TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okulonda ssentebe wa zooni III e Kasubi kuggweeredde mu masasi

Okulonda ssentebe wa zooni III e Kasubi kuggweeredde mu masasi

By Musasi wa Bukedde

Added 11th July 2018

Okulonda ssentebe wa zooni III e Kasubi kuggweeredde mu masasi

Tip1 703x422

Poliisi ng'enyoolagana n'abamu ku bawagizi ba Abaas Jjuuko abawakanyiza obuwanguziu ba Edward Bbosa

OKULONDA kwa basentebe mu kasubi zooni 3 ku ggweredde mu masasi ne ttiyaggaasi oluvannyuma lw'abaakuliddemu okulonda e Kasubi okulangirira Edward Bbosa  kugweerede mu masasi na tiyaggaasi abebyokulonda bwebalangiridde Edward Bbosa ku bwa sentebe bw'ekitundu kino.

Edward Bbosa awangudde munne Jjuuko Abaasi bwebabadde naye ku mbiranye ku bululu 612 ate ye Abaasa n'afuna obululu 220. 

Okulonda mu kitundu kino kwadidwaamu oluvanyuma lw'abakulira okulondesa obulema okukkaanya n'abalonzi ku mannya g'abantu abateekwa okulonda.

Abatuuze baategeezezza nti buli muntu yenna alina endaga muntu ssaako n'e kkaadi y'ekyalo ateekeddwa okulonda wabuyla kino abakulira okulonda baakiwakanyiza  nga bagamba tekisoboka era okukkakkana ng'okolnda kuyimiriziddwa ppaka olwaleero.

Ku ssaawa 2 zenyini ez'okumakya okusoma enkalala kutandise era ku ssaawa nnya n'ekitundu kuwedde olwo okubala ne kutandika kyokka Abaasi Jjuuko bw'alabye nga bamusinga abawagizi n'agaana okumubala nga agamba nti abawagizi be abamu basigadde wa bweru wa kikomera oluvanyuma lw'okutuuka ng'okusoma enkalala kuwedde. 

 

Akulidemu okulondesa mu kitundu kino  Ivan Lukasi Kabugo alagidde Edward Bbosa ku bwa ssentebe bw'ekitundu kino olwo okuyisa ebivvulu ne kutandika okwetoloola kasubi yonna.

Abaasi Jjuuko bwawulide ebyo n'akunga abawagizi be batandike okukola effujjo poliisi n'emukwata ekintu ekyongedde okusajjula embeera olwo abantu ne baziba ekubo lyonna ,ne bateekamu emisanvu ssaako n'okukuma ebipiira ekintu ekisanyalaza ebyentambula .

poliisi okuva ku Old Kampala etuuse n'etandika okubakubamu omukka ogubalagala ssaako n'okukuba amasasi mu bbanga okugezaako okukakkanya abekalakaasi era oluvannyuma embeera ezze munteeko emirimu ne gidamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lungujja 220x290

Ab'e Lungujja bafunye Ssentebe...

Kyaddaki Ssendawula zooni e Lungujja mu munisipaali y'e Lubaga efunye ssentebe

Kiibi 220x290

Fr. Kiibi avumiridde abakulisitu...

FAAZA Deo Kiibi asinzidde mu Kitambiro kya Missa gyayimbye mu kisomesa ky'e Kasangati, n'alabula abatanawasa okusooka...

Takoze 220x290

Waswa Bbosa takoze nkyukakyuka...

OMUTENDESI wa ttiimu y’eggwanga eyabatasuussa myaka 23 afulumizza ttiimu etandika egenda okuttunka ne South Sudan...

Cahill 220x290

Tim Cahill akaabye, ng'asiibula...

Cahill yali muwuwuttanyi wa ntomo, ateeba ggoolo era nga yeesigamwako ttiimu y'eggwanga eya Australia mu mupiira....

Mutebile2 220x290

Mutebile aleese ebiwandiiko ebitakwatagana...

Ebiwandiiko ebimu obwedda biteereddwako emikono gy'abantu (signature) kyokka nga tekuli mannya gaabwe nga kino...