TOP

Owa UPDF asse mukazi we mu bukambwe

By Musasi wa Bukedde

Added 16th July 2018

Owa UPDF asse mukazi we mu bukambwe

Fub2 703x422

Abajaasi nga basamba ensiko.

ABOOLUGANDA lw’omugenzi Annet Kabirungi 35, bba omujaasi Bernard Okumu gwe yasse oluvannyuma lw’okusooka okumutemako ebitundu by’omubiri eby’enjawulo, babammye ekiwuduwudu ky’omuntu waabwe ku ggwanika e Mulago ne babategeeza nti balina okusooka okuzuula ebintu by’omubiri ebirala ebitannazuuka.

Abel Tulugwa kojja w’omugenzi yategeezezza nti, omugenzi abadde yanoba emyaka mukaaga emabega era abadde yabategeeza ku butakwatagana obuliwo ne bba era ng’abadde amukuba nnyo ekyamuwaliriza okunoba n’agenda mu kyalo e Kabale. Yagambye nti, olunaku bba Okumu lwe yamukuba emiggo egyamulunguula omubiri gwonna abooluganda baamuwa amagezi amwesonyiwe. “ Mu kyalo gy’abadde yanobera abaddeyo ne muwala we Doreen.

Omwala bwe yavubuka (kati aweza emyaka 15) n’amusindika ewa kitaawe e Kakiri mu disitulikiti y’e Wakiso abeere ne kitaawe. Nga wayise akabanga naye yawondera muwala we okumanya embeera gy’alimu era teyaddayo n’addamu okutokoseza Okumu ettooke”, Tulugwa bwe yategeezezza.

Wabula ku Lwomukaaga kojja we yategeezezza nti, yafunye essimu okuva ewa muzzukulu we Doreen (muwala wa Kabirungi) n’amutegeeza nti maama we amaze ebbanga nga takyamulaba era ng’okuva awaka bba yali amuwadde ssente okugenda okugula emmere wabula n’atadda.

BBA ALOOPA KU POLIISI

Nga wayise wiiki nnamba bba yagenda ku poliisi n’aloopa okubula kwa mukazi we era fayiro y’okubula kwe n’eggulwawo. Nga wayise wiiki nnamba abamu ku batuuze abaliraanye enkambi y’amagye ga UPDF abaabadde bataambula be baagudde ku kiwuduwudu ky’omukazi mu kasiko.

Kabirungi yattibwa mu ngeri ya ntiisa nnyo kubanga omutwe baagutemako, emikono gyombi baagisalako, amabeere gombi n’ebitundu ebyekyama baabisalako ne bagenda nabyo. Okumanya omutemu yakozesa ettima lingi n’amagulu ge yagasalaako nago n’agatwala! Ku Lwomukaaga poliisi y’e Kakiri yakwataganye n’abamu ku bajaasi b’omu nkambi y’e Kakiri ne batandika okusamba ensiko okulaba nga bazuula ebitundu by’omubiri ebirala nga buteerere.

Oluvannyuma baagenze mu nkambi ne baaza ennyumba ya Okumu bba w’omugenzi ne basanga omufaliso ogujojobanye omusaayi ne beekengera era ne bamussa ku mpingu annyonnyole ku musaayi ogwabadde ku mufaliso.

Bwe baayongedde okwaza ne basanga engoye z’omugenzi mu kaabuyonjo, baazudde n’ebyambalo by’amagye okwabadde omusaayi n’abatwala ne mu kasiko we baasanze engoye z’omugenzi ze yalimu ku lunaku lwe yava awaka.

Okumu yakkirizza okutta mukazi we Kabirungi era n’agamba nti, ettemu lino teyalikola yekka era alina abaserikale be yalonkomye abaamuyambako okutta mukazi we mu ngeri ey’entiisa bw’eti. Abaserikale be yalonkomye poliisi yakutteko babiri nga mu kiseera kino bakuumirwa ku poliisi y’e Kakiri.

MUWALA W’OMUGENZI AKWATIDDWA Poliisi ng’ekyagenda mu maaso n’okukola okunoonyereza ku ttemu lino, yakutte muwala w’omugenzi eyategeerekeseeko erya Doreen lyokka okubaako by’atangaza ku ttemu lino.

EKIWUDUWUDU KYAKUKEBEREBWA

Abasawo baategeezezza abooluganda nti, balina okusooka okukebera ekiwuduwudu kino okukakasa ddala nti, kya Kabirungi kubanga kiyinza okuba ng’ono muntu mulala. Bannyonnyodde nti, tekiba kirungi okubawa omuntu nga wa kitundu aate nga waliwo essuubi okuzuula ebitundu ebirala engeri bba Okumu gye yakkirizza nti, ye yasse mukazi we.

Tulugwa yagambye nti, baabagambye nti omulambo bayinza okugubawa nga wayise omwezi gumu. Ssanduuko gye baabadde baguze baagirese ku ggwanika e Mulago okutuusa lwe balibayita okubawa omulambo guno. Poliisi y’e Kakiri ekyagenda mu maaso n’okunoonya ebitundu ebirala bye baasala ku Kabirungi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana