okunoonyereza kwabwe baakutandikirawo nga Kaweesi yaakamala okuttibwa nga March17, 2017 kyokka ne basooka bawa poliisi ekyanya ekole okwayo bbo nga bwe bagiyambako awaba weetagisizza okutuusa mu September wa 2017 lwe baakizuula nti waliwo ekikyamu mu kunoonyereza.

Okusinziira ku nsonda mu bitongole byombi, poliisi bwe yatwala abasibe mu kkooti, baakizuula nti, abaali batwaliddwa tebaali batuufu kwekwongera amaanyi mu kunoonyereza ISO n’ekwata omusajja amanyiddwa nga Rasta.

Ensonda zigattako nti, okutuuka okuba nga abasemberera okumaliriza fayiro tebibadde byangu mubaddemu okubuuka enkonge n’ebisirikko olw’abantu abangi abalina ebiruubirirwa ebyabwe mu fayiro era ISO ezze eziba ebituli kimu ku kimu.

“Fayiro eno nzibu nga bw’okiwulira abantu bano baali bagezi nnyo, baatwala obudde bwabwe ne batta buli kintu we tusobola okusinziira okubakwatira mu musango guno naye naffe tuli bagezi ekimala.” mbega wa ISO bwe yategeezezza.

ABASIBE ABAKADDE N’ABA PYA

Okuva ku basibe poliisi be yakwata n’ebatulugunya bakkirize emisango kyeyoleka lwatu nti waliwo ekitaali kituufu. Poliisi yakwata abasibe abasoba mu 40, okwali ne meeya w’e Kamwenge Godfrey Byamukama.

Byamukama baamusokoola amaviivi nga bamutulugunya akkirize okwenyigira mu kutta Kaweesi.

Omulala ye; Godfrey Galabuzi Musisi eyali omujaasi w’eggye erikuuma Pulezidenti, mukyala we n’abakozi nga bano be bamu ku basibe abaatwalibwa mu kkooti oluvannyuma ne bayimbulwa nga tebavunaaniddwa.

Abalala 22, okuli; Abdu Rashid Mbazira Buyondo Muhammed, Aramazan Higenyi Noordin (Taata Abdallazack ), Mugerwa Yusuf amanyiddwa nga Wilson, Bruhan Balyejusa nga abamu bamuyita- Masiga Jimmy Ogutu, Kyambadde, Jibril Kalyango, Abu Aisha, Yusuf Nyanzi Siraje aka Ssentamu Jimmy, Shafiq Kasujja ne Joshua Kyambadde.

Okuziba ekituli, abasibe ISO be yabadde ekwata, terina muntu yenna alina kakwate ku baasooka kukwatibwa.

Be yakutte ng’ebateebereza okwenyigira mu butemu buno baawufu nnyo ku baasooka okukwatibwa.

Mu kunoonyereza, ISO yakutte abagambibwa nti beebenyigira mu butemu, abasinga obungi baserikale abaali aba Flying Squad.

Ku bano kuliko eyali mukama waabwe, ACP Herbert Muhangi, Abel Kitagenda, Martin Kimbowa, Moses Kasibante oluusi eyeeyita Kasiba, Chris Ahimbisibwe.

Abalala be yakutte bagenda kubeeyambisa nga bajulizi, okuli Rasta yaliyo e Kulambiro era ye yavuga emu ku pikipiki, Christine Mbabazi Muhoza eyali muninkini wa Kaweesi n’abalala babiri.

Okusinziira ku dayirekita wa ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda, omwezi gwa December 2017 gwagenda okutuuka ng’abantu abaasika emmanduso okutta Kaweesi, Kenneth Erau eyali omukuumi ne ddereeva Godfrey Mambewa babalina mu kaduukulu.

Ensonda zigamba nti, kino kyabayamba okuzuula abeenyigira mu butemu ne buli omu kye yakola kyokka kibabeeeredde kizibu okuzuula obujulizi obwenkukunala ku baserikale naddala b’amayinja be baakwata.

OBUJULIZI N’EBIZIBITI

Ebizibiti byonna poliisi bye yali eyagala okweyambisa mu kkooti, kyazuulwa nti byali bipange, okuggyako emmotoka eyakubwa amasasi yokka.

Ebisosonkole by’amasasi, ebituufu byaggyibwawo, emmundu ze bateeka ku basibe abaakwatibwa nazo kigambibwa nti baazipanga, entuufu amagye gaazizudde mu kunoonyereza okupya.

Abantu abaalina okuwa obujulizi mu kkooti, kyazuuliddwa nti nabo baali bapangiddwa, bano baweebwa ebyokwogera omujaasi wa CMI. Lt. Kagina eyakwatibwa.

Kigambibwa nti ono yali akolera wamu n’abalala okuli ne bamayinja ba poliisi okwali ne Col. Ndahura Atwoki amagye gwe gaavunaanye.

Ensonda zaategeezezza nti, buli kye bakola essaawa eno, okuzuula obujulizi ku baserikale abaakwatiddwa, bakikola bakozesa tekinologiya okulaba engeri gye basobola okufuna ebyo bye baasaanyawo mu bugenderevu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta

Rip2 220x290

Engeri omukuumi gye yakubyemu bboosi...

Engeri omukuumi gye yakubyemu bboosi we essasi