TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri okwennyamira gye kuggya abalwadde ku ddagala lya siriimu

Engeri okwennyamira gye kuggya abalwadde ku ddagala lya siriimu

By Olive Lwanga

Added 13th July 2018

Engeri okwennyamira gye kuggya abalwadde ku ddagala lya siriimu

Web1 703x422

Vincent Luyinda okwennyamira kwamuggya ku ddagala engalo ne zitandika okuzimba.

OKWENNYAMIRA n’okwekubagiza bulwadde obusumbuwa abantu oluusi nga tebamanyi naye ne bubaleetera ebizibu eby’enjawulo ebiyinza n’okubatta ssinga tebafuna buyambi. Okwennyamira kutera okubeera mu bantu abalina akawuka ka siriimu ate nga tebamanyi kwe buva.

Abaafuna ku bulwadde bw’okwennyamira ne babusimattuka banyumya bye baayitamu: Nze Vincent Luyinda Kafeero 31: Mbeera Kinoni Misaali mu disituliki y’e Masaka. Nnina akawuka ka siriimu era nakitegeera oluvannyuma olwokwekebeza nga buli kiseera mbeera mpulira empewo n’olusujjasujja.

Omukyala gwe nalina ebiseera ebyo namugamba twekebeze n’agaana ne nneekebeza nzekka. Abasawo bwe bankebera ne bakizuula nga nnina akawuka ka siriimu. Mu 2015 natandika okumira eddagala lya ARVs n’okutuusa olwaleero. Wabula mu makkati awo natandika okuzimba obuntu mu ngalo naye nga tebunnuma. Ekiseera kyatuuka ne butandika okunnuma.

Nagenda mu Uganda Cares ne banzigyako akannyama okugenda okukakebera nga nnina kookolo w’olususu. Embeera eno yankaluubiriramu nga sikyasobola kukwata ate nga nali musajja muzimbi nga nsobola okwerabirira mu buli kimu nga okweriisa, okweyambaza, n’ebintu ebirala.

Ekiseera kyatuuka nga sikyalina kye nsobola kwekolera, sirina baana, sirina mukyala ate nga n’ekyokulya kizibu. Natuuka ne ntendewalirwa anti nalina okumira eddagala lya ARVs ate nga bwe ndi ne ku bujjanjabi bwa kookolo.

Wano okwennyamira we kwankwatira mu mutima nga ndaba sikyalina lugendo ku nsi nga mpulira nneekyaye. obulumi bwali bungi ate nga sirina ddagala. Nalaba nga nninga alina omusango gwe nakola, nga nneebuuza oba kiki kye nsasulira ekyo? Naye lumu nagenda mu ddwaaliro e Kitovu wano we nafunira omukisa okusisinkana abasawo ne bampa eddagala erinzikakkanya obulimi nga ndifunira ku Kitovu Mobile Hospital.

Bafubye okumbudaabuda n’okulaba ng’embeera y’okwennyamira ngivaamu lwa kuba ate olumu kimala ne kidda naddala ng’ebyokulya bimpeddeko ate nga nnina okumira eddagala.Buno bulwadde obukosa engeri omuntu gy’awuliramu, gy’alowoozamu n’engeri gy’akolamu ebintu bye. Omuntu aba mu mbeera ya kweraliikirira ekivaako okukyawa ebintu by’abadde ajjumbira bulijjo.

Busobola okuleeta ebizibu ebitali bimu mu bwongo oba mu mubiri gw’omuntu era nga bukendeeza ku busobozi bw’omuntu okubaako ky’akola awaka oba ne ku mulimu. Wabula ekirungi busobola okujjanjabibwa.

Okusinziira ku kitongole ky’ensi yonna eky’ebyobulamu (World Health Organisation) abantu obukadde 350 mu nsi yonna bafuna obuzibu buno obw’okwennyamira. Kiteeberezebwa nti abantu 3 - 4 ku bantu 10 bafuna obuzibu buno. Wabula ebiseera ebisinga obungi tekitegeerekeka kivaako mbeera eno olwo n’etejjanjabibwa bulungi.

Richard Kavubu okulira Art Clinic ku ddwaaliro e Mpigi yagambye nti obulwadde bw’okwennyamira abantu babulina naddala abo abalina akawuka ka siriimu n’endwadde endala ez’olukonvuba.

