TOP
  • Home
  • Amawulire
  • akakiikoOmusuubuzi w’omu Kiyembe abuziddwaawo n’asattiza aba famire

akakiikoOmusuubuzi w’omu Kiyembe abuziddwaawo n’asattiza aba famire

By Musasi wa Bukedde

Added 21st July 2018

akakiikoOmusuubuzi w’omu Kiyembe abuziddwaawo n’asattiza aba famire

Lab1 703x422

Milo ng’ali ne mukyala we.

OMUSUUBUZI w’omu Kampala abuziddwaawo n’aleka aba famire nga basattira. Godfrey Milo 38, ow’e Ndejje nga musuubuzi w’omu Kiyembe ku kizimbe kya Zai Plaza ye yabuziddwaawo olunaku lwa Ssande nga yavudde awaka ng’agenze Iganga okuleeta ebyamaguzi bye kyokka okuva olwo tebannaddamu kumulaba.

Mukyala wa Milo, Dorothy Mushabe naye nga musuubuzi w’omu Kiyembe yategeezezza nti, bba yava awaka ku Ssande ku ssaawa 2:00 ez’oku makya ng’amugambye nti agenda mu kkanisa kusaba era bwe yavaayo n’ategeeza nti agenze Iganga ne 600,000/- ezaali ez’okusasula abaali bagenda okumuwa ebyamaguzi bye ebyali bivudde e Mombasa.

Mushabe yagambye nti yakoma okuwuliza bba ng’alinnye emmotoka ezigenda Iganga kyokka bwe yamukubira essimu ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo kyokka nga teriiko n’asooka okulowooza nti kirabika omuliro guweddeko.

Yagambye nti yalinda bba nga tadda era obudde bwakya ng’essimu teriiko kyokka nga n’ebintu bye yali agenze okusasulira omusolo ebyava e Mombasa byali bimaze okutuuka ku dduuka. Yagambye nti mukwano gwe yamukubira essimu ng’ebintu bituuse kyokka nga bba talabika n’agenda ku dduuka era abaaleeta ebintu bwe yababuuza gy’ali ne bamutegeeza nga bwe baakomye okumulaba ng’abibatikka.

Kino kyandeetera okwekengera ne mbuuza akola ku mpapula, Richard Isaba kuba yabadde kwali ku mmotoka nti mmotoka yasimbudde etya nga temufunye ssente emitwalo 60, ng’atamattama ne mbatwala ku CPS. Poliisi yakutte Isaba n’omugoba wa mmotoka n’abagikolako okugiyambako mu kubuuliriza kwayo. Baasabye alina ky’amanyi ku kubula kw’omuntu ono atuukirire poliisi yonna

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...