TOP
  • Home
  • Agookya
  • Amaka ga Kayihura bagaazizza omulundi ogwokuna

Amaka ga Kayihura bagaazizza omulundi ogwokuna

By Musasi wa Bukedde

Added 9th July 2018

AMAGYE gaazizza amaka ga Gen. Kale Kayihura ag’e Muyenga omulundi ogwokuna okuva lwe yakwatibwa nga June 13, 2018 ku faamu ye ku kyalo Katebe mu Ggombolola y’e Kasagama mu disitulikiti y’e Lyantonde.

Sackedigpkalekayihura 703x422

Kale Kayihura

Okuva lwe yakwatibwa, kati ennaku 26 eziyise, amagye gazze gaaza ennyumba ya Kayihura okubaako ebintu bye gazuula ebitali bimu. Omulundi ogwasembayo, baasangayo ekyuma ekirumika essimu ekiteeberezebwa nti yali akyeyambisa okulumika amasimu g’abazzi b’emisango abaamaanyi.

Ku Lwokutaano akawungeezi, amagye okwabadde bambega ba ISO, CMI n’eggye erikuuma Pulezidenti (SFC) baatutte Kayihura mu maka ge ne baddamu okugafuuza okubaako bye bazuula.

Emirundi egyasooka, Kayihura teyaliiko nga bagaaza era okusinziira ku nsonda, waliwo ebintu bye bataasobola kwekebejja bulungi n’ebimu bye baasangayo, tebaabiggyaayo olw’ensonga tewaaliwo muntu asobola kuteeka mukono ku biwandiiko bikakasa nti bitwaliddwa kuva mu maka ga Kayihura.

Kino, kiddiridde amagye okulumba ekifo aba MTN we batereka likodi z’amasimu ne baggyayo ebyuma bina ku Mmande ya wiiki ewedde okuteeberezebwa nti, kwe kuli likodi z’amasimu boofi isa ba poliisi ge baakuba ku lunaku lwe batta Kaweesi.

Kigambibwa nti, amasimu ga boofi isa ba poliisi babiri n’eya Kaweesi gaasiimuulwa byonna ebyali bigoogereddwaako nga March 16 ne 17, 2017 era amagye okulumba ekifo kya MTN, gaabadde gateebereza nti, waliwo bwino gwe baabadde basobola okufuna okuva ku byuma bino.

Kyokka, waabaddewo n’ebigambibwa nti, amagye gaabadde ganoonya bwino ku by’okukumpanya emisolo oluvannyuma lwa Pulezidenti Museveni okutegeeza nti, amakampuni g’amasimu galina engeri gye geebalamamu emisolo.

Ensonda zigamba nti, mu bimu ku bintu bye baggye ku MTN, baakizudde nga kyetaagisa okuddayo ewa Kayihura okwaza amaka ge.

Okuddamu okwaza amaka ge, kyakoleddwa mu ngeri ya bwegendereza era baasoose kuggyawo bantu bonna okuli n’abaserikale ababadde bakuuma amaka gano ne babaako we babatwala oluvannyuma Kayihura ne bamuyingiza, okwaza ne kutandika.

Kyatutte ebbanga eriwerako era okusinziira ku nsonda, baavuddeyo mu matumbi budde kyokka tekyategeerekese oba bye baabadde beetaaga baabizudde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...

Omwanangasenaamazzikuluzziwebusemwana 220x290

Ab'e Birinzi balindiridde kulwala...

Kaabuyonjo ze tusima mu musenyu okw'enkuba zibooga kazambi n'ajjula enju zaffe