TOP

Asse mukama we n’awera okutta abalala 3

By Musasi wa Bukedde

Added 14th July 2018

OMUSAJJA asse mukama we abadde amukozesa mu kirombe ky’omusenyu ne yeewaana nga bwatagenda kukoma kw’omu yekka ajja kutta n’abalala basatu.

Wamba 703x422

Poliisi ng’etwala omulambo gwa Ddegeya mu katono

Yuda Lugya 20, ow’e Walukunyu mu muluka gwe Bulerejje mu ggombolola y’e Muduuma mu Mpigi ye yakubye mukama we Steven Ddegeya bbulooka ku mutwe eyamusse.

Yabadde yakamutta ne yeewaana nga bw’agenda okutta abantu abalala basatu.

Omulambo yagulese mu kirombe n’agenda ewuwe n’ategeeza abawaka nga bw’aliko omuntu gwasse ng’amuleetako olugezigezi era n’abategeeza nti ekyo kikyali kituuza akyatta kubanga agenda kutta n’abalala basatu.

Yabadde akyewaana ng’akulira ebyokwerinda n’abatuuze bamutuuseeko ne bamukwata.

Abatuuze abazze oluvannyuma baayagadde okumuggya ku w’ebyokwerinda bamugajambule kyokka ne n’abasinza amaanyi ne bamutwala ku poliisi y’e Mpigi.

Lugya nga yakakwatibwa yategeezezza ow’ebyokwerinda nti okutta mukama we yayambiddwaako abantu basatu kyokka poliisi yagezezzaako okubanoonya nga badduse nga kati ebayigga.

Poliisi y’e Jjeza ng’ekulembeddwaamu Omari Kalim yagenze mu kifo awaabadde ettemu ne beekebejja omulambo nga guliko ebiwundu bibiri. Baagutte mu ddwaaliro e Mityana okugukebera nga tebannaba kuguwa aba famire.

Abatuuze baategeezezza poliisi nti Ddegeya abadde yaguze ekirombe ky’omusenyu n’atwala Lugya okumuyambako okutikka omusenyu ku mmotoka kyokka babadde bakatikkako loole emu n’amwefuulira n’amutta mu bukambwe.

Yakubidde abaabadde batutte omusenyu nga baddayo okukima omulala nti tebakomawo kubanga mukama waabwe yabadde afudde.

Abatuuze baasabye poliisi abantu bonna Luggya be yayogeddeko banoonyezebwe bakwatibwe era bavunaanibwe.

Omari yagambye nti, poliisi enoonya Faruq Bukenya, Joseph Ssemanda ne Kyeyune Lugya be yayogeddeko nti be baamuyambe mu ttemu lino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...