Wabula ekizibu tewali kuuma kasobola kubukebera kuzuula bulwadde buno era abasinga tebakifaako ne bubattira mu kimugunyu. Waliwo ebibuuzo ebikozesebwa nga twekenneenya omulwadde ne tumwekebejja okuzuula ekituufu oba alina obulwadde bw’okwennyamira.

Omuntu ssinga azuulibwa ng’alina obulwadde bw’okwennyamira bwe buba bwa maanyi tubateeka ku ddagala wabula abasinga obungi twogera nabo ne tubabudaabuda ne basobola okutereera.

 ba ganda ares nga baggya omusaayi ku bantu okubakebera siriimu Aba Uganda Cares nga baggya omusaayi ku bantu okubakebera siriimu.

Abamu embeera eno ekomawo ate abalala tekomawo. Mu ddwaaliro e Mpigi tulina Art Clinic nga tufuna abalwadde abatali bamu era buli lunaku kubaako abalwadde ab’enjawulo; ku Mmande ne ku Lwokuna tulaba bantu bakulu. buli lwakubiri mu wiiki eyookubiri mu mwezi tulabirako abalwadde abali ku ddagala naye nga terinnaba kwebasa kawuka kaabwe.

buli Lwakusatu olusooka mu mwezi tulaba baana abalina akawuka, buli Lwakusatu mu wiiki eyookusatu buli mwezi tulabirako abavubuka abalina akawuka, buli Lwakusatu olusigadde mu mwezi ng’oggyeeko ennaku ziri tulabirako abakyala abalina akawuka naye nga baazaala abaana nga tubalondoola okulaba nga tebakwatibwa kawuka. Okutwalira awamu ssinga tuba tufunye abalwadde 100 olunaku 5-10 be basobola okubeera n’obulwadde obwokwennyamira.

Butabika Dr. David Basangwa omukugu mu kujjanjaba abalwadde b’emutwe ate nga y’akulira eddwaaliro lya Butabika yagambye nti obulwadde bwa siriimu bwongezza omuwendo gw’endwadde z’emutwe.

Akawuka ka siriimu bwe kayingira omuntu kaagala okubeera mu bwongo. bwe kayingira kacankalanya obwongo era okwennyamira bwe bumu ku bulwadde obusobola okujja. “Abantu be tufuna e Butabika ebitundu 20 ku 100 baakeberebwa nga balina akawuka noolwekyo kitegeeza akawuka ka siriimu ke kamu ku bivaako obulwadde bw’okwennyamira. Waliwo abalwadde abamu be tufuna nga yaakakimanya nti alina siriimu olwo ne yennyamira olw’amawulire g’aba yaakafuna.

Abamu balwawo okukkiriza olwo okweraliikirira, n’ebibuuzo bye beebuuza ne bivaako okwennyamira. Ebitundu 25 - 35 ku buli 100 abalina akawuka ka siriimu balina obulwadde bw’okwenny-amira. Wabula essaawa eno tetulina kunoonyereza kupya ku kwennyamira n’akawuka ka siriimu. Mu balwadde be tujjanjaba obulwadde bw’okwennyamira bwe businga okubaleetera endwadde z’emitwe.

Obulwadde buno bwangu bwa kujjanjaba era omuntu asobola okuddawo kubanga eddagala ly’obulwadde buno weeriri lingi. Obulwadde bw’okwennyamira tebutera kutta ssinga buba buzuuliddwa nga bukyali.

Okwennyamira okuvudde ku kawuka ka siriimu bwe tubajjanjaba abasinga bawona. Ssinga omuntu alwawo ng’ayita mu mbeera eno, okwennyamira bwe kukula kutuusa omuntu ku mbeera y’okwetamwa obulamu n’afuna ebirowoozo by’okwetta, n’okukozesa ebiragalalagala.

Hospice Africa Uganda Dr. Ludokivo Zirimenya yagambye nti bo tebatera kufuna balwadde ba kwennyamira era nabo balina ebibuuzo nga 10 ebibuuzibwa abalwadde okukakasa oba ddala abantu babulina. “Olumu tutunuulira enkyukakyuka mu nneeyisa, engeri gy’alya, ebirowoozo, engeri gye yeebakamu n’ebirala bingi kwe tusinziira okumanya oba alina obulwadde bw’okwennyamira.

