TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Ofiisa wa poliisi eyafudde abadde ku mbiranye n’abamu ku bakulu

Ofiisa wa poliisi eyafudde abadde ku mbiranye n’abamu ku bakulu

By Musasi wa Bukedde

Added 15th July 2018

Ofiisa wa poliisi eyafiiridde e Dubai abadde ku mbiranyi n’abamu ku bakulu mu poliisi nga kigambibwa nti abadde abalemesa ddiiru.

Leka 703x422

CP. Wilfred Okello Makmot

CP. Wilfred Okello Makmot y’abadde avunaanyizibwa ku mmundu entono (light weapons) n’okulondoola ebitongole ebikuumi eby’obwannanyini, n’emmundu eziri mu mikono gy’abantu baabulijjo.

Kigambibwa nti emmundu mu poliisi ziriko ddiiru efuna.  Waliwo boofiisa abagabira abantu abakyamu emmundu era bano tebaagala zirambibwe.

Waliwo n’abantu baabulijjo abaagala okufuna emmundu ez’omulembe ezitakkirizibwa bantu baabulijjo bano okuzifuna bagulirira.

Okello yafudde nga July 9, ng’ali ku kisaawe ky’ennyonyi e Dubai bwe yabadde alinze ennyonyi emuleeta e Ntebe.

Yavudde Amerika gye yeetaba mu lukiiko lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) olukwata ku kukusa emmundu. Lwabadde mu New York nga June 18-30. Gye yava n’ayitira e Florida eri abooluganda lwe.

Yavudde mu Amerika nga July 8, kyokka n’afiira e Dubai ng’alinze ennyonyi emuleetera e Ntebe.

Kyategeezeddwa nti Okello abadde n’obuzibu ne bofiisa banne ng’emirundi egimu alinnya mu ddiiru zaabwe.

Era wadde y’omu ku baludde mu bifo era ng’akola bulungi emirimu kyokka baamutuulako n’atakuzibwa kusukka ku ddaala lya kaminsona (Commissioner of police).

Ensonda zaategeezezza nti Okello era abadde n’obuzibu ne boofiisa ku nkwata y’ensonga za Kaweesi.

Kaweesi bwe yatemulwa nga March 17, 2017 olwo abakungu mu poliisi ne bakissa ku Okello nti yali alagajjalidde omulimu gwe n’atalondoola mmundu ziyingira mu ggwanga mu bukyamu.

Olwo baali balumiriza nti emmundu ezatta Kaweesi mu Uganda teziriimu nga zirabika zaayingizibwa kuva bweru.

Omu ku mikwano gya Okello yagambye nti, abakulu abalala, baali bamunenya okweyingiza mu bitamukwatako ng’abuuliriza ku mmundu ezaali zaagabibwa mu bantu babulijjo.

Kigambibwa nti waliwo boofiisa mu poliisi ababadde bafuna mu mmundu ezigabwa eri abantu ba bulijjo abatayagala mmundu kuteekebwako laama n’abalala ababadde batunda emmundu za poliisi.

Paddy Sserunjogi amanyiddwa nga Sobi, yavaayo n’alumiriza omu ku banene mu poliisi nti ye yali amuwa emmundu ze yakozesanga mu bubbi n’amala n’azimuddiza ng’amaze emirimu. Sobi y’omu ku babbi abaali bakaabya Bannakampala.

Yali abbisa mmundu n’okutemula abantu. Omwezi oguwedde, amagye gaakutte Good Mwesigye eyali yalondebwa Gen. Kale Kayihura okukulira ekitongole kya poliisi ekikwasisa empisa ekya PSU ng’adda mu bigere bya Joel Aguma eyaggulwako emisango mu kkooti y’amagye.

Kigambibwa nti, Mwesigye baamukutte lwa kutunda mmundu za poliisi. Ate Abudallah Kitatta, bwe yakwatibwa yeewozaako nti emmundu ze baamukwata nazo, za muserikale we eyamuweebwa poliisi okumukuuma.

Emmundu essatu ze baamukwata nazo, emu yokka y’eriko obulambe bwa poliisi. Endala bbiri ze yali alumiriza nti zaamuweebwa Kayihura tezirina bulambe.

ABADDE YAKYUSA ENGERI POLIISI GY’EFUNAMU EMMUNDU EMPYA

Omuduumizi wa poliisi ye yali ateeka omukono ku mpapula z’okugula emmundu empya.

Ensonda mu poliisi zigamba nti, oluvannyuma lw’okukizuula nga waliwo emmundu ezibulankanyizibwa, Okello yawa bakama be amagezi obutaddamu kukkiriza muntu yenna kuva mu poliisi kwenyigira mu byakugula mmundu.

Kigambibwa nti Gavumenti yagula ekirowoozo kya Okello, era okuva olwo Minisita w’ensonga z’omunda yassa omukono ku biwandiiko ebigula emmundu za poliisi. Poliisi yasindise abakugu baayo e Dubai okukola ku by’okuzza omulambo.

Famire ya Okello etegese olukiiko ku Ssande okuteesa ku by’okuziika. Asibuka mu disitulikiti ya Amuru.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cana 220x290

Abakyala temusirikira ebibaluma...

Abakyala n’abaana bawereddwa amagezi obutasirikira ebibaluma mu maka ne mu bulamu obwa bulijjo

Kolima1 220x290

Kayihura avuddemu omwasi: 'Bankijjanya,...

OMUSASI wa Bukedde ayogedde ne Gen. Kale Kayihura ku kkoligo lye baamutaddeko obutaddamu kulinnya kigere mu Amerika...

Ssaavabugingonakiwala4 220x290

Nakiwala atadde ku Bugingo obukwakkulizo...

MINISITA w’abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi atadde ku Paasita Aloysius Bugingo obukwakkulizo ku ngeri...

Lobe 220x290

Owa bbooda eyalaba eyatemula Nagirinya...

OWA boda eyavuganga ddereeva wa Nagirinya, Ssaalongo Ronald Kitayimbwa, ayogedde bwe yayitibwa poliisi y’e Katwe...

Twala 220x290

Kayihura nnatti za Amerika zimunyize...

GEN. Kale Kayihura alaajanye ku nnatti za Amerika, bw’ayise mu bannamateeka be ne bakola enteekateeka okusisinkana...