TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde anoonyereza ku mmundu ezatta Kaweesi afiiridde mu nnyonyi e Dubai

Abadde anoonyereza ku mmundu ezatta Kaweesi afiiridde mu nnyonyi e Dubai

By Musasi wa Bukedde

Added 13th July 2018

Abadde anoonyereza ku mmundu ezatta Kaweesi afiiridde mu nnyonyi e Dubai

Dab1 703x422

Makmot

EBITONGOLE ebikessi mu ggwanga bitandise okunoonyereza ku lugambibwa okuba olukwe mu kufa kwa ofiisa mu Minisitule y’ensonga z’omunda abadde anoonyereza ku by’emmundu ezikozesebwa mu bumenyi bw’amateeka.

Wilfred Okello Makmot (CP) ye yabadde akwasiddwa obuvunaanyizibwa bw’okulamba emmundu zonna mu ggwanga, okunoonya emmundu ezaayingizibwa mu ggwanga mu bumenyi bw’amateeka zisaanyizibwewo.

Ono era y’abadde avunaanyizibwa ne ku kulondoola emmundu entono omuli pisito n’emmundu ezitali za maanyi nnyo omuli n’ezitagwa mu ttuluba lya (Assault Rifles) oba SMG omuli ne AK47. Okello yafiiridde ku nnyonyi e Dubai.

Yabadde ava mu Amerika gy’abadde yagenda wiiki ssatu eziyise ku mirimu emitongole. Engeri ey’ekikangabwa gye yafudde yeefaanaanyirizaako n’enfa y’eyaliko omuduumizi w’amagye Gen. Aronda Nyakairima eyafiira ku nnyonyi mu 2015 bwe yali ava e South Korea okudda mu Uganda. Nyakairima yafa nga yaakatuuka e Dubai.

OKUNOONYEREZA KU NFA YA OFIISA

Ensonda mu bitongole ebikuumaddembe zaategeezezza nti abanoonyereza ku buzzi bw’emisango mu bitongole ebyo balina ebibuuzo bingi ku nfa ya Okello.

Ku bibuuzo ebyo, ebitongole bya bambega mu bitongole okuli eky’amagye (CMI) ekiketta munda mu ggwanga (ISO), ekiketta ebweru w’eggwanga (ESO) ekiketta ebweru bakwataganye okulaba bwe banoonyereza ku nfa ya Okello kubanga bateebereza nti mwandibaamu omupango.

Okusinziira ku nsonda mu magye, Makmot abadde ayambako nnyo ebitongole ebyo byonna mu kunoonyereza ku mmundu ezikozesebwa mu butemu. Mu mmundu z’abadde alondoola kuliko ezatta eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi.

Kaweesi baamutta bakozesa emmundu kika kya M4 ne Uzi gun, ebika by’emmundu byombi bigwa mu ttuluba lya ‘light weapons’ Okello byabadde avunaanyizibwako era emmundu zino abadde musaale mu kunoonya gye zaava.

Gye buvuddeko, omuduumizi wa poliisi Martin Okoth Ochola, yalagidde Okello okukulira ttiimu okuddamu okuwandiika emmundu za poliisi zonna, ez’ebitongole by’obwannannyini zonnan’ez’abantu babulijjo zonna.

Kino kyakolebwa oluvannyuma lw’ettemu ly’emmundu eribadde lyeyongera mu ggwanga buli lukya omuli okutta omubaka Ibrahim Abiriga n’abantu abalala abazze battibwa ab’emmundu era nga kuno kuliko; Kaweesi, Muhammad Kiggundu, Joan Kagezi ne Bamaseeka.

Omulimu gw’okuyigga emmundu zino, bwe gwakwasibwa Okello yagutandikirawo era ne mu Amerika gye yabadde agenze yabadde aluubirira kufuna bukugu bwa njawulo mu kunoonyereza ku mmundu zino.

