TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri butto wa doodo gy'ayambamu ab'embuto n'abalwadde ba sikoseero

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri butto wa doodo gy'ayambamu ab'embuto n'abalwadde ba sikoseero

By Musasi wa Bukedde

Added 18th July 2018

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri butto wa doodo gy'ayambamu ab'embuto n'abalwadde ba sikoseero

St3 703x422

Buyondo alima doodo wa Amaranth.

DOODO omuzungu (Amaranth) wa byafaayo, baasooka okumulima e Mexico emyaka nga 8000 egiyise. Baamuteekawo ng’ekirabo ekiwangulwa eri abalwanyi namige abaalwaniriranga ensi yaabwe, era baamumeketanga ng’emberenge ng’abazzaaamu amaanyi. Eno gye yasibuka n’abuna ensi yonna.

Obusigo bwa doodo ono bukaluba kye buva bulema abantu abamu okulya, kye tuvudde tumukamulamu butto olw’emigaso gino;

Alimu ekiriisa ekizimba omubiri mu baana n’abantu abakulu, omwana omuteera akajiiko ka butto mu ky’okulya oba okunywa ky’asinga okwagala ajja kumuzimba omubiri.

Mulungi ku bakyala abali embuto, kuba alimu ekirungo kya ‘folic acid’ ekiyamba omwana okukula obulungi n’atafuna bulemu.

Anyweza ebinywa bya nnabaana, omukyala n’ayambibwa obutavaamu lubuto olwa nnabaana okukka nga bwe kitera okubeera ku bakyala abamu.

Omulwadde wa siriimu, amuyamba okuddaabiriza obutofaali obuzimba omubiri n’okwongera amaanyi abaserikale b’omu mubiri.

Alimu ekirungo kya ‘calcium’ ekiyamba okugumya amagumba, ne bw’oba omenyese amagumba gayunga mangu. lAyamba okugumya ebisenge by’omutima ne bisaasaanya omusaayi ku sipiidi nga tegukooye ate n’aguggyamu amasavu.

 uyondo alima doodo wa maranth Buyondo alima doodo wa Amaranth.

Omulwadde wa ssukaali, butto amuyamba okulaba nga ssukaali ali mu musaayi akyusibwa n’adda mu butofaali n’atereera.

Eri abatalya nnyama, ayamba okuzimba omubiri nga bafuna ekirungo kye kimu kye batafuna olw’obutalya nnyama. Kitegeeza atalya nnyama akuzimba omubiri.

Waliwo abalumwa embuto nga balidde ehhano, osobola okumukolamu ehhano eterumya lubuto. Okugikola onnyika ensigo, oluvannyuma n’oziteeka ku lusaniya ne zikola emitunsi,gino gy’okaza ne gikola ensaano evaamu ehhano n’okolamu emigaati n’ebintu ebirala.

Ayagala okusala omugejjo, atta omwoyo ogwagala okulya omubiri ne gwanguyirwa okwokya emmere entono gy’oba olidde. lOmuntu omunafu okugeza omulwadde, ayamba okuzzaamu amaanyi, obutofaali abuddaabiriza n’afuna amaanyi n’assuuka mangu.

Osobola okumwesiiga ng’ebizigo, bw’obisiiga omwana tafuna nnoga n’okufuukuka olususu n’abasabuka naddala mu mpataanya z’omubiri. lOsobola okumusiiga mu nviiri ne zitakutuka ate ayamba abakyala bannabukalu ng’omwesiiga mu bitundu eby’ekyama.

Ayamba abalwadde ba nalubiri ‘sikoseero’ olw’omunnyo gwa ‘iron’ gw’alimu oguyamba okulaba ng’omusaayi gwabwe gwe yongera mu mubiri ne talwalalwalan’obutafuna kulumizibwa obuva ku bunnyogovu.

Butto ono mulungi eri abantu bonna era osobola okufuna akajiiko n’oteeka ku mazzi agabuguma n’onywa. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.   

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fufaafconprepsoct23bukedde6 220x290

Cranes yaakutambulira mu Bombardier...

Abakungu ba FUFA bagamba nti ennyonyi ya Uganda Airlines y'egenda okubatumbuza nga bagenda okuzannya Burkina Faso...

Capture 220x290

Poliisi ekutte omuwala abba ssente...

Poliisi ekutte omuwala abba ssente ku masimu: Akoppa pin code n'azeesindikira

Buv1 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku kizinga e Buvuma

Kcca1 220x290

Ow'e Swaziland waakulamula ogwa...

Sifiso Nxumalo, Petros Mzikayifani Mbingo (Swaziland) ne Njabulo Dlamini (South Sudan)baakuyambako Thulani Sibandze...

Capture 220x290

Ab'abaana abasatu basiibuddwa mu...

Ab'abaana abasatu basiibuddwa mu ddwaliro: Balaajanidde abazirakisa okubadduukirira