TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Abavubuka muve ku matatu ne walagi w'obuveera - Minisita Muyingo

Abavubuka muve ku matatu ne walagi w'obuveera - Minisita Muyingo

By Musasi wa Bukedde

Added 17th July 2018

MINISITA avunaanyizibwa ku matendekero aga waggulu Dr. JC Muyingo era nga mubaka wa Bamunaanika mu palamenti alabudde abavubuka nti bwe banalemera ku matatu, okunywa walagi w'obuveera n'okukwanakwana abawala ba kusigala emabega munkulaakulana.

Dsc0357 703x422

Dr. Muyingo ng'akwasa aba Lunyolya PS agamu ku mabaati. EKIF SAMUEL KANYIKE

Bya Samuel Kanyike         

Yasinzidde mu kukwasa amabaati 250 okusereka essomero lya Lunyolya P/S mu ggombolola y'e Kalagala mu Luweero n'asaba abavubuka okweyambisa obulungi ebiseera nga bakyalina amaanyi bakole. 

Abatuuze naboi yabasabye okwegyamu okwenyooma bakole okufiirawo, okwongera ku ssaawa z'okukola ate bwe bafuna ensimbi bazikekkereze n'okuterekako lwe bajja okugenda mu maaso. 

"Obwavu bukyali bungi mu byalo naye nga ekitusibye mu bwavu kwe kuleka emmwanyi n'ensuku ne bizika ssaako okufuna ssente ne tuzirya kivubi njagala muyige empisa y'okukekkereza n'okutereka tufune ssente okusobola okuweerera abaana n'okwetusaako ebirungi ebirala' Dr. Muyingo bwe yagambye. 

Dr, Muyingo yasuubizza okutegekera emisomo gy'enkulaakulana eri aba LC abaalondeddwa basobole okuwagira enteekateeka za gavumenti ez'okukulaakulanya ebyalo byabwe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.