TOP

Asse muliraanwa eyazze okubataasa

By Musasi wa Bukedde

Added 12th July 2018

Asse muliraanwa eyazze okubataasa

Yop1 703x422

Ssempeebwa eyasse.

POLIISI y’e Mpigi etaasizza ssemaka eyakkakkanye ku mukuumi w’essomero n’amutuga ng’amuteebereza okuba ng’abadde apepeya ne mukazi we mu bikujjuko bya ssentebe eyawangudde akalulu.

Tonny Ssempeebwa 25 omutuuze we Nakirebe mu Kataba Zooni e Kiringente mu Mpigi yagudde mu bulago John Wekooye omukuumi ku ssomero lya St. Joseph SS n’amutuga n’afa. Yabadde agezaako okubataasa ng’alwana ne mukazi we Getrude Nabunje.

Kigambibwa nti Nabunje yalese abaana awaka n’agenda mu bikujjuko bya ssentebe wa LC eno eyawangudde, Moses Katende eyabadde ategekedde abatuuze akabaga. Oyo yakomyewo awaka mu matumbibudde, bba Ssempeebwa kwe kumukazakaza ne batandika okulwana nga Ssempeebwa alumiriza mukazi we okuba ng’ava mu bwenzi. Wano Wekooye we yabasangidde n’ayagala okubataasa, wabula Ssempeebwa n’amugwa mu bulago n’amutuga n’afa.

Abatuuze nga bakulemberwamu ssentebe baatemezeddwaako ne balumba Ssempeebwa nga baagala okumugajambula wabula poliisi y’e Nakirebe ng’ekulemberwamu OC Timothy Mukose n’emutaasa n’emutwala ku poliisi e Mpigi. Ssempebwa eby’okutta omuntu yabyegaanyi n’agamba nti baabadde balwana, Wekooye n’agwa wansi n’afa.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Mpigi, Andrew Ainembabazi yagambye nti Ssempebwa abadde akuba mukazi we buli lunaku era agguddwaako omusango gw’okutta omuntu ku fayiro nnamba CRB; 26/2018, oluvannyu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’