TOP

Basuubizza amalwaliro ag’omulembe

By Musasi wa Bukedde

Added 10th July 2018

Basuubizza amalwaliro ag’omulembe

Rip1 703x422

Pulezidenti Museveni ng’abuuza ku Brenda Mbathi ne pulezidenti w’ekitongole, Kieran Murphy abaamusisinkanye e Ntebe.

PULEZIDENTI Yoweri Museveni asabye ab’ekitongole kya General Electric Healthcare okumaliriza mu bwangu ne minisitule y’ebyobulamu n’ey’ebyensimbi, okuteekateeka enkulaakulana mu byenfuna okutuusa amalwaliro ag’omulembe mu Uganda.

Pulezidenti yabadde asisinkanye abakungu okuva mu kitongole kino okwabadde Farid Fezoua (akikulira mu Afrika), Andrew Waititu (akikulira mu mawanga g’obuvanjuba bw’Afrika), Dr. Henry Mwebesa atwala eby’obujjanjabi mu minisitule y’ebyobulamu mu Uganda n’abalala nga baakulembeddwa pulezidenti w’ekitongole kino, Kieran Murphy mu nsi yonna mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe mu pulojekiti y’okuzimba amalwaliro ag’omulembe n’ebikozesebwa mu kujjanjaba.

Pulojekiti eno bw’eneggwa, esuubirwa okuyamba okutuusa obujjanjabi obw’omulembe eri Bannayuganda n’okukendeeza okutwala abalwadde mu Buyindi n’amawanga amalala okufuna obujjanjabi bw’omulembe.

Gye buvuddeko, Gavumenti ya Uganda yalangirira nga bwe yali egenda okutondawo omukago n’ekitongole kino mu kaweefube w’okukulaakulanya n’okutuusa ebyobulamu n’amalwaliro ga Uganda ku mutindo gw’ensi yonna okuyita mu kufuna ebikozesebwa eby’omulembe, okutendeka abasawo, okulongoosa n’okuddaabiriza ebyuma n’okussaamu ssente enkalu nga kino Pulezidenti yakikolera ku mukutu gwe ogwa twitter.

Pulezidenti yawandiika ng’agamba nti; “Ku nsonga y’okussa ebikozesebwa mu malwaliro, Gavumenti egenda kutondawo enkolagana n’ekitongole kya General Electric okuva mu Amerika gye tukolagana nayo mu by’amafuta mu kiseera kino.

Ekitongole era kikola ebikozesebwa mu bujjanjabi era kigenda kutuwa ebintu bino ku bbeeyi ya wansi”. Kieran Murphy ku lw’ekitongole kya General Electric, yagambye nti bagenda kukolagana bulungi ne Gavumenti ya Uganda okukakasa nga batuusa empeereza z’obujjanjabi eziri ku mutindo gw’ensi yonna eri Bannayuganda okuyita mu kuwa amalwaliro ebikozesebwa eby’omulembe n’okubikanika era n’akakasa nti enkolagana eno yaakumala akaseera akawera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Leero mu mumboozi y'omukenkufu...

Leero mu mumboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'empirinvuma okulwanyisa obulumi ng'oli...

Kuba1 220x290

Abalamuzi mu nsi za Afrika 5 basisinkanye...

HENRY Peter Adonyo akulira ettendekero ly’abalamuzi akubirizza abalamuzi ba Kkooti Enkulu okwenyigiranga mu misomo...

Haki 220x290

Kamoga atongozza hakki eyookuna...

HAJJI Muhammadi Kamoga naye nno tasaaga. Ayingizzaawo hakki eyookuna Zanei Birungi.

Tuula 220x290

Spider Roxy atandise okukokoolima?...

ABANTU abaalabye omuyimbi Spider Roxy n’ekyana nga beekuba obuwuna n’obwama baasigadde beebuuza oba naye yatandise...

Tuma 220x290

Omuwala yankyawa lwa bwavu

NZE Wilson Musoga, nzaalibwa mu disitulikiti y’e Mayuge. Mu 2018, nnasalawo okufuna omwagalwa era amaaso gansuula...