TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Iso ereese omujulizi omukambwe okulumiriza Kayihura

Iso ereese omujulizi omukambwe okulumiriza Kayihura

By Musasi wa Bukedde

Added 16th July 2018

Iso ereese omujulizi omukambwe okulumiriza Kayihura

Kab1 703x422

Kayihura

PADDY Sserunjogi amanyiddwa nga Sobi, ekitongole kya ISO kimugasse ku lukalala lw’abajulizi abagenda okulumiriza boofiisa ba Gen. Kale Kayihura abaakwatibwa ku misango egiwerako. Sobi yeewaako obujulizi ku by’okubba n’okutta abantu kyokka agamba nti kati yalokoka, era ayambako kulwanyisa bumenyi bw’amateeka.

Yasooka kukola ne poliisi wabula oluvannyuma n’afuna obutakkaanya ne boofiisa ng’agamba nti yabalooperanga abamenyi b’amateeka ababbisa emmundu wabula ne batabakolako era oluvannyuma yakizuula nti boofiisa abo be baapangisanga ababbi abo emmundu oluvannyuma ne bagabana omunyago.

Mu kiseera kino, Sobi abadde akolagana n’ekitongole ekiketta munda mu ggwanga ekya Internal Security Organisation (ISO) era be baasazeewo Sobi abeere omu ku bajulizi nga beesigama ku bwino gw’alina ku boofiisa abaali baddukanya poliisi mu bitongole eby’enjawulo ku mulembe gwa Kayihura.

Obujulizi bwa Sobi butuuka ne ku Gen. Kayihura yennyini gw’agamba nti, yamutuukirira enfunda eziwera ng’amuloopera boofiisa abakolagana n’ababbi, wabula nti talina gwe yakolako era bwe yalaba bimutabudde kwe kuddukira ewa Maj. Gen. Henry Tumukunde eyali Minisita w’obutebenkevu n’abimuyitiramu era ono nti ye yamulaga nti ensonga azitutte ng’enkulu.

YEEZINZE KU BOOFIISA BANA Sobi agamba nti bwe yannyuka obubbi ng’akooye okutulugunya n’okutta abantu abatalina musango, yasalawo okwewaayo mu mikono gya poliisi. Agattako nti, yatuukirira Gen. Kale Kayihura ng’akyali omuduumizi wa poliisi mu 2015 n’amutegeeza nti akooye okubba ayagala akwatagane naye kubanga ye amanyi ababbi bonna abomutawaana ne gye basibuka. Yamuwa obweyamo nti agenda kumuyambako okutereeza eggwanga.

Kayihura yamusindika mu kitongole kya Special Operations Unit (SOU) ekyali kikulemberwa SSP Nixon Agasirwe. Mu kiseera kino Agasirwe ali mu kkomera ly’amagye e Makindye oluvannyuma lwa kkooti y’amagye okumuggulwako emisango gy’okuwamba bannansi ba Rwanda ne babazza e Rwanda ku mpaka era abamu ne battibwa. Yasibwa ne boofiisa abalala okuli n’eyali akulira ekitongole ekikwasisa empisa mu poliisi (PSU) SCP Joel Aguma.

                    Sobi agamba nti ye obubbi yabuvaamu.

Bye yasanga mu kitongole Agasirwe kye yali akulira nti byamukuba wala era ebyo by’ategese okuttottolere kkooti ng’alaga engeri boofiisa gye baakolanga ddiiru n’ababbi ne babawa emmundu okukola misoni omuli ez’okuwamba abantu abatalina musango naye ng’ekigendererwa kya kubaggyamu ssente era abamu nga bamaliriza babasse.

Ddiiru endala z’agamba ezaasinga okukolerwanga mu kitongole ekyo nti zaali za kubba mmotoka ne batta bannyinizo era ng’ababbi balina okwanjula omunyago, boofiisa ne bagabana.

Kuno agattako ‘misoni’ z’okuteega mmotoka z’ebyamaguzi ne banyagulula ssente n’ebintu ebikalu era ne bisibira mu mayumba ga boofiisa. Yeezinze ku boofiisa bana okuli abasatu abaakwatibwa kw’ossa omu ali ku ddaala lya Dayirekita wabula ng’ono takwatibwanga.

Ensonda zaategeezezza nti boofiisa abaakwatiddwa Sobi b’agenda okulumiriza kuliko;

1 Agasirwe, Herbert Muhangi eyabadde akulira Flying Squad 2 Col. Ndahura Atwooki eyabadde akulira eby’ekikessi (Criminal Intelligence) mu poliisi ku mulembe gwa Kayihura.

3 Ofiisa oomulala atannakwatibwa, amannya galekeddwa.

4 Sobi alina n’obujulizi ku Abdallah Kitatta n’ekibinja kye ekya Bodaboda 2010.

Ebintu bwe byatandika okutabuka ku boofiisa ba Kayihura, baalagira Sobi n’akwatibwa nga beekengedde ku by’ayogera wabula baamusuza e Nalufenya ekiro kimu, ISO n’emununula.

ISO egamba nti mu kukwata Sobi, boofiisa baali beekengedde obujulizi bw’abalinako nga banoonya bwe bamutwala e Luzira avundire eyo beewonye ebizibu. Nti kino kye kyawaliriza ISO okumununula mu bwangu nga tannatuusibwako bulabe.

Sobi poliisi yamukwata nga January 15, 2018 era nga waakayita ennaku ssatu zokka nga bamuyimbudde, amagye ne gazingako Kitatta n’akabinja ke ne babayoola.

SOBI BAMWONGEDDE OBUKUUMI Ensonda mu ISO zaategeezezza nti, Sobi baamwongedde obukuumi oluvannyuma lw’okusalawo nti y’omu ku bagenda okubeera abajulizi mu misango egivunaanibwa boofiisa ba poliisi.

Waliwo okutya ku bajulizi abakulu mu misango egy’enkizo okuli n’ogw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi Andrew Felix Kaweesi nga kwesigamizibwa ku kuttibwa kwa makanika Mukwasi eyalaba abatta Kaweesi wabula ne bamulondoola ne bamusalako omutwe kw’ossa n’enfa ya ofiisa avunaanyizibwa ku mmundu entono Wilfred Okello Makmot ekyalimu ebibuuzo.

Okello yafiiridde Dubai nga yaakava mu nnyonyi eyamuggye mu Amerika, ng’alinze ennyonyi emuzza mu Uganda. Okello abadde omu ku bajulizi ababadde basuubirwa okuwa lipooti ku mmundu ezatta Kaweesi n’eza Kitatta.

Okusinziira ku nsonda, Sobi baamutadde mu kifo ekimu ISO mwekuumira abajulizi baayo ne bamuteekako obukwakkulizo, okufuluma alina kufuna lukusa kuva wa Dayirekita wa ISO kubanga bamukuuma nga mujulizi mukulu nnyo. Baamwongedde abaserikale okunyweza ebyokwerinda bye aleme kutuusibwako buzibu. Kaka bwe yatuukiriddwa ku ssimu ku bya Sobi okumufuula omujulizi wa Kayihura yagambye nti, ensonga za Sobi zikwatidda bulungi n’omusango gutambula bulungi.

KAYIHURA AWEZEZZA OMWEZI MU KADUUKULU

Nga July 13, gwaweze omwezi bukya nga Kayihura akwatibwa okuva ku ffaamu ye ku kyalo Katebe mu ggombola y’e Kasagama e Lyantonde n’aggalirwa mu nkambi y’amagye e Makindye.

Omwogezi w’amagye Brig. Richard Karemire yategeezezza nti, beetaaga obudde okumaliriza okunoonyereza ku nsonga za Kayihura n’ategeeza nti bwe banaaba batuusizza okumutwala mu kkooti bajja kutegeeza eggwanga.

Bino byaddiridde ekibiina ekigatta bannamateeka ekya Uganda Law Society (ULS) okutuuza olukuhhaana lwa bannamawulire ne basaba amagye okutwala Kayihura mu kkooti kubanga essaawa eziragirwa mu mateeka 48 zaggwaako dda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo