TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Ebya muninkini wa Sharita bibi: Abalangira bamusenzezza luti; 'Oyo tetumumanyi'

Ebya muninkini wa Sharita bibi: Abalangira bamusenzezza luti; 'Oyo tetumumanyi'

By Musasi wa Bukedde

Added 19th July 2018

SSAABALANGIRA Godfrey Musanje Kikulwe ayingidde mu nsonga za Noah Kayondo Musanje muninkini wa Sharita Mazzimawanvu ne banne 12 abagambibwa okugobwa mu lulyo Olulangira.

Laga1 703x422

Yeegaanyi eby’ebbaaluwa ebagoba mu kika kyokka akakasizza nti kituufu banoonyerezebwako okuzuula oba ddala Balangira nga bwe yeeyita.

Ssaabalangira okuvaayo bw’ati kiddiridde Omulangira Emiriyo Nakibinge, omu ku batabani ba Joseph Walugembe Musanje okwemulugunya nti ba Kayondo (Bukenya) ba Ngabi ssi bazzukulu ba taata waabwe nga bwe boogera; bazzukulu ba Matovu.

Omu ku batabani ba Nakibinge, Henry Kiggala yannyonnyodde nti maama wa Bukenya yasooka kuzaala wa Musanje Walugembe (jjajja wa Kiggala) oluvannyuma n’afumbirwa omusajja Matovu (ow’Engabi) azaala Ssaalongo John Bukenya taata wa ‘Bakayondo’.

Kiggala agamba nti ‘Bakayondo’ beeyita abazzukulu ba Walugembe Musanje olw’okwagala okufuna ku byobugagga bye.

Kiggala okukakasa bino, yazze ku ofiisi za Bukedde ku Lwokutano n’alaga ebbaluwa gy’agamba nti yawandiikibwa Ssaabalangira Godfrey Musanje Kikulwe ng’egoba mu butongole ‘Kayondo ne banne’ okuva mu Balangira okuddayo mu b’Engabi.

Kiggala agamba nti, Kayondo ne banne abaakulira mu kika ky’Engabi, baayingira mu lulyo olulangira mu 2014 nga bagamba nti baali bakizudde nti Balangira abazaalibwa Omulangira Walugembe Mukaabya (oba Ssaalongo John Baker Bukenya okusinziira ku kunnyonnyola kwa Kiggala) kyokka ono agamba kino baakikola olw’ekigendererwa ky’okugabaana ku byobugagga by’omugenzi Omulangira Joseph Musanje Walugembe Jjajja we.

 iggala ngalaga ebbaluwa ya saabalangira eyagoba ayondo nabamu ku banne mu kifaananyi Kiggala ng’alaga ebbaluwa ya Ssaabalangira eyagoba Kayondo n’abamu ku banne mu kifaananyi.

Ayongerako nti oluganda ku Balangira , jjajja waabwe omukyala Apolonia Nakayima yasooka kuzaala wa Walugembe Musanje nga tannafumbirwa Matovu gye yazaala Nayiga.

Kiggala agamba nti, Matovu bwe yasibwa, muganda we Mulindwa ne yezza Nakayima n’amuzaalamu Ssaalongo John Baker Bukenya (Gwe bayita Mukaabya, Nakibinge taata wa Kiggala gwe yawandiikira okusooka ng’ayagala aggyeyo obukakafu nti ddala muganda we) taata wa Noah Bukenya eyeeyita Noah Kayondo nga nnyina ye Margaret Najjuma. Nti kyokka ate oluvannyuma Nakayima yaddayo ewa Matovu era ne bazaala abaana abalala.

Abaagobeddwa be baana abaazalibwa John Bake Bukenya okuli; Nnaalongo Margaret Nayiga yeeyita Nnaalongo Maggale, James Matovu yeeyita James Ssimbwa, Fred Bukenya yeeyita Fred Nakibinge, Rayomond Luganda eyeeyita Raymond Mutebi, Charles Lwanga eyeeyita Charles Lwanga Musanje, Eliya Mulindwa Kigongo eyeeyita Eliya Kigongo Kalema, Francis Babirye Nabukeera yeeyita Francis Babirye Nakampi, Joseph Kato Muwonge yeeyita Joseph Kato Jjuuko, Stephen Kamya Bukenya yeeyita Stephen Kamya Mawanda, Jude Kaggwa Bukenya yeeyita Jude Kaggwa Kimera, Francis Kizza Bukenya yeeyita Francis Kizza Ndawula ssaako Specioza Nakachwa (omugenzi)

 bbaluwa egoba ayondo Ebbaluwa egoba Kayondo

EBBALUWA EBAGOBA

Mu bbaluwa gye yalaze egamba ng’ennaku z’omwezi 05/01/2015 abantu abo waggulu baayingizibwa mu lulyo Olulangira mu bukyamu bwe baaleeta ebiwandiiko eby’obulimba ebikwata ku buzaale bwabwe ne balowoozesa ofiisi ya Ssaabalangira nti Balangira na Bambejja abatuufu.

Eyongerako nti, “oluvannyuma lw’okufuna obukakafu ne kizuulubwa nti muli ba Ngabi, okuva nga 19/02/2018 temukyabalibwa mu Balangira era n’amannya g’Ekirangira ge mubadde mweyita temuddamu kugakozesa.”

KAYONDO ALUMIRIZZA KIGGALA OKUJINGIRIRA EBBALUWA

Bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno ku ssimu, Kayondo mu kiseera kino ali mu Amerika teyayagadde kubaako kiwanvu ky’ayogera ku nsonga eno ng’agamba nti ziri mu ofiisi ya Ssaabalangira ye mutuufu okwogera.

 

“Ensonga zaffe n’ewa Ssaabasajja zaatuuka era azimanyi. Yazikwasa ofiisi ya Ssaabalangira okuzikolako. Eyo ebbaluwa Kiggala gy’atambuza si ntuufu, Kiggala ne banne abalina bye beegwanyiza be bajijingirira era tuteekateeka kubakuba mu mbuga z’amateeka lwa kutwonoonera linnya.”

Yagasseeko nti Kiggala okumusalako ebigambo n’okumwonoonera erinnya, amulinako obuzibu ng’omuntu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mm 220x290

Kkampuni zisaze omusolo ku ‘Mobilemoney...

KKAMPUNI z’amasimu zitandise okussa mu nkola etteeka ly’okukendeeza gwa ‘mobile money’ (Airtel money, Africel Money...

Monicangalagaobutungulubwatunda500webuse 220x290

Ekigwo ekimu tekyandobera kuddamu...

Omulimu gw'okufumba bwe gwanzigwako tekyandobera kutandika kulimira wafunda era kati nasituka dda sirina agoba....

Skull 220x290

Bamukutte n’akawanga

OMUSAJJA eyasangiddwa n’akawanga k’omufu gamumyuse. Abatuuze baamulinye akagere ne bamukwata n’ekisawo mwe yabadde...

Muhangi3 220x290

Muhangi akkirizza okusisinkana...

OMUGAGGA Charles Muhangi awadde abasuubuzi abakolera ku bizimbe bya Qualicel(Horizoni city) ne Nabukeera (Bazannya...

Zaina2webuse 220x290

Obwakondakita bwamponya ennaku...

Okukola obwakondakita nga ndi mukazi kinnyambye okulabirira abaana bange ate n'okuyiga bwe bakolagana n'abantu...