Kiruddu Dr. David Wamala yagambye nti “abalwadde abalina obuzibu bw’okwennyamira tutera okubafuna wabula batono era mu mwezi tusobola okufunayo abalwadde nga babiri wabula okusinga bali Butabika era bwe tuba tubazudde nga kya maanyi gye tubaweereza naye tekitera kubaawo.

Masaka Hospital Canaan Kateregga omukugu mu kujjanjaba endwadde z’omutwe era nga y’akulira ekitongole ky’abajjanjaba endwadde z’obwongo mu ddwaaliro lya Masaka yagambye nti batera okufuna abalwadde abalina akawuka ka siriimu ate nga balina n’obulwadde bw’okwennyamira.

Abalwadde be bafuna abajja ku bujjanjabi obusookerwako bali wakati wa 20 - 40 ku buli 100 abalina obubonero buno obw’okwennyamira.Era twali tufunye ku bantu ne bafa olw’embeera eno naye nga kino kibaawo ssinga omusawo aba alemeddwa okumanya ekituufu ekiruma omulwadde, n’afuna obujjanjabi obutaweze, omulwadde oyo embeera bw’emusukkako afuna ebirowoozo by’okwetta.

Omulwadde wa siriimu bw’aba alina n’ekizibu ky’okwennyamira aba takyasobola kugoberera bulungi mateeka ga kumira ddagala n’alimira nga bw’ayosaayosa kubanga aba yafuna dda ebirowoozo by’okufa nga talaba nsonga lwaki aba alimira. Kitovu Mobile Hospital Rose Nabatanzi omusawo mu ddwaaliro ly’e Kitovu yagambye nti eddwaaliro lino lisinga kujjanjaba balwadde abalina eddwadde z’olukonvuba nga siriimu, akafuba kookolo, n’endala.

Era agamba nti batono abajja nga balina n’obuzibu bw’okwennyamira era mu mwezi basobola okufunayo wakati wa babiri oba bana. “Tulina eddagala lye tuwa abalwadde erikkakkanya obulumi omuntu n’aba nga mulwadde naye nga tali mu bulimi awo okwennyamira kuba kutono ate n’ekirala tufuba okulaba nga tukyalira abalwadde baffe mu maka gaabwe okwogera nabo n’okubabudaabuda, okubawa ku ddagala n’obuyambi obulala obwetaagisa nabo ne bamanya nti tebali bokka waliwo abalala ababafaako.    Mwannyinaze muliikiriza obutennyamira     

Paulina Namugerwa mwannyina wa Luyinda yagamba nti mwannyina atera okufuna obuzibu bw’okwennyamira ate nga ne taata gw’abeera naye mulwadde. Obulwadde bw’okwennyamira kwe nabulabira, mwannyinaze ng’atuuka ekiseera nga tayagala kulya, abulwa otulo n’akogga, yali musajja ayagala okusaba naye atuuka ekiseera nga takyayagala kusaba ssaala ze.

Nfuba okulaba nga mbaleetera ebyokulya n’ebikozesebwa. Nfuba okulaba nga mukubiriza okumira eddagala. Ngezaako okumukubiriza okulya emmere ne bw’aba tayagala nga mukuumako ng’alya.

Emabegako yava ku ddagala lya ARV era kirabika n’ebimuluma ku ngalo kwe byava. Yali agamba nti eddagala alikooye nga talaba nsonga lwaki alimira ngagenda kumala afe.

Bino byali biva ku kwennyamira wabula kati yaliddako era amanyi lwaki alina okulimira. Ali ku layini yaakubiri ey’eddagala eyasooka yagaana engeri gy eyali alivuddeko, kati ne bamuteeka ku yookubiri.

Okulwanyisa obulwadde bw’okwennyamira nfuba okulaba nga mmukubiriza okukola ebyo bye yali ayagala, muntu ayagala ennyo okusaba era buli kadde bwe mmulaba nga yeekubagiza nga mmugamba n’asoma ku ssaala nga bwe yeekwasa Musenyoli Ngobya n’okuyimba ku nnyimba   Omusawo okwogera nange kinnyambye okuguma   

Betty Birungi 46: Mbeera Kakoola mu disitulikiti y’e Mpigi, nnina akawuka akaleeta siriimu era nga nakizuula mu 2006, bwe bankebera nga nkalina ne ntandika ku Septrine era abasawo ne bafuba okumbudaabuda n’okuguma. Eddagala lyange nalinga ndimira bulungi wabula mu 2010 ne ntandika ARV, kyokka omwami wange eyali andabirira ng’ampa buli kimu n’afa mu 2011.