Ensonda mu magye zaategeezezza nti, babuusabuusa nga zaabadde ntuuko za Okello okufiira ku nnyonyi mu kaseera we baabadde basinga okumwetaagira mu kunoonyereza kwe baliko n’ebyo by’abadde yaakazuula. Abamu bateebereza nti biyinza okubaamu obutwa kyokka abalala bagamba nti kyandiba nga Okello yabadde n’ebirwadde naddala ebyekuusa ku mutima nga kye kyavuddeko okufa.

Okello yasimbudde mu kibuga New York ekya Amerika ng’ali bulungi wabula embeera yatabuse ng’ennyonyi eri mu bwengula era n’afa ng’ennyonyi etuuse e Dubai. Ekitebe kya Uganda mu United Arab Emirates kye kyaweerezza obubaka mu Uganda nga bategeeza Minisitule y’ensonga z’omunda ne poliisi nti ofiisa waabwe Okello afudde kikutuko ng’ali ku nnyonyi eyamuggye mu Amerika.

ABADDE ALONDOOLA EMMUNDU ZA KITATTA N’EZATTA KAWEESI Okello ku fayiro ya Kaweesi abadde akola omulimu gw’okuyambako mu kuzuula emmundu ezaamutta oba zaali zaawandiisibwa, bannyinizo abali mu biwandiiko n’omuntu eyali azivunaanyizibwako.

Kigambibwa nti amagye bwe gaakwata emmundu ezigambibwa nti ze zatta Kaweesi, baatuukirira Okelllo okuyambako mu kuzuula ebikwata ku mmundu ezo nti era alina bingi bye yazuula by’abadde ategeka okukwasa ab’amagye ne ISO abali mu kunoonyereza.

Emmundu zino, zaakwatibwa aba ISO okuva mu bifo eby’enjawulo omuli n’amaka g’abamu ku basibe kyokka kyategeezeddwa nti, abasibe emmundu zino bazeegaana ne bategeeza nti tebazirabangako. “Tusuubira nti waliwo omupango ogwakoleddwa mu nfa y’omusajja ono.

Tugenda kukolera wamu okuzuula oba mwabaddemu ekintu ekirala nga twesigama ne ku bitongole by’ebyokwerinda eby’amawanga amalala naddala mu Amerika gye yavudde ne Dubai gye yafiiridde. Ekitebe kya Uganda mu Abu Dhabi n’abeebyokwerinda, baatutte omulambo gwa Okello mu ddwaaliro okugukebera okuzuula ekituufu ekyamusse era baakuweereza lipoota enzijuvu.

Abateebereza obutwa beesigama ne ku bye bazze bazuula ebiraga engeri abatta Kaweesi gye bazze bakola ku bantu abalina obujulizi era kyazuulwa nti baakwata makanika w’e Katwe Mukwasi eyali e Kulambiro n’alaba abatemu nga bakuba Kaweesi amasasi wabula oluvannyuma abasajja baamunoonya ne bamusalako omutwe era omulambo ne bagusuula e Masaka.

Ng’oggyeeko emmundu ezatta Kaweesi, kigambibwa nti Okello era y’omu ku baasabibwa okuyambako okukola lipoota ku mmundu ze baakwata ne Abdallah Kitatta eyali akulira ekibiina kya Bodaboda 2010.

Kitatta yakwatibwa ne banne mu January 2018 era amagye gaalumiriza nti gaamukwata n’ebintu by’amagye bingi omuli n’emmundu okuli ne piisito etali ya bulijjo era mu May baatandise okuwa obujulizi mu kkooti. Okello ye mukozi wa Minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga owookubiri okufiira ku nnyonyi mu ngeri etategeerekeka, kubanga ne Gen. Nyakayirima we yafiira ye yali Minisita atwala Minisitule eno.

Omwogezi wa poliisi Emilian Kayima yagambye nti, okufa kwa Okello kwabakubye wala, wabula baabadde tebannazuula bingi ku ngeri gye yafudde.

Waabaddewo okukoonagana oluvannyuma lw’abamu ku boofiisa okugamba nti Okello yabadde ava kukyalira kitaawe amuzaalira omukyala abeera e New York nga kino kikontana n’ekyasoose okufulumizibwa ekiraga nti yabadde ava mu kutendekebwa okw’enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.