TOP

Abdallah Kitatta Kooti emukunyizza n'awunga

By Musasi wa Bukedde

Added 18th July 2018

Abdallah Kitatta Kooti emukunyizza n'awunga

Kib1 703x422

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

ABUDALLAH Kitatta awunze mu kkooti n’agamba omulamuzi, : SSebo Oweekitiibwa omulamuzi, nze obwongo tebukyakola bulungi. N’agattako: Ensonga zange nazikwasa balooya bazitambuze. Abo banjogerere, nze obwongo tebukyakola bulungi. Olwo yabadde asimbiddwa mu kkooti y’amagye e Makindye eggulo.

Kkooti bwe yatandise, balooya ba Kitatta ne beemulugunya nti, tebaafuna kkopi ya bujulizi bw’omujaasi wa CMI, Pvt. Richard Kasaija. Ono yalaga emmundu ssatu ezigambibwa nti zaakwatibwa ne Kitatta.

Balooya baagasseeko nti, abajaasi abakuuma enkambi y’e Makindye baabalemesa okulaba omusibe waabwe Kitatta noolwekyo tebuba bwenkanya okuwoza nga teboogedde na muntu waabwe. Ssentebe wa kkooti eno Lt. Gen. Andrew Gutti yalagidde bafulume ebweru basooke boogere.

Baafulumye essaawa zigenda mu 5:00 ne bakomawo ku ssaawa 6:00 ez’emisana. Nga bakomyewo, omuwabuzi wa kkooti mu by’amateeka, Col. Richard Tukachungurwa yatandise okusoya Kitatta ebibuuzo okuli oba aliko omuntu yenna ku bali ku kakiiko akawulira omusango gwe balinako ensonga yonna emulobera okubawozesa. Kitatta kwe kuddamu: Ssebo Omulamuzi, obwongo bwange tebukyakola bulungi. Ensonga nnazikwasa balooya banjogerere.

Okwogera ebyo yabadde akutamye ng’omutwe gwe guwaniriddwa omukono, gwe yabadde awese okuva ku lubaawo lw’akaguli. Kitatta akulira aba bodaboda 2010, avunaanibwa n’abalala 12 emisango gy’okusangibwa n’emmundu ssatu n’amasasi mu bumenyi bw’amateeka n’ebyambalo by’amagye.

Kitatta yakwatibwa January 20, 2018 ku woteeri ya Vine Tea e Wakaliga mu Lubaga. ABALALA ABAVUNAANIBWA Abalala abavunaanibwa ne Kitatta kuliko kuliko Joel Kibirige , Matia Ssenfuka, Hassan Ssebatta, Jonathan Kayondo, Hassan Ssengooba, Ssande Ssemwogerere, John Ssebandeke, Husein Mugema, Amon Twinomujuni, Fred Bwanika, Ngobi Sowali ne Ssekajja Ibrahim.

Kitatta bwe yasabye balooya be bamwogerere olwo looya Shaban Sanywa n’asaba aweebwe amannya g’abali ku kakiiko ka kkooti asooke abanoonyerezeeko ayongere okubamanya.

Omuwabuzi wa kkooti mu by’amateeka Col. Tukachungurwa n’ayanukula nti tekyetaagisa kubuuliriza ku batuula ku kkooti wadde nga ddembe lya Kitatta okubamanya. Wano kwe kusoma olukalala lw’abatuula ku kkooti y’amagye. Bano kuliko; Lt. Gen. Andrew Gutti (ssentebe), Brig. Joseph Arocha, Maj. Sarah Navuga, Maj. Henry Serugo (Mulungamya wa byabufuzi), Capt. Teopisita Girama Opar, Capt. Paul Mugerwa, W01. Paul Kamya, Col. James Rubahika, Maj. David Karyabashishsa, Maj. Frank Tumwesigye, W01. Jimmy Omara ne Col. Richard Tukachungurwa( omuwabuzi wa kkooti mu by’amateeka).

