TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusuubuzi eyawambiddwa bamusanze mu ddwaliro ng'azibye omumwa

Omusuubuzi eyawambiddwa bamusanze mu ddwaliro ng'azibye omumwa

By Stuart Yiga

Added 22nd July 2018

Omusuubuzi eyawambiddwa bamusanze mu ddwaliro ng'azibye omumwa

Seb1 703x422

Godfrey Miiro

OMUSUUBUZI w’oku Zai Plaza, eyawambibwa ku Luwum Street mu Kampala eyawambibwa wiiki bbiri eziyise azuuliddwa wabula ng'azibye omumwa tavaamu kigambo kyonna!

Godffrey Miiro, kigambibwa nti yabuzibwawo abantu abataategeerekeka ne bamukuumira mu kifo ekyekusifu okutuusa lwe yazuuliddwa kyokka ng’ali mu mbeera mbi.

Okusinziira ku mukazi we, Dorothy, agamba nti oluvannyuma lw'okubuzibwawo kwa bba, famire, poliisi n'abeemikwano babadde basamba ensiko okumunoonya buli wamu okuli mu ggwanika mu malwaliro ag’enjawulo nga balowooza nti ayinza okuba nga yattibwa n’asuulwa awantu.

Muky. Miiro agamba nti ku Lwokutaano baayongedde okumunoonya mu ddwaaliro ly’e Mulago era baabadde bayitaayita mu balwadde, gye baakubye amaaso nga ku muntu waabwe ali ku kitanda kyokka ng’embeera ye mbi, era nga tayogera.

N’okutuusa kati aba famire ya Miiro tebannamanya muntu waabwe gye yatuuseemu mu ddwaaliro kuba tayogera n’abasawo tebamanyi ngeri gye yaleeteddwa, nga kati balinda kimu adde engulu atandike okwogera bamanye byonna ebyaliwo batandikire awo okunoonyereza ku byamutuukako.

                              Edduuka lya Miiro

Muky. Miiro agamba nti oluvannyuma baasazeewo omuntu waabwe ne bamuggya e Mulago ne bamutwala mu ddwaaliro ly’e Kiruddu gye yeekebeggyebwa abakugu kyokka nga n’okutuusa kati embeera ye tennatereera.

Yagasseeko nti mu ndabika y’omulwadde alinga eyakubiddwa kalifoomu omungi ssaako okuba nti yaliisiddwa ebintu ebiyinza okuba nti birimu obutwa naye byonna bakyalindirira ekinaava mu kunoonyereza kw’abasawo bababuulire ekituufu.

ENGERI GYE BAAMUWAMBA WIIKI BBIRI EZIYISE Muky. Miiro agamba nti wiiki bbiri emabega, waliwo abantu abaakubira bba essimu nga bamusaba abatwalire ssente basobole okumuwa ebintu bye baali bamuleetedde. Miiro okufuna essimu yali waka ng’abaamukubira baamugamba ssente azibatwalire e Jinja.

Bwatyo Miiro yava awaka n’agenda e Kampala era waayita akaseera katono n’akubira mukyala we nti yali asimbudde okugenda e Jinja asisinkane abaali bamukubidde essimu. Omukyala agamba nti nga wayise akaseera ka ssaawa ng’emu, yakuba ku nnamba ya bba okulaba oba atuuse e Jinja kyokka nga teyitamu. Olwo yatandika okugikubako buli kaseera kyokka nga teriiko okutuusiza ddala okukeesa obudde olwo n’atandika okweraliikirira nga yeebuuza ekyatuuse ku bba.

Enkeera waalwo omu ku basuubuzi abakola ne bba baamukubira essimu ne bamutegeeza nti mmotoka okwali emmaali ya Miiro yali etuuse mu Kiyembe mu Kampala, olwo omukyala kwe kukakasa nti waliwo obuzibu n’atemya ku b’ehhanda n’abemikwano ne batandika omuyiggo.

Ddereeva wa loole okwali emmaali ya Miiro bwe baamubuuza gye yalese omuntu waabwe yabategeeza nti tannaba kumulabako. Poliisi yamukwata n’okutuusa kati akyakuumirwa ku CPS.

Ye Josephine Nalule omu ku bakola ne Miiro, yategeezezza nti, waliwo n’omusajja omulala ayitibwa Richard Isaabu, eyakwatiddwa poliisi nga kiteeberezebwa nti ye yakubira Miiro essimu okumusisinkana e Jinja kyokka olwamubuuzizza n’ategeeza nti, yali tannakuba ku ssimu ya Miiro .

Omwogezi wa poliisi mu Kampala ne miriraano, Luke Owoyesigire yakakasizza nti baakakwata abantu basatu ku nsonga za Miiro abakuumirwa ku CPS mu Kampala. Miiro musuubuzi wa ngoye z’aggya mu mawanga ag’enjawulo n’azisuubuza abantu abalala mu kibuga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu