TOP
  • Home
  • Agawano
  • Abagambibwa okuwamba omuyizi ne bamutta bavunaaniddwa

Abagambibwa okuwamba omuyizi ne bamutta bavunaaniddwa

By SHAMIM NABUNNYA

Added 15th July 2018

ABASAJJA abagambibwa okuwamba omuwala Edrina Nalule eyali omuyizi wa YMCA e Buwambo ne bamutta omulambo ne bagusuula e Mutundwe mu Kabaawo Zooni basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti y’e Makindye Allan Gakyaro.

Mada 703x422

John Olo ne Herbert Lukwago (ku ddyo).

Abaasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi ne basomerwa omusango gw’obutemu ku Lwokutaano kwabaddeko; Elias Kamanda Mugabi 23, oluusi eyeeyita Shakulu Byamukama omutuuze w’e Mengo, Herbert Lukwago 32, oluusi eyeeyita Nsawo mutuuze w’e Masajja Kibira ne John Ola Bosco eyeeyita Kifeesi Okello 26, omutuuze w’e Mengo.

Bano kigambibwa nti, baawamba omuwala Edrina Nalule nga May 7, 2018 mu bitundu bya paaka enkadde mu Kampala ne basaba bazadde be ssente.

Bano kigambibwa nti baakozesa ettima erisembayo okubeera ebbi, omuwala baamuteeka ku ssimu ne bamutulugunya nga bw’alaajana eri bazadde be oluvannyuma ne bamutta.

Omulambo baagusalako ebbeere erimu, ne baguggyamu eriiso oluvannyuma ne bagusuula mu Kabawo Zooni e Mutundwe poliisi gye yagusanga n’egutwala mu ggwanika e Mulago abazadde gye baaguggya.

Kyokka mu ngeri y’obujoozi baasigala bakubira abazadde essimu babawe ssente ze baakozesa mu kutambuza omulambo n’okugula ekiveera mwe baaguzinga.

Wadde bano baasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi, bazadde ba Nalule baasigadde tebamatidde ku ngeri Paasita Ronald Wambazu gye yaggyiddwa ku fayiro poliisi n’emuta ku kakalu kaayo awatali kakwakkulizo konna.

Bano balumiriza nti, Wambazu amanyi bulungi olukwe olwakolebwa okutta muwala wabwe kubanga yali amulimbyelimbye nga yamufuula muganzi we n’olunaku lwe yawambibwa, yali ava kulaba ye n’eggulo limu yasula mu maka ge.

Omulamuzi omusango yagwongezzaayo okutuusa nga August 3, 2018 lwe banaakomawo baddemu okusomerwa omusango gwabwe.

Omulamuzi yabategeezezza nti, kkooti ye terina buyinza kuwulira musango gwabwe kubanga gwa nnaggomola oguwulirwa kkooti enkulu yokka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA