TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakutte 2 ku kuttibwa kw’eyawangudde ekya Nnaabakyala

Bakutte 2 ku kuttibwa kw’eyawangudde ekya Nnaabakyala

By Musasi wa Bukedde

Added 7th July 2018

Bakutte 2 ku kuttibwa kw’eyawangudde ekya Nnaabakyala

Mug1 703x422

POLIISI ekutte babiri ku byekuusa ku ttemu omwafiiridde abadde yakawangula ekifo ky’owabakyala e Lwantale LC.l mu Town Counil y’e Kyanzanga mu Lwengo.

Hadijah Nantale yatemuddwa mu kiro ekyakeesezza Olwokuna. Baamusaze obulago ne bamusalako okutu n’okumufumita ebiso mu mutwe ebyamusse. Nantale yavuganyizza mu kulonda kw’abakyala okwabaddewo ku Lwokubiri lwa wiiki eno n’afuna obululu 48 ate munne gwe yavuganyizza naye Loba Nandi n’afuna 4 bwokka.

Nantale olwawangudde akalulu n’asalawo okutwalako banne ab’ekinywi mu kivvulu kya David Lutalo ekyabadde mu Kyazanga beekulise akalulu. Baavuddeyo kiro mu ttumbi ne bagenda nga baawukana omu kwomu ng’akyama ewuwe.

Nantale yabadde asigadde ne banne basatu wabula yabadde atuuka ewuwe, weyasanze abatemu. Yasoose kumukuba muggo n’agwa wansi ne bamusala. Abazze okumudduukirira baamuyoddeyodde okumutwala mu ddwaaliro n’afiira mu kkubo.

Poliisi be yakutte kuliko Ibrahim Ssekabira 22 ne Bashir Mawanda 18, abaggaliddwa ku poliisi e Kyazanga. Abatuuze baategeezezza nti bano gye buvuddeko poliisi yabakutte olw’okugezaako okufumita ssentebe w’ekyalo ebiso wabula oluvannyuma n’ebata. Kyokka babalumiriza nti balabika balina ebiralagalalagala bye bakozesa. Ssekabira mutabani wa Nandi eyavuganyizza ne Nantale eyafudde.

Yaziikiddwa e Lwantale Lwantale. Tim Lusongeyo atwala poliisi y’e Kyazanga yategeezezza nti mu kitundu mulimu abavubuka bangi abanywa enjaga kyokka poliisi bw’ebakwata ng’abakulembeze ku kitundu babambalira nga baagala bayimbule abantu abo. Ssentebe wa LC3, Kyazanga, Rashid Kawawa yavumiridde ettemu lino erisusse n’asaba poliisi eyigge abantu bonna abasuubirwa okwenyigira mu kutemula Nantale. Yagambye nti bateekwa okulwanyisa ebikolwa bino.

Bbulu Mulalo nga ye Ssentebe wa NRM e Kyazanga yasabye Gavumenti wano ne Poliisi okwongera obukuumi n’ebyokwerinda mu kulonda kwa LC n’ategeeza nti ono si ye muntu asoose okuttibwa mu mbeera bweti nalabula nti bwe watabeerawo kikolebwa, ebitundu byandiddamu okutabanguka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...