TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Rugunda agumizza Bannayuganda ku musolo gwa 'Social Media' ne 'Mobile Money'

Rugunda agumizza Bannayuganda ku musolo gwa 'Social Media' ne 'Mobile Money'

By Muwanga Kakooza

Added 11th July 2018

KATIKKIRO wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda agumizza Bannayuganda nti ensonga z’omusolo ku ‘mobayiro mane’ n’ogw'abakozesa yintaneti n'amasima naddala 'Facebook', 'Twitter', ne 'Whats App'.

Rugundaruhakana703422 703x422

Rugunda

Rugunda ateteegezza nti gavumenti egenda kuddamu egitunulemu erabe oba wasoboka okubaawo okukkaanya ku nsonga zino.

Rugunda era agambye nti Palamenti ajja kugitegeeza ekisembayo ku Lwokuna July 19 ababaka baddemu okukubaganya ku nsonga zino ebirowoozo okusalawo ekisembayo.

Bino bidiriddde Bannayuganda okwesala akajegere nga bawakanya omusolo gw'ebitundu 1% ku 'mobayiro mane' wamu ne 200/- buli lunaku ezassiddwa ku bakozesa 'Social Media' ku masimu.

Abamu ku beemulugunyizza be  basuubuzi abakola ogwa ‘mobayiro mane’  nga bagamba omusolo gubagobyeko bakasitoma.

Kyokka Rugunda agambye nti Pulezidenti Museveni yategeezezza nti omusolo ku ‘mobayiro mane’ gube 0.5% nga gusasulwa muntu aggyayo ssente wadde nga mu bajeti omusolo ogwayisibwa gwali bwa bitundu 1%.

Rugunda ayongeddeko nti emisolo gino gikyekenneenyezebwa gavumenti era etteeka eryagiteekawo Pulezidenti yalissaako omukono naye ligenda kuzzibwa mu palamenti okulaba ekirina okukolebwa ku kwemulugunya kwa Bannayuganda.

Kyokka yagambye nti kino kirina kukolebwa ng’abakubaganya ebirowoozo balowooza ne ku ky’okuba nga gavumenti yeetaaga emisolo okukulaakulanya eggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...