Nali sirina mulimu ate nga nalina okulabirira abaana, okubaliisa, okubambaza, okusasula fiizi nange okwebeezaawo nsobole okusigala nga ndi ku ddagala. Natandika okutoba n’abaana basatu nga ndi ku ddagala kyokka nga n’ekyokulya kyakuwammanta. Natuuka eddagala ne ndikoowa, olw’embeera eno natendewalirwa ne nfuna okwennyamira.

Mu kusooka tekyali kyamaanyi wabula kyenyongera oluvannyuma lw’okukizuula nti omwana asembayo alina akawuka ka siriimu. Kino kyamalako emirembe ne nneeyongera okwennyamira nga ndaba sikyalina mugaso.

Nalinga saagala kulya, ebirowoozo nga bingi, nabulwanga otulo, ebintu ebisinga bye nalinga njagala nga sikyabyetabamu. Bwe nagenda gye nfunira eddagala omusawo yatulondamu abantu musanvu n’atuwa olupapula okuli ebibuuzo ne tubijjuza era kuno kwe yasinziira okutugamba nti tulina obulwadde bw’okwennyamira.

Bannange abaali obubi ennyo baabawa eddagala ery’okumira naye nze omusawo yagezaako okwogera nange nga bw’ambudaabuda ne ntereera mpolampola. Newankubadde nga kigira ekiseera ne kiddamu naye bwe njogera n’omusawo nfunawo enjawulo   

Kw’olabira omulwadde omwennyamivu 

Dr. Basangwa yagambye nti; u Omuntu okubeera omunakuwavu oba okubeera mu mbeera y’okwekubagiza ebiseera ebisinga mu lunaku okumala wiiki bbiri, kijja buli lunaku, ebiseera ebisinga mu lunaku ne kibaawo okumala wiiki bbiri n’okusingawo.

Okuba nga takyalina bwagazi mu bintu by’abadde yettanira bulijjo ng’abadde abyagala nnyo.

Okukyukakyuka mu ngeri gyabadde alyamu, olumu obutayagala kulya oba okutandika okulya ennyo.

Mu kino abamu bakogga oba okweyongera okugejja ennyo ate ngali mu nnaku. u Okukaluubirirwa mu kwebaka oba okubulwa otulo naddala ekiro, oba okwebaka ennyo emisana.

Afuna ebirowoozo nga bijja ate nga bingi.

Teyeyagala buli kimu kiba kimumalako emirembe u Aba takyalina kimusanyusa nga buli kimu kimunyiiza.u Ensonga z’okwegatta aba takyazagala kino kibaawo mu bakyala ne mu basajja.

Okubulwa amaanyi n’okuwulira obukoowu.

Obutaba na maanyi gabaako kyakola, okukendeera mu kutambula, n’okwogera ebintu ebirabibwa abantu.

Okuwulira nga gumusinga n’okweraba ng’atalina mugaso.

Okukaluubirizibwa mu kulowooza, okukkakkana oba okukola okusalawo ng’omuntu.

Okufuna ebirowoozo by’okufa oba okwetuga.

Aba tayagala bantu, asiiba yeggalidde mu nju yeewale abantu.

Abamu bw’afuna obuzibu buno afuna engeri gy’ayagala okukyeggyako n’atandika okunywa omwenge oba okukozesa ebiragalalagala bye yali takola.

Abamu atandika okukaaba yekka nga tamanyi kimukaabya. Musawo Canaana Kateregga owa Masaka agamba nti; omuntu oyo abeera n’embeera z’obuteeyagala okumala wiiki bbiri n’okusingawo.

Okunakuwala ennyo u Okukola ebintu ebitajja u Mu bakyala bafuna kye bayita Amenorrhea’ obutagenda mu nsonga okumala emyezi egimu.

 Mu basajja eby’okuganza abakyala abikoowa kubanga n’amaanyi g’ekisajja gabula. - Okutandika okuwulira amaloboozi g’abantu aboogera ate nga tebaliiwo.   Ebiyamba okulwanyisa okwennyamira     

Dr. Basangwa yagambye nti okusooka okuzuula nti alina ekizibu ne bamuyamba mangu okulaba omusawo. 

