TOP

Machar bamuzzizza mu Gavt. ya South Sudan

By Musasi wa Bukedde

Added 9th July 2018

PULEZIDENTI Yoweri Museveni ne mukulu munne owa Sudan Omar al Bashir bamatizza Pulezidenti wa South Sudan, Salva Kiir n’akkiriza okuzza omukulembeze w’abayeekera Dr. Riek Machar Teny Dhurgon mu gavumenti.

Mata 703x422

Pulezidenti Museveni ng’ayaniriza Omar al Bashir.

Bino byabadde mu kafubo k’abakulembeze abasatu akaatudde ku Lwomukaaga mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe nga kaakulungudde essaawa ezisukka mu munaana ng’enjuyi ebbiri; olwa Pulezidenti Kiir n’olwa Machar zigulumba ku nsonga ez’enjawulo eziriko obutakkaanya.

Minisita wa Sudan ow’ensonga ezebweru Al-Dierdiry Ahmed yategeezezza ekitongole ky’amawulire ekya AFP nti akafubo kaawedde ku Lwomukaaga ekiro nga kikkaanyiziddwaako Dr. Machar okuzzibwa mu gavumenti ng’omumyuka asooka owa Pulezidenti Kiir.

Kyakkaanyiziddwaako nti Gavumenti ya South Sudan agenda kugaziyizibwa okuva ku baminisita 30 okutuuka ku baminisita 45 ng’ebifo 15 ebyongezeddwaamu bya kulondebwamu abooludda oluvuganya olwa Sudan People's Liberation Movement in opposition (SPLA-IO) ekikulirwa Machar.

Al-Dierdiry yategeezezza nti mu nteekateeka empya, Pulezidenti Kiir waakubeera n’abamyuka ba Pulezidenti bana (4) ng’ababiri ba ludda oluvuganya okuli Machar n’omukyala gwe banakkaanyaako.

Dr. Machar yali yaweebwa ekifo eky’omumyuka wa Pulezidenti mu ndagaano ey’okukomya olutalo eyassibwako omukono mu August 2015, enjuyi zombi era yalayizibwa mu kifo ekyo mu April 2016 kyokka yakiweeerezaamu emyezi ebiri gyokka n’adduka mu ggwanga mu July 2016 ng’agamba nti Kiir yali aluse olukwe okumutta.

Machar yasooka okubeera omumyuka wa Pulezidenti okuva nga July 9, 2011, South Sudan lwe yatondebwawo nga yeekutula ku Sudan wabula baafunamu obutakkaanya ne Gen. Kiir n’agoba Dr. Machar nga July 23, 2013 olw’ebigambibwa nti yali ateekateeka okuwamba gavumenti n’ekyaddirira lutalo kubalukawo mu December 2013 ne bakubagana okutuuka mu July 2015 lwe bassa wansi ebyokulwanyisa ne batandika okuteesa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana