TOP

Atuze omwana wa mwannyina lwa kumukaabira

By Musasi wa Bukedde

Added 11th July 2018

OMUSAJJA yeesuddemu embazuulu n’atuga omwana wa mwannyina ow’omwezi ogumu ng’agamba nti asussizza okumukaabirira. Silver Nsonga ow’e Nakabugo ku luguudo lw’e Mityana, ye yatuze Migal Wasswa.

Here 703x422

Omulongo Wasswa eyatiddwa

Jack Bukirwa muliraanwa wa Nnaalongo Mutonyi Mirembe maama w’omugenzi yategeezezza nti Nsonga yafuuka kizibu ku kyalo. Anywa omwenge n’enjaga n’atandika okuvuma abantu nga abantu.

James Mugerwa nga naye abeera ku kyalo kino yagambye nti, baamulabye ng’asika omwana kyokka nga tewali asobola kumwahhanga kubanga yabadde n’amaanyi mangi ne basalawo okukubira poliisi essimu kyokka yagenze okutuuka ng’omwana amaze okumutuga.

Poliisi yamukutte ng’akuumirwa ku poliisi y’e Wakiso.

Moses Walabyeki, ssentebe w’e Nakabugo yagambye nti yawulidde abantu nga bakuba enduulu n’agenda okulaba ekibaddewo n’asanga Nsonga ng’akutte omwana.

Yayanguye okukubira poliisi essimu n’okuggyawo omulongo eyabadde ku mabbali kyokka poliisi yatuuse amaze okumutta.

Walabyeki yasabye abavubuka okukomya okunywa enjaga kubanga eyinza okuba nga ye yawaze Nsonga n’atta omwana wa mwannyina.

Nnaalongo Mirembe yagambye nti, yabadde anaaza omwana mwannyina n’amumusikako n’amukwata mu bulago n’amutuga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600