TOP

Dokita apaccizza nnansi empi mu ssweeta

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd July 2018

NNANSI owoolubuto olukulu mu ddwaaliro ly’e Kamuli ekkulu mu disitulikiti y’e Kamuli addukidde ku CPS e Kamuli n’aloopa mukama we, dokita, eyamupaccizza empi bbiri ez’amaanyi bwe baabadde bakola emirimu mu ssweeta.

Longo 703x422

Nangobi nnansi eyakubiddwