TOP
  • Home
  • Agawano
  • Ssentebe eyaakalondebwa bamutemye ebijambiya

Ssentebe eyaakalondebwa bamutemye ebijambiya

By Paddy Bukenya

Added 17th July 2018

ABAZIGU bateeze Ssentebe eyaakalondebwa ne bamutema ebijambiya ku mutwe n’okumukuba emiggo egimumenye omukono.

Kwata 703x422

Kakooza gwebatemye nga bamutusizza mu ddwaaliro e Gombe.

Abazigu abatannategeerekeka baateeze Paul Kakooza 58, eyaakalondebwa ku bwassentebe bw’ekyalo Kalwanga mu ggombolola y’e Kabulasoke mu Gomba ne bamutema ng’adda ewuwe ekiro ne bamuleka mu kitaba ky’omusaayi.

Kakooza eyavuganyizza ku kaadi ya NRM yagambye nti abasajja bano baabadde beebisse ku mutwe ebikooti ng’ebyabavuzi ba bodaboda.

Baamuteeze ng’ava mu kabuga k’e Kifampa ne bamukwatira ku kkubo erikyama ewuwe ku ssaawa nga 4:00 ez’ekiro ne bamutema, kyokka ab’ewuwe ne bawulira ng’alaajana ne bakuba enduulu olwo abazigu ne badduka ne baleka ng’ataawa.

Baamuddusizza mu ddwaaliro e Kifampa gye baamuggye ne bamwongerayo mu ddwaaliro ly’e Gombe.

Abooluganda lwa Kakooza baagambye nti abatemu bakira batema basirise okwewala okubawulira amaloboozi ekibalowoozeseza nti bandiba nga ba ku kyalo nga Kakooza abadde abamanyi bulungi.

Kansala w’ekitundu, Joseph Balugambe yagambye nti abatemu bandiba nga babadde bamaze ennaku nga balinnya Kakooza akagere kubanga tatera kutambula kiro kyokka nti entabwe yandiba ebyobufuzi.

Poliisi y’e Kabulasoke Kakooza yamusanze mu ddwaaliro ne bamwekebejja era ne bategeeza nti batandise okuyigga abatemu bano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kam1 220x290

Kiikino ekika kya Kamulali ekikuwa...

Kiikino ekika kya Kamulali ekikuwa ssente ku myezi esatu

Dob1 220x290

Herbert Twine owa ‘Saabisaanira’...

Herbert Twine owa ‘Saabisaanira’ aleese omuziki gw’enjiri ku La Bonita

Kye2 220x290

Akulira ebitongole ebitwala abakozi...

Akulira ebitongole ebitwala abakozi ebweru annyonnyodde ku mbeera y'okukuba ekyeyo

Lun1 220x290

Ab'e Kalungu bawabuddwa ku mirimu...

Ab'e Kalungu bawabuddwa ku mirimu gy'emikono

Cab2 220x290

Abantu 300 balaajana lwakugobwa...

Abantu 300 balaajana lwakugobwa ku ttaka e Mukono