TOP

Lydia Jazmine agenze Bungereza kuwummulamu

By Martin Ndijjo

Added 18th July 2018

Lydia Jazmine, maneja we omupya amututte Bungereza kuwummulamu 'asale' situleesi.

Jazima 703x422

Lydia Jazmine ku kkono ne Robert Kampala

Omuyimbi Lydia Jazmine takyasabirwa! Maneja gwe yaakafuna amututte Bungereza kuwummulamu.

Jazmine ne Robert Kampala (amuteekamu ssente) baasitudde mu kiro ekikesezza leero . nga tebanaba kugenda, Kampala owa R Kampala Records  yasoose kutegezza nti omuyimbi we yeetaga okuwummulamu kubanga amaze ennaku eziweerako ng’akola n’amaanyi ate nga awumula kitono.  

Omanyi ennaku zino Jazmine abadde mu kukwata vidiyo y’oluyimba lwe empya ‘Ojja Kunzitta’.

 ydia azmine ku kisaawe kyennyonyi ntebbe Lydia Jazmine ku kisaawe ky'ennyonyi Entebbe

 

 

Okuva Jazmine bwe yeegatta ku R Kampala Records okuva ewa ‘Pulodyusa’ Bushingtone, buli kimu kimutambulra bulungu era ky’ayoya nga bamuwa.

Robert Kampala y’omu ku bavubuka abato mu kiseera kino abogerwako mu Kampala okuba ssente. agamba mu kifo ky’okuzimansa nga abavubuka abalala, asazeewo ye  ku ziteeka mu kutumbula bitone bya bayimbi ssaako bizinensi enddala z’akola omuli okutunda mmotoka, okugula n’okutunda ettaka n’amayumba, eby’entambula n’ebirala.

Bwe yabuuziddwa ku by’ogerwa nti enkolagana ye ne Jazmine esukka ku bya maneja erimu ebya laavu, kino yagambye si kituufu enkolagana yabwe ekoma ku bya myuziki nagattako nti ye musajja mufumbo alina omukyala n’abaana.

offiisi za obert ampala ku alaama oadoffiisi za Robert Kampala ku Salaama Road

 

Ate ye Jazmine eyakuyimbira  ‘Nkubanja’, ‘Same way’ n’endala yasoose  kwebaza Katonda okumuwa maneja omupya oluvannyuma yagasseko nti kati kye kiseera okwongera okusitula ekitone kye n’okutuukiriza ekirooto kye eky’okuba omuyimbi omukyala asinga okukuba emiziki mu ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda...

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda abaakwatibwa balaajanye

Lab2 220x290

Erias Lukwago alabudde abavubuka...

Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku WhatsAapp ne Facebook

Hop2 220x290

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa...

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa

Jip1 220x290

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde...

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa

Kop2 220x290

Awonye okwokebwa abayizi be

Awonye okwokebwa abayizi be