Ng’amaze okugasoma, balooya ba Kitatta baabuuzizza Pvt. Kasaija ku bujulizi bwe yawa. Yali omu ku baakwata Kitatta era agamba ye yamuggyako pisito eyali ewundiddwa mu zaabu.

Ekibuuzo: Emmundu ze mwakwata mukimanyi nti zaali za muserikale wa poliisi Ngobi Sowali eyali akuuma Kitatta? Kasaija: Abaali mu mmotoka mwe twasanga emmundu tebaatugamba nti za muserikale. Baagamba nti emmundu zaffe. Emmotoka yalimu abantu babiri era bombi ne tubakwata. Looya (Shaban Sanywa): Pisito eya zaabu, mwagisanga ne Kitatta oba mulina we mwagiggya? Kasaija: Nze nnayingira mu kisenge kya wooteeri Kitatta mwe yali.

Namusanga ne pisito eyo. Looya: Ani yakubuulidde ebigambo by’olina okwogera mu kkooti? Kasaija: Tewali yambuulidde bya kwogera. Era tewali yankase. Njogera bye nnalaba. Nze nnakwata Kitatta. Looya: Bwe tunaaleeta akatambi akaakwatibwa kamera za wooteeri nga kalaga obujulizi bulala okuva ku by’oyogedde, kkooti etwale bujulizi bwo oba ebiri ku katambi? Kasaija: Okwo kunaaba kusalawo kwa mulamuzi Looya:Tulina akatambi akaakwatibwa kamera za wooteeri.

Byonna by’oyogedde bulimba. Akatambi kalaga nga Kitatta teyalina mmundu. Pisito mwe mwagireeta okugimusibako. Omulamuzi: Ssebo omulimu gwo kuwolereza Kitatta. Tofuuka mulamuzi. Looya: Nsaba kkooti eyimirire.

Nsaba omulamuzi ampe ekiragiro nkitwale ku wooteeri ya Vine Tea, Kitatta gye yali bampe akatambi nkalage kkooti mu lujjudde. Ensi yonna emanye nti omujulizi alimba. Ebikolwa bye biswazizza eggwanga lyonna, abantu abakulu okupanga obujulizi. Col. Tukachungurwa: Ssebo looya ky’ogamba wooteeri erina kamera ne mu bisenge by’abagenyi? Kitatta baamukwatira mu kisenge.

Mu wooteeri ze tumanyi, abapangisa ekisenge babeera mu bulamu bwa kyama. Kamera yalaba etya ebyali mu kisenge kya Kitatta? Era ani anaakakasa nti akatambi ako si kapangirire? Looya: Akatambi ke njogerako tekalaga byali mu kisenge. Kalaga ebyali ku madaala ne mu lukuubo nga Kitatta bamutwala talina mmundu.

Abajaasi abaamukwata be baalina emmundu. Omulamuzi: Ekiragiro ekisaba wooteeri akatambi nja kukibawa. Col. Tukachungurwa: Muli ba ddembe okubeera n’akatambi. Kyokka mujja kukeeyambisa nga mutandise okwewozaako. Omulamuzi: Omujulizi (Kasaija) togenda wala kuva mu Kampala kubanga okyetaagibwa. Kkooti njongeddeyo okutuusa nga August 7, 2018.

Kitatta yatuuse ku kkooti ku ssaawa 3:30 ez’enkya ng’ali ku loole y’amagye ne banne. Yabadde ku mpingu ku mikono ate banne 12 baasibiddwa enjegere amagulu. Kitatta yabadde musanyufu era olwafulumye n’abuuza abantu be nti “bannange gye muli?” N’awanika ebigalo by’emikono gyombi mu bbanga, olwo n’ayingira akaduukulu ka kkooti ng’awaga.

Kyokka we yayingiridde akaguli okutuusa kkooti we yayabukidde yabadde awotose. Obwedda omusango gugenda mu maaso ng’aluma emimwa, okukoteka omutwe n’okuguwummuza ku lubaawo lw’akaguli. Balooya ba Kitatta abalala ye Martin Mututa ne Jimmy Muyanja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....