TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Trump oluvudde ewa Kkwiini n’agenda asisinkane Putin

Trump oluvudde ewa Kkwiini n’agenda asisinkane Putin

By Musasi wa Bukedde

Added 16th July 2018

Trump oluvudde ewa Kkwiini n’agenda asisinkane Putin

Web1 703x422

Pu tin (ku kkono) lwe yasisinkana Trump gye buvuddeko.

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump ne Pulezidenti wa Russia, Vladimir Putin basisinkana leero mu kafubo ak’ebyafaayo wakati mu bunkenke n’ebyokwerinda ebyamaanyi olw’embiranye wakati w’amawanga gombi.

Akafubo ka Trump 71, ne Putin 65 kategekeddwa mu lubiri gaggadde olwa Pulezidenti wa Finland olusangibwa mu kibuga Helsinski nga Putin ne Trump bombi bayungudde abasajja baabwe enkwatangabo okubaawo ku lusegere lwabwe.

Okugenda mu kafubo, Trump avudde Scotland mu United Kingdom (UK) mu wooteeri ye galikwoleka eyitibwa Trump Turnberry gye yawummulidde oluvannyuma lw’obugenyi bwe ‘kasobeza’ mu Bungereza gye yasisinkanidde Kkwiini, Katikkiro May Mary Theresa n’abalala.

Trump yatuuse e Finland ku Ssande ku ssaawa 3:00 ez’ekiro ng’olwavudde ku kisaawe ky’ennyonnyi yavugiddwa butereevu okugenda ku wooteeri ekisinga ebbeeyi mu Finland eya Hilton Kalastajatorppa gye yasuze ne mukyala we Melania.

Putin yasoose fayinolo ya Word Cup wakati wa Bufalansa ne Croatia nga yabadde asuubirwa okutuuka e Finland ku ssaawa 2:00 ez’oku makya ku Mmande agende butereevu mu Lubiri lwa Pulezidenti Sauli Niinisto.

Akafubo kano ka byafaayo kubanga ke kafubo akatongole akasoose bukya Trump awangula akalulu aka 2016 akagambibwa nti Russia yakakwatamu n’emuyamba okuwangula Hillary Clinton ow’ekibiina kya Democrats.

Trump ne Putin we basisinkanidde nga bannansi ba Russia 12 bagguddwaako emisango mu butongole ogw’okusomola ebyama bya Hillary Clinton ekyayamba Trump okuwangula era kino kyayongedde obunkenke wakati w’amawanga gombi.

Ab’ekibiina ky’aba ‘Democrats’ balumirizza Trump nti yamanya ku lukwe lw’aba Russia okusomola ebyama bya Clinton era baakwata mu kalulu ne kiyamba Trump okuwangula kyokka bino Trump abiwakanya era yategeezezza nti mu kafubo ne Putin, agenda kumubuuza oba ddala Russia yeeyingiza mu by’okulonda kwa Amerika.

Trump era yagambye nti waakussa Putin ku nninga ku nsonga ez’obutabanguko obuli mu Syria n’engeri Russia gye yeeyingiza mu nsonga za Ukraine ez’omunda wamu n’embeera endala eriwo mu nsi omuli n’ebya North Korea. NKOMAWO MU 2020- TRUMP Trump ategeezezza nti talina kubuusabuusa kwonna agenda kuddamu okuwangula okulonda kwa Pulezidenti wa Amerika mu 2020.

Bino yabitegeezezza munnamawulire wa Dailymail, Piers Morgan mu mboozi ey’akafubo ku nnyonyi ye eya Airforce One ng’agenda mu Scotland. Trump yagambye nti mu kulonda kwa 2020 agenda kumenya mu jjenje kkalu kubanga tabalawo muntu alimu ggumba mu b’ekibiina ky’aba Democrats anaamuwa obuzibu. Yagambye nti agenda kuwangulira waggulu n’okusinga bwe yamezze Hillary Clinton mu kulonda kwa 2016.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...