TOP

Omubaka atuuzizza Abayindi ne bakkaanya

By Musasi wa Bukedde

Added 12th July 2018

Omubaka atuuzizza Abayindi ne bakkaanya

Web3 703x422

Pulezidenti Museveni lwe yasisinkana Katikkiro wa Buyindi Modi

OMUBAKA wa Buyindi mu Uganda, Ravi Shanka asinsinkanye abakulembeze b’ebibiina eby’enjawulo omwegattira Abayindi b’omu Uganda ne bakkaanya okwongera ku bammemba ku kakiiko akaalondeddwa okuteekateeka okukyala kwa Katikkiro wa Buyundi Narendera Modi mu Uganda.

Akakiiko kongeddwaako bammemba abalala mukaaga okuli: Jitu Sorathiya, Paresh Mehta, Sanjay Adhiya, Nareshbhai Patel, Daxesh Patel ne Raju Hirani nga bano bagenda kutuula kakiiko ak’abantu 10 akaasooka okulondebwa okuteekateeka okukyala kwa Katikkiro Modi kyokka ebimu ku bibiina by’Abayindi ne beemulugunya nti, kalina kyekubiira.

Bino biddiridde obutakkaanya mu bibiina omwegattira Abayindi b’omu Uganda abeetemyemu ku nteekateeka ez’okukyala kwa Katikkiro Modi asuubirwa okutuuka nga July 24 ku bugenyi obutongole.

Ebibiina 15 eby’enjawulo ebimu kw’ebyo omwegattira Abayindi b’omu Uganda byekubidde enduulu ew’omubaka Shanka, nga bitiisatiisa okuzira okwetaba mu by’okukyala kwa Katikkiro Modi okuggyako ng’ensonga zaabwe zitunuddwaamu naddala ku nsimbi ezibakuhhanyiziddwaamu okuteekateeka olukuhhaana gaggadde mwe baanaasisinkanira Katikkiro Modi.

Ebimu ku bibiina omwegattira Abayindi ebitiisatiisizza okuzira okukyala kwa Modi kuliko: North Gujarat Association, Lohanna Community, Jitu Sorathiya, Paresh Mehta, n’ebirala era mu abakulembeze baabyo baatadde emikono ku kiwandiiko mwe baasengese ensonga zaabwe ze beemulugunyaako ku kakiiko ak’abantu 10 abaalondebwa okuteekateeka olukuhhaana lw’Abayindi ab’omu Uganda.

Akakiiko akateesiteesi ak’abantu 10 akaalondebwa omubaka Shankar nga kalina bassentebe babiri; Mohan Rao ne Pradeep Karia abaaweereddwa obuvunaanyizibwa okuteekateeka olukuhhaana Katikkiro Modi mw’anaasisinkanira Abayindi abasoba 200,000, abalina bizinensi mu Uganda.

Kyakkaanyiziddwaako mu kafubo ak’ebibiina by’Abayindi nga 40 abaasisinkanye omubaka Skanka ku kitebe kya Buyindi mu Uganda e Nakasero nti, abantu abalala mukaaga balina okukkaanya ku kifo Katikkiro Modi w’agenda okusisinkanira Abayindi abali mu Uganda abasoba mu 200,000.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’