TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Abagenda ku kyeyo mwewale bakayungirizi - Poliisi

Abagenda ku kyeyo mwewale bakayungirizi - Poliisi

By Eria Luyimbazi

Added 19th July 2018

POLIISI erabudde abawala abaagala okugenda ku kyeyo okwewala bakayungirizi ne kkamupuni ezitamanyiddwa kibayambe obutafunirayo buzibu ng’okubatta ne babaggyamu ebitundu by’omubiri eby’enjawulo.

Kalonda 703x422

Dr. Yiga (ku kkono) ng’ayogera eri abakungu b’ebitebe by’amawanga ag’enjawulo.

Akulira ekitongole kya poliisi y’ensi yonna mu ggwanga (Interpol) Dr. Fred Yiga bwe yabadde asisinkanye abakungu okuva ku bitebe by’amawanga ag’enjawulo ku Lwokubri yagambye nti, abagenda ku kyeyo nga tebayise mu mitendera emituufu bafuniddeyo obuzibu omuli okubatta n’okubawamba ne bafuuka abaddu.

“Mmwe abaagala okugenda ku kyeyo okukola muleme kuyita mu makubo agatamanyiddwa kuba ababatwala babakukusa nga bwe mutuukayo mufunirayo ebizibu”, Yiga bwe yategeezezza.

Yagambye nti poliisi efunye okusoomooza kunene mu kununula abafunidde obuzibu ku kyeyo kuba abantu gye bakolera basooka kusaba babaddize ssente ze baabagula nga basaba eziri wakati w’obukadde 11 n’obukadde 22 buli muwala nga kyetaagisa abooluganda lwe okubeera n’obukadde nga 36 okusobola okubanunula.

Yategeezezza nti, okumalawo ekizibu kino Interpol yakyusizza endabika y’ebbaluwa eweebwa omuntu nti, okukakasa nti talina musango (Certificate of Good Conduct) kuba ebbaluwa eno ebadde ejingirirwa nnyo era nga baayise abakola ku bitebe by’amawanga ag’enjawulo okugibalaga.

Yagambye nti ebbaluwa eno egabibwa ku kitebe kya Interpol e Kololo ku ssente 64,000/- zokka era tebakolagana ne bakayungirizi.

Yalabudde n’omusajja Alex Ndyezekire eyassa essimu ye ku yintaneeti ng’ayita abantu okubakolera ku nsonga zaabwe ezeekuusa ku mirimu gya Interpol.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...

Newsengalogob 220x290

Ayagala tuddiηηane

WALIWO omusajja twali twagalana n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana naye kati yakomawo gyendi nti ayagala...

Newsengalogob 220x290

Sikyafuna bwagazi kwegatta

Naye ng’omwami wange alina abakyala abalala basatu nze takyanfaako era agamba nti abakyala abalala bamusanyusa...

Newsengalogob 220x290

Lwaki abasajja abamu tebaagala...

LWAKI abasajja abamu tebaagala bakazi oba muwala aliko embuzi?

Lovelies 220x290

Ebisoomooza ku mitendera egy’enjawulo...

ABAMU basala magezi ga kubuvaamu, sso ng’oyo atannabufuna asiiba asaba n’okwegayirira Lugaba amufunire omutuufu....