TOP
  • Home
  • Agawano
  • Omugagga Kalungi agobye Nnamwandu w'emyaka 90 ku ttaka! Abalala bakaaba

Omugagga Kalungi agobye Nnamwandu w'emyaka 90 ku ttaka! Abalala bakaaba

By Musasi wa Bukedde

Added 11th July 2018

Nnamwandu Nnaalongo Judith Ssebaggala 90, y’omu ku batuuze b’e Busukuma, mu munisipaali y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso, abaagobeddwa mu bibanja byabwe kwe bamaze emyaka egisoba mu 60.

Goba 703x422

Nnamwandu Judith Ssebaggala. Ku ddyo ye Kalungi.

Ono n’abatuuze abalala balumiriza omugagga Moses Kalungi eyeeyita ‘Bill Gates’, okuleeta bakanyama ne babagoba mu bibanja byabwe ne babisibako seng'enge.

Kalungi yaliko ssentebe wa divizoni y’e Makindye. Bagenze okubagoba nga baatwala omusango mu kkooti nga bawakanya okubalemesa ettaka lyabwe kwe bamaze ebbanga eddene.

Kyokka omusango gubadde tegunnaba kusalibwa ate Kalungi n’abagoba ku ttaka. “Ennaku Kalungi gy’andabizza ku kibanja kyange enzijukizza baze eyafa mu 1991, era ng’ettaka ly’erimu lye lyavaako okufa kwe!

Newakubadde nasinga ssente kyokka mu maaso gange mwana gwe nzaala eyandibadde tampisa bw’ati”, Nnamwandu Ssebaggala bwe yategeezezza.

Yategeezezza nti bba yasanga abantu nga batemye emiti mu kibanja kye kyokka olwabanenya baamukkakkanako ne bamutta mu bukambwe obutagambika!.

Paul Tegawooma Sebinene, nga y’omu ku bagobaganyizibwa ku bibanja byabwe yategeezezza nti, tebawakanya kya Kalungi nti ye yagula ettaka ly’omugenzi Edward Kitaamirike, wabula kye banenya kwe kuba nti bamaze ku ttaka lino emyaka mingi n’olwensonga eyo, abadde alina okusooka okutuula nabo n’abasasula oba n’abakkiriza okwegula.

Ettaka erifuuse ndibassa liwerako yiika ezisoba mu 50. Kigambibwa nti lyali lya mugenzi Jacob Musajjalumbwa, bwe yafa ne lidda mu mikono gya mutabani we Ason Kitaamirike, era nga naye olwafa mutabani we Edward Kitaamirike n’alitwala.

Ono naye bwe yafa mutabani we Mike Kitaamirike n’akwasibwa obuvunaanyizibwa okulikuuma.

Kalungi agamba nti, Edward Kitaamirike yagenda okufa ng’amuguzizza ettaka lino era nga yali yalabula dda abatuuze okulivaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmin1 220x290

Minisita Nakiwala ayingidde mu...

Omuwala Julian Ainambabazi (30) eyali akola mu bbaala emu e Mukono n’aganzibwa omubaka wa palamenti owa Samia Bugwe...

Chelseacahill 220x290

Cahill akooye bbenci

Aston Villa, y'emu ku ttiimu ezaagala okugula Cahill kyokka eno ya Championship nga ye ayagala kuzannyira mu Premier....

Loodi 220x290

Bano babeera wa nga Lukwago bamusika...

LOODIMEEYA Erias Lukwago y’omu ku bannabyabufuzi abazze bafuna okusoomoozebwa n’okutulugunyizibwa abaserikale....

United 220x290

Ebizibu bye ndabidde mu laavu mbikubye...

NZE Justine Nalweyiso 24, mbeera Kyebando Nsooba ndi muyimbi nga nnaakayimba ennyimba okuli Bbebi Ndunya, Ndaba...

Newsengalogob 220x290

Njagala ayimba oluyimba lw'eggwanga...

NKOZE ntya mukazi wange asobole okuyimba oluyimba lw’eggwanga ng’aleekaana? LWAKI oyagala aleekaane? Abasajja abamu...