TOP
  • Home
  • Agawano
  • Besigye akolokose Museveni okuwa ababaka ba Palamenti obukuumi

Besigye akolokose Museveni okuwa ababaka ba Palamenti obukuumi

By Muwanga Kakooza

Added 14th July 2018

Besigye yagambye mu bubaka ku mukutu gwe ogwa ‘’twitter’ nti " Uganda eyinza okuba ensi esoose okuwa ababaka ba palamenti 426 abamagye ababakuuma olw’okuba beetaba mu kukyusa Konsitusoni ne batongoza obukulembeze bw’obutava mu buyinza okutuusa okufa".

Home09pix 703x422

COL. Kiiza Besigye avuddeyo ku kya Pulezidenti Museveni okuwa ababaka ba Palamenti kabangali eziriko abajaasi ababakuuma n’agamba nti Uganda yandiba ensi esoose okukola kino olw’okuba (ababaka) beetaba mu kukyusa Konsityusoni ne bamulemeza (Museveni) mu buyinza.             

Ate nnampala w’ababaka ba Palamenti ab’oludda oluvuganya, Ibrahim Ssemujju Nganda ategeezezza nti baakulembera (ab’oludda oluvuganya) bagenda kutuula bakubaganye ebirowoozo ku kya Pulezidenti Museveni okusuubiza okuwa ababaka kabangali ezitayitamu masasi n’abajaasi abakukuuma.             

Bino biddiridde ebbaluwa Pulezidenti Museveni gye yawandikidde Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija  ng’amugamba okunoonya ssente z’okugulira ababaka ba Palamenti kabangali okunassibwa abajaasi bamutasubwa babakuume baleme kutirimbulwa ‘batujju’.             

Bino byonna biddiridde okutemulwa kw’eyali omubaka wa Munissipaali ya Arua, omugenzi Ibirahim Abriga eyakubibwa amasasi e Matugga ng’ali n’omukuumi we.

Abiriga yali muwagizi wa NRM omututumufu nga buli ky’akozesa kya kyenvu (kala ya NRM) okuva ku ngoye z’ayambala okutuuka ku by’akozesa awaka n’emmotoka gy’avuga.

Kigambibwa nti ababaka baasisinkana Pulezidenti Museveni ne bamutegeeza ng’obulamu bwabwe abamu bwe buli matigga.             

Kyokka Besigye yagambye mu bubaka ku mukutu gwe ogwa ‘’twitter’ nti ‘’Uganda eyinza okuba ensi esoose okuwa ababaka ba palamenti 426 abamagye ababakuuma olw’okuba beetaba mu kukyusa Konsitusoni ne batongoza obukulembeze bw’obutava mu buyinza okutuusa okufa.             

Ye Nganda yategeezezza  nti kikyamu okuwa ababaka bokka obukuumi n’agamba nti Bannayuganda bonna babwetaaga.

Yagambye nti bwe kiba ng’ebyokwerinda kw’eggwanga bye biri obubi  ensonga ekolerweko wamu so ssi kukuuma babaka bokka n'ayongerako nti ekizibu bwe kiba nti abantu bakyaye bukulembeze ky’ekiseera budde ebbali.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...