TOP

Poliisi ewadde Bobi Wine ekiragiro

By Martin Ndijjo

Added 18th July 2018

Poliisi ewadde Bobi Wine ekiragiro

Bob1 703x422

Bobi Wine

POLIISI eyise omubaka wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine okweyanjula ku CPS mu Kampala leero ku Lwokusatu ku by’okwekalakaasa olw’omusolo gwa ‘Mobile Money’ ne ‘social media’. Bobi Wine akakasiza nga bwe yafunye ebbaluwa ezimuyita ku poliisi era leero agenda kweyanjula mu buntu abannyonnyole.

Ayongeddeko nti bino tebigenda kumutiisatiisa yadde okubaggya ku mulamwa kubanga byonna bye bakola babikola mu mateeka era balwanirira ddembe lya muntu wa bulijjo anyigirizibwa olw’omusolo omungi okumubinikibwa.

Bobi Wine bamulanga kukulemberamu kibinja ky’abantu ne batambula mu kibuga nga baagala kutuuka ku kibangirizi kya Ssemateeka okulaga obutali bumativu ku musolo ogwateereddwa ku ‘Mobile Money’ ne ‘social media’ ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza ng’ okwekalakaasa kwa Bobi Wine ne baane bwe baakukola mu bukyamu ekitegeeza nti balina emisango gye bazza.

MUSAJJA WE BAMUSINDISE LUZIRA Eddy

Ssebuwufu amanyiddwa nga Eddy Mutwe kanyama wa Bobi Wine eyakwatibwa poliisi ku Lwokutaano , eggulo ku Lwokubiri yasindikiddwa Luzira nga bagamba alina emisango gye yazza mu kwekalakaasa okwaliwo omuli okukuba abaserikale, okubalemesa okukola emirimu gyabwe wamu n’okubbba empigu.

Yatwaliddwa mu kkooti ya Buganda Road gye baamusomedde emisango egy’enjawulo era omulamuzi Esther Nahirya n’amusindika mu kkomera e Luzira okutuusa nga July 24, 2018. Ono yeegasse ku Fred Nyanzi, mukulu wa Bobi Wine ne David Lule ne Julius Katongole abaasindikiddwa e Luzira ku Lwokutaano oluwedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...