TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab’ebijambiya balumbye poliisi e Kabowa ne batema abaserikale

Ab’ebijambiya balumbye poliisi e Kabowa ne batema abaserikale

By Musasi wa Bukedde

Added 8th July 2018

Ab’ebijambiya balumbye poliisi e Kabowa ne batema abaserikale

Web1 703x422

ABAZIGU balumbye poliisi y’e Kabowa mu Kampala ne batema abaserikale babiri ebiso be baabadde baggyako emmundu. Poliisi yalwanye nabo era mu masasi agaakubiddwa, erimu lyakutte omuvubuka Sudais Mpiima ow’emyaka 24 n’afa ng’atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago. Abaserikale babiri batuusidwako obuvune obw’amaanyi. Omu ye John Warren Kirya ng’ono yatemeddwa ekiso ku mutwe.

Omuserikale omulala ye Arafa Okanyasi ng’ono yafumitiddwa ekiso mu lubuto era waayise ekiseera kitono n’atandika okufuka omusaayi nga kirowoozebwa nti yatuusiddwako obuvune bw’amaanyi mu nda mu lubuto.

Oluvannyuma lw’akanyolagano ak’amaanyi, abaserikale baanywezezza omuvubuka eyabalumbye gwe baategedde nti ye Rogers Kamya eyavugako bodaboda mu kitundu ekyo kyokka banne be yabadde nabo beemuludde ne badduka . Obulumbaganyi buno bwaguddewo ku Lwokuna ku ssaawa nga ssatu ez’ekiro.

OMUSIRIKALE KIRYA ANNYONNYOLA Nnabadde ndi waka we nsula okumpi ne poliisi, ne mpulira oluyogaano ku poliisi. Waayise akaseera katono mukama wange OC Abdu Nasser Hidujja n’ampita nnyanguwe nti twabadde tulumbiddwa ab’ebijambiya.

Nnakutte emmundu yange ne nzija era nnasanze omuzigu yeekalakaasa n’ekiso alumba baserikale okubaggyako emmundu amasasi ne gatandika okukubwa mu bbanga nga tulowooza nti omuzigu ajja kutya adduke kyokka yayongedde kugoba baserikale kubaggyako mmundu. Bwe nnamwetegerezza ng’alina ekiso, kwe kusalawo ne nkasuka emmundu yange ne mmulumba tumeggane.

Mu kavuvugano gano yansozze ekiso ku mutwe ne ntandika okuvaamu omusaayi n’annyigira wansi kyokka ne mmulwanyisa okumwetakkuluzaako. Mu kiseera kino muserikale munnange, Arafa Okanyasi yanziruukiridde n’agwira omuzigu kyokka mu kulwanagana kuno omuzigu yaggyeyo ekiso kye yabadde akwese mu kiwato n’afumita Araf mu lubuto omusaayi ne gufukumuka.

Wabula abaserikale abalala bazze ne bayamba omuzigu n’agonda ne bamukwata n’atwalibwa ko poliisi e Katwe n’aggalirwa. Kyokka ekiso ekimu kye yabadde nakyo kirowoozebwa nti abamu ku banne be yazze nabo baadduse nakyo ne bakikweka. Omuzigu ono yagguddwako emisango egiwerako okuli okulumba poliisi egiri ku fayiro nnamba SD:45/08/03/2018.

Wabula abatuuze baanenyezza poliisi obutakuba musajja ono masasi n’atuuka okulumya abaserikale baayo kumpi kubatta. Atwala poliisi ye Kabowa, Nasser Hidujja yategeezezza nti omusajja ono yabadde ayagala mmundu nti kyokka alabika alina ekibinja kinene kyakola nanakyo ekyetaaga okunoonyereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....