TOP

Yinginiya w'amasimu akwatiddwa ku bya Kaweesi

By Musasi wa Bukedde

Added 7th July 2018

Yinginiya w'amasimu akwatiddwa ku bya Kaweesi

Yi1 703x422

Felix Kaweesi

BAMBEGA b’ekitongole kya ISO bakutte yinginiya wa kkampuni y’amasimu agambibwa nti yamanya ku by’okutemulwa kwa Andrew Felix Kaweesi n’ayambako abatemu okusangula bwino alaga amasimu agaakubwa mu kuluka misoni n’oluvannyuma ng’emaze okutuukirizibwa.

Eyakwatiddwa (amannya gasirikiddwa), yinginiya wa kompyuta omu ku balina olukusa ku kifo kkampuni y’amasimu emu mu Uganda gy’etereka bwino yenna ku masimu agakubiddwa eri abantu abali ku mukutu guno e Mutundwe.

Abajaasi ba ISO, baamukutte ku Mmande ya wiiki eno ne bamutwala e Mutundwe ne bafuna bye baagala oluvannyuma ne bamuta. “Twamutadde kubanga yakolaganye naffe bulungi n’atuwa bye twabadde twetaaga nga tawalidde.” Ensonda bwe zaategeezezza.

Kigambibwa nti, waliwo omuntu mu kkampuni eno eyaweebwa omudidi nga March 17, 2017 oluvannyuma lw’okuttibwa kwa Kaweesi asiimuule bwino yenna alaga amasimu agaakubwa ku nnamba ssatu.

Okusinziira ku nsonda ezirina akakwate ku kunoonyereza okugenda mu maaso, Kaweesi yatemulwa ku ssaawa 3:00 ezokumakya. Ebitongole by’ebyokwerinda byonna ne bitandika okutema empenda okunoonyereza. Omuntu omu ateeberezebwa nti aliko ssente empitirivu ezaamuweebwa, ku ssaawa 6:00 ez’emisana n’asiimuula bwino yenna alaga amasimu agaakubwa ku layini ssatu zonna nga za mukutu gumu okuli ey’omugenzi (Kaweesi), ey’omu ku bakungu ba poliisi eyali aduumira ekimu ku bibinja bya poliisi eby’enjawulo n’ey’omu ku bakulira poliisi.

LWAKI BAASANGULA AMASIMU Okusinziira ku nsonda mu banoonyereza bwino w’amasimu yali mukulu nnyo okumanya abantu Kaweesi be yasembayo okwogerezeganya nabo n’ebimu ku bye baayogerako. Kinajjukirwa nti, Kaweesi yalina essimu bbiri ‘katooki’ eyalimu layini ye ey’omulimu abatemu gye baatwala oluvannyuma ne batambula nayo okwetooloola ku Gayaza Road ne bamala ne bagizzaayo n’endala eyalimu layini ye ey’obwannannyini.

Tekinnamanyika oba layini zombi baazisangula kyokka ensonda zigamba nti, layini eyali esinga amakulu yali yiye ey’obwannannyini. Kigambibwa nti, Kaweesi bwe yattibwa abajaasi b’eggye erikuuma pulezidenti erya Special Forces Command (SFC), baatuukirira abakulu mu kkampuni eno gye baakwatidde yinginiya,nga baagala okufuna bwino ku masimu agaali gakubiddwa, kyokka bwino wa March 16 ne 17, 2017 yali taliiyo ng’alaga nti yali yasiimuddwa ku ssaawa 6:00 zennyini.

BWINO BAAMUGGYE BWERU WA GGWANGA Bwino ono, abaserikale ba poliisi naddala ku ssimu ya Kaweesi nabo baali bamwetaaga ne balemererwa okumufuna era ensonda zaategeezezza nti, mu fayiro ya poliisi gye yasooka okukola, bwino ono taliimu. Aba Chieftaincy of Military Intelligence (CMI) nabo bwino ku ssimu essatu baali bamwetaaga kyokka abamu ku bajaasi abakolagana n’abagambibwa okubeera abatemu abaapanga obujulizi, baafuna gwe baapangawo. Mu kusooka abakulu baali bamatidde nti ddala bwino mutuufu kyokka bwe baamwekkaanyizza ennyo mu kunoonyereza okupya kwe baliko ne bakizuula nti alimu engeri y’okupangirira.

Ttiimu eyalondeddwa okuddamu okunoonyereza ku musango guno ekulirwa minisita w’ebyobutebenkevu Gen. Elly Tumwine n’esemba aba ISO okugenda ebweru ku kitebe ekikulu ekya kkampuni eno gye kiri okufuna bwino. “Twagenze bweru wa ggwanga, bwino gye twamuggye ng’ebintu byonna wano byasiraana dda.” Ensonda bwe zaategeezezza.

Mu kunoonyereza okupya, amagye gaakwata abasibe abawerako okuli abaserikale ba poliisi abaali bakolera mu kitongole kya Flying Squad bagiyambeko mu kunoonyereza. Abaakwatibwa kuliko; Herbert Muhangi eyali omuduumizi wa Flying Squad, Abel Kitagenda, Moses Kasibante oluusi eyeeyita Kasiba, Martin Kimbowa agambibwa nti ye yavuga emu ku pikipiki ezaatambuza abatemu, Chris Ahimbisibwe.

Abalala amagye gaakwata Gen. Kale Kayihura eyali omuduumizi wa poliisi mu ggwanga abeeko by’abuuzibwa, Richard Ndabwoine eyali akulira okunoonyereza ku babbira ku yintanenti, Good Mwesigye eyali aduumira ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku baserikale abasiiwuuse empisa (PSU) ne Col. Atwoki Ndahura eyali Dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekikessi. Ono amagye gaamuvunaanye kulemesa mateeka kukola mulimu gwago.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....