TOP

Abadde yaakalondebwa ku LC afudde kikutuko

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd July 2018

Abadde yaakalondebwa ku LC afudde kikutuko

Kib1 703x422

Nnassuuna bw'abadde afaanana

ABATUUZE mu kabuga k’e Mpigi baguddemu ekyekango Nnabakyala Margaret Nassuuna 47, abadde yakalondebwa ku bwannabakyala bw’ekyalo ky’e Mpami Bikondo Wakatyi mu kabuga k’e Mpigi bw’afudde ekibwatukira.

Baliraanwa baategeezezza nti Nassuuna yabadde mulamu akawungeezi k’Olwokuna n’akola bulungi emirimu gye kyokka ku ssaawa 5:00 ez’ekiro ne babategeeza nti afudde.

Nasuuna abadde yawangulira ku kaadi ya NRM okufa kyaddiridde okufuna ekiziyiro n’afa nga wayise eddakiika nga ttaano n’aziba omumwa. Muliraanwa yamututte mu ddwaaliro lya St. Monica Katende kyokka n’abafi irako mu kkubo. ‘‘Maama nabadde musemberedde mu mmotoka nga tugenda mu ddwaaliro kyokka nagenze okulaba nga takyasa’’. Bwatyo Christine Nakiguli muwala wa Nassuuna bwe yategeezezza.

Okufa kwa Nasuuna kulese abatuuze b’omu kabuga k’e Mpigi nga beewunaganya olw’enfa ye ne batebeereza nti kuyinza okuba n’akakwate n’ebyobufuzi by’ennaku zino ebijjudde amakuuli.

Omutaka Andrew Lujja bba wa Nassuuna yategeezezza nti mukyala we okufuna obuzibu buno yabadde akola mirimu gy’awaka n’aseerera n’agwa ekigwo kyokka baabadde bamutwala mu ddwaaliro n’afa.

Abatuuze balaze okutya nga bagamba nti okufa kwa munnaabwe kwandiba nga kwekuusa ku byobufuzi ne beekokkola ebyobufuzi ebibaddemu ettemu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam