TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuzeeyi agobaabantu ku ttakayeewuunyisizza akakiikoOmusuubuzi

Omuzeeyi agobaabantu ku ttakayeewuunyisizza akakiikoOmusuubuzi

By Musasi wa Bukedde

Added 21st July 2018

Omuzeeyi agobaabantu ku ttakayeewuunyisizza akakiikoOmusuubuzi

Kub1 703x422

Abaatulugunyizibwa nga balaga enkovu.

NNAMUKADDE Hajji Malika Koire 86, yawuniikirizza akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ebyettaka, okuba ng’agobaganya abantu ku ttaka e Butaleja ku byalo musanvu. Ono okuleetebwa mu kakiiko, waasooseewo abantu be yagoba abaanaabye ensonyi ne beeyambulira mu maaso g’Omulamuzi Catherine Bamugemereire okumulaga enkovu z’ebisago ebyabatuusibwako poliisi ng’ekolera ku biragiro bya Koire okubagoba ku ttaka.

Akakiiko kaatandise okuwulira ensonga zaabwe ku Lwokusatu nga balumiriza nti ettaka lya yiika 1,500 eririko eggombolola satu: Butaleja Town Council, Mazimasa ne Kachoma okwali amaka gaabwe abamu baagabasuuzaawo ne balekawo bakyala baabwe n’abaana okusobola okutaasa obulamu. Olunaku Lwokusatu, Swaib Mugumbu ne Wilberforce Hasajja Kapere be baasoose okuwa obujulizi ne balumiriza nti bannaabwe bataano battibwa mu ngeri ez’enjawulo olw’enkaayana z’ettaka.

Baalumirizza aduumira poliisi e Kasangati, Robert Kacumu nti yakuba Musa Hadwaya 85 ekyamuviirako okufa. Kacumu yaleeteddwa mu kakiiko ku Lwokuna ne yeegaana byonna ebimwogerwako ng’agamba nti ebimu banne be baabikola nga tannaba kutwalibwayo emisango emirala ne bagizza ng’amaze okuvaayo.

Akakiiko kaayise William Okalany, akulira ekitongole kya poliisi ekikwasisa empisa (Professional Standards Unit, PSU) abeerewo nga Kacumu awa obujulizi kubanga ne banne abaamusooka okuli, Pater Kakonge ne Odokolanyi babalumiriza nga bwe kizuulibwa ng’ebiboogerwako baabikola babakwase PSU.

Kacumu nga tannaba kuwa bujulizi, basajjabakulu beeyambudde okulaga enkovu okwabadde Muhammad Wandyama, eyategeezezza nti baamukumako omuliro ne bamwokya nga bamukaka okuva ku ttaka kw’alimira omuceere era abazirakisa be baamuyamba okumutwala mu ddwaaliro.

Iman Lukumani Wandago yagambye akakiiko nti abantu badduka ku ttaka lyabwe mu myaka gy’e 60 oluvannyuma lw’enkuba ey’amaanyi eyatonnyera ekiseera ekiwanvu okufuula ettaka lyonna olutobazzi ne babeera nga tebakyasobola kulimirako yadde okubeerako.

Yagambye nti abantu baatandiika okukomawo mu myaka gye 70 nga Gavumenti ebasomesezza engeri y’okulima omuceere mu lutobazzi kyokka baagenda okukomawo baasanga Hajji Koire n’abalala baasengako nga bagamba nti lyabwe era kati be bali mu kubatulugunya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yagayo 220x290

Owoolubuto eyabula basanze yaziibwa...

OMUKAZI owoolubuto olw’emyezi omusanvu eyava awaka wiiki ssatu eziyise okugenda okunywa eddagala mu ddwaaliro lya...

Wangi 220x290

Eyeeyise owa ISO n’abba emmotoka...

OMUSAJJA abadde yeeyita owa ISO n’abba mmotoka ku muntu akwatiddwa.

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.