Engeri obulwadde buno gye butalina bulumi bwa ku mubiri balwawo okukimanya era mu ddwaaliro bagenda kikeerezi naye bwe bakimanya balina okumwanguyira ne bamufaako.

Abajjanjabi balina okuba n’eriiso ery’enjawulo eryekengera obubonero obwo waggulu ne bafaayo okumuyamba.

Okumulaga omukwano n’obutamusosola nga mumweyawulako.

Obuntu obutonotono famire bwe zisobola okukola okuyamba omulwadde w’okwennyamira ate ng’alina akawuka ka siriimu.

Okumufaako n’okumuyamba asobole okuba omulamu obulungi.

Okumukubiriza n’okumulaga omugaso oguli mu kumira eddagala lye n’alemwa okuyosa. u Okwogerako naye n’okumugumya ku bitali bimu.

Okumuzzaamu amaanyi n’essuubi nti si ye yekka.

Obutamukambuwalira nnyo oba okumuboggolera.

Tomuvuma oba tomweyigaanya naddala ng’akuwulira kiba kimukola bubi.

Okufaayo okulaba ng’omulwadde ono alya bulungi emmere erimu ebiriisa byonna ebyetaagisa ebiyamba omubiri okuba omulamu obulungi.

Okumuwa eddembe lye okubaako bye yeekolera ng’omuntu ne mutamukuggulira buli kimu. u Okwewala okumuboola n’okumusindiikiriza wamu n’okumulangira.

Weetegereze ensonga omannye kiki ekimutawaanya omugumye.

Tomukkiriza kwejjanjaba oba kwewa ddagala abamu bamanyi okwejanjaba nga tebamaze kusuula kimuluma ekintu ekikyamu alina kusooka kugenda mu bakugu.

Okumukubiriza okuddamu okukola bye yanyumirwanga ng’okusamba omupiira.

Okumukubiriza okusaba Katonda. u Okwogerako ne mikwano gye ku bizibu bye ne bamuwa ku magezi.

Etteeka eryogera ku kwennyamira mu Uganda Dr. Basangwa agamba nti tetulina tteeka ddambulukufu mu Uganda eryogera ku bulwadde bw’okwennyamira nga bbwo bwokka wabula tulina eryogera ku ndwadde z’omutwe nga n’okwennyamira mwokutwalidde.

Ligamba nti “ obulwadde bw’omutwe bulwadde ng’endwadde endala zonna era abalwadde b’emitwe balina okujjanjabibwa mu malwaliro gonna era gavunaanyizibwa ku bantu bonna abalina obukosefu ku mutwe era nga buli ddwaaliro liyina okubajjanjaba kye bayita (intergrated health care).

Buli ddwaaliro kibakakatako okujjanjaba abalwadde b’emitwe waakiri okubawa obujjanjabi obusookerwako oluvannyuma ne babasindika mu ddwaaliro eddene ekizibu bwe kiba nga kya maanyi   

Ebivaako okwennyamira 

Richard Kavubu okulira eddwaaliro lya Art Clinic e Mpigi yagambye nti waliwo ensonga ezitali zimu ezivaako omuntu okwennyamira omuli;

Obwavu

Okugatta eddagala ery’endwadde ez’enjawulo tugeze ng’omuntu alina akawuka ka siriimu ate ng’alina n’akafuba aba amira eddagala lya mirundi ebiri.

Ebirwadde ebirala nga kookolo, akafuba, omusujja gw’oku bwongo, okusannyalala, ssukaali, endwadde z’omutima, n’endala zonna ez’olukonvuba.

Eddagala ly’amira bwe liba nga lingi tugeze ng’amira empeke 5 - 9 olunaku

Bw’aba ng’amira eddagala naye nga terimukolerawo njawulo asobola okwennyamira.

Abaana be okuba nga ya bazaala n’akawuka nga bali ku ddagala nga ye.

Okuggweebwako omulimu

Omuntu bw’aba abadde alya amayirungi nga mulamu bwagavaako asobola okutandika okwennyamira.

Okweraliirikira ssente z’obupangisa ate ng’oli mulwadde tokyasobola kwekolerera.

Okweraliikirira abaana be gw’agenda okubalekera ng’afudde obulwadde Looni

Okweraliikirira fiizi z’abaana ate nga takyakola  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta