TOP

Lukwago azize olukiiko lwa Beti Kamya

By Hannington Nkalubo

Added 17th July 2018

LOODI Meeya Erias Lukwago agaanye ekiteeso kya minisita wa Kampala Beti Kamya eyamuwandiikidde ng’amutegeeza nti ategeke olukiiko mu kifo kyonna ky’ayagala amutabaganye ne dayirekita Jennifer Musisi Ssemakula.

Lukwago 703x422

Lukwago ne Betti Kamya nga bali mu lukiiko olumu

Lukwago azzeemu ebbaluwa ya Kamya ng’amujjukiza yamuwandiikira ebbaluwa nga January 23, 2018, ng’ayimiriza enkiiko ze (Lukwago) nti zimenya amateeka.

Yamutegeezezza nti dayirekita Jennifer Musisi ne banne bazze beeyambisa ebbaluwa zino okugaana okwetaba mu nkiiko zonna z’ayita.

Yamutegeezezza nti olukiiko lwa bakansala lwasalawo dda okulonda akakiiko ka bantu bana okutunuulira ensonga z’okubatabaganya nga lukulirwa omumyuka we Hajjat Sarah Kanyike.

Kyokka mu bbaluwa ya minisita Kamya eya nga July 11 2018, yategeeza Lukwago nti alina omukisa okulonda ekifo, olunaku n’okusengeka ensonga ezigenda okwogerwako era n’amuwa ennaku musanvu ng’amuweerezza ky’asazeewo.

Yamutaddeko akakwakkulizo nti byonna ssinga abigaana, agenda kumusalirawo olunaku n’ekifo kubanga ensonga y’okubatabaganya nkulu.

Jennifer Musisi ye yasooka okuwandiikira minisita Kamya ng’amutegeeza engeri embeera y’enkiiko ezituuzibwa ne bye ziyisa ng’okukendeeza omusolo gw’amayumba bwe kikontana n’amateeka.

Wabula bakansala oluwulidde nti olukiiko lwa minisita Kamya ne Lukwago ne Jennifer bo balekeddwa bbali ne bagamba nti Lukwago tebasobola kumukkiriza kulutuulamu okuggyako nga nabo bayitiddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basawowebuse 220x290

Abasawo bawakanya ekya gavumenti...

Abeekibiina ky'abasawo bawakanyizza ekya Gavumenti okuwola musigansimbi ssente.

Laba 220x290

Muggya wange yanjokya amata n’adduka...

NNEEVUMA ekyantwala mu bufumbo nga nkyali muto kuba ssinga si mukisa gwa Katonda, nandibadde mufu kati. Nze Asiya...

Ssenga1 220x290

Omukyala yagaana okunjoleza

MUKYALA wange buli kintu awaka akikola ng’omukyala ddala naye yagaana okwoza engoye zange era tagolola. Nafuna...

Lamba 220x290

Enkuba be yayonoonedde ebyabwe...

EKIBIINA ky’obwannakyewa kidduukiridde abatuuze b’e Muduuma abaakoseddwa enkuba omwabadde kibuyaga eyasudde amayumba...

Bajaasoomukoabanjaebintuekifsaulwokulira 220x290

Abanja bakoddomi be omutwalo

Omusajja asabye bakoddomi be omutwalo gwe yabawa ng'awasa mukyala we