TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Trump baamwanirizza na kwekalakaasa e Bungereza: Yeekoze obusolosolo ne Theresa May

Trump baamwanirizza na kwekalakaasa e Bungereza: Yeekoze obusolosolo ne Theresa May

By Musasi wa Bukedde

Added 14th July 2018

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump, ali ku bugenyi obw’ennaku ennya mu Bungereza yatuukidde mu kwekalakaasa ng’Abangereza abamu bagamba nti asaana kkomera.

1631531477448trump 703x422

Bwe yabadde asimbula okuva e Brussels baamubuuzizza ku ky’abantu abaabadde beekalakaasa n’ayanukula nti ye takirinaako buzibu, akimanyi abantu bangi e Bungereza bamwagala kubanga bamuwagira olw’okugoba abagwira gy’amanyi nti yeemu ku nsonga lwaki Bungereza eyagala kwabulira mukago gwa Bulaaya.

Yasoose kulabula nti Bungereza keyeetantala n’eva mu mukago gwa Bulaaya n’atiisa nti Amerika yaakusazaamu enkolagana yaabwe mu by’obusuubuzi. Yagenze okwogera bino ng’abantu mu Bungereza beeyiye ku nguudo bali mu kwekalakaasa bawakanya okukyala kwa Trump ewaabwe.

Baabadde bakutte ebipande okuli ebigambo nga bakunga abakungu ba Bungereza beekandagge bave mu lukuηηaana mwe baabadde. Ebirala nga bivvoola Trump n’okumuvumirira nti musosoze mu langi.

Trump bwe yabadde asimbula okugenda okusisinkana Katikkiro wa Bungereza Theresa May, yasoose kwogera n’Olupapula lw’amawulire The Sun n’alabula nti ssinga bagenda mu maaso n’enteekateeka y’okwabulira omukago gwa Bulaaya ne Amerika yaakukomya okukolagana ne Bungereza.

Yagambye nti emirundi mingi azze awabula May kyokka alabika okulabula kwe takututte ng’ekikulu. “Ssinga nali nze eyo ensonga nandigikutte mu ngeri ndala ey’ekisajja kikulu” Trump bwe yaggumizza.

Yajoogedde Abangereza omwabwe n’ategeeza nti okulonda May ku bwakatikkiro yali nsobi, nga ye yali asuubira nti eyali minisita w’ensonga z’ebweru Boris Johnson yandibadde Katikkiro wa nkizo kyokka kimwewuunyisa okubeera nti baamusuula era takyali mu gavumenti.

Teyakomye awo, n’alumba meeya wa London, Sadiq Khan nti talina ky’akoze mu kulwanyisa obutujju.

Wano yabadde yaakava mu lukuηηaana lw’omukago gwa NATO gye yategeerezza nti agenda kukola kyonna ekisoboka okuzza emirembe mu Africa era mu kiseera kino amagye ga Amerika gali mu kutendeka magye mu mawanga ag’enjawulo mu Afrika okulwanyisa abatujju.

Yattukizza olutalo lwe ku bagwira n’agamba nti, okukkiriza obukadde n’obukadde bw’abagwira mu Bulaaya kyennyamiza.

Bano be bavuddeko obumenyi bw’amateeka okweyongera era kati bubuutikidde London n’ayongera okukolokota Meeya Khan nti bimulemye tasobola kubalwanyisa.

Ebigambo bino byonna olwagudde mu matu g’Abangereza, essungu ly’okuwanduka mu mpaka za World Cup baalimalidde ku Trump bwe baamulangidde obusosoze.

May bwe yatuuse okwogera naye n’akiggumiza nti Bungereza okwabulira omukago gwa Bulaaya gubeera mukisa nnyo gyebali okwongera okutumbula eby’obusuubuzi n’okutondawo emirimu.

Yagambye nti kijja kubayamba okuggyawo emiziziko egiteekebwawo omukago gwa Bulaaya okulemesa Bungereza okusuubulagana obutereevu ne Amerika ne bafundikira nga bateekayo kingi mu mukago ne gugasa n’abatalina kye bateekayo, bannansi ba Bungereza ne basigala nga tebafunyemu.

BANYWEZEZZA EBYOKWERINDA

Trump okugenda mu Bungereza ku bugenyi obw’ennaku ennya, yagenze ne mukyala we Melania Trump.

Ng’oggyeeko ennyonyi entongole eya Air Force One mw’atambulira eyatuukidde ku kisaawe kya Stansted Airport yagenze ne namunkanga Marine One eyamutambuzizza okugenda ku kitebe ky’Omubaka wa Amerika mu Central London era yeeyamubuusizza okugenda ku Lubiri Blenheim gye yasisinkanidde Katikkiro May ne bba Richard May gye baabagabulidde ekyeggulo makeke.

 

 

Yayaniriziddwa omubaka w’Amerika e Bungereza, Woody Johnson ng’ali ne minisita w’ebyobusuubuzi Liam Fox.

Omuduumizi w’amagye ow’oku ntikko mu Amerika, yagenze n’abaserikale 1,000 okukuuma Trump n’akulemberwa emmotoka Cadillac gye baakazaako ‘The Beast’ etayitamu masasi.

TRUMP YEEKOZE OBUSOLO

Yatuuse ne mukyala we eyabadde mu kiteeteeyi ekiwanvu ekya kyenvu, olwamaze okubaaniriza ne bakumba okugenda ku Lubiri, Trump n’ava ku mukyala we n’akwata Katikkiro wa Bungereza May ku mukono ne bakumba.

May yabadde mu kiteeteeyi ekimyufu ekiwanvu, olwamukutte omukono ne bba Richard May n’akwata Malenia Trump omukono ne bakumba okutuuka ku madaala we beekubisirizza ebifaananyi nga Trump bw’amwenyamwenya n’okuseka obuseko. May we yatambulidde ne Trump yalabiddwa ng’amussa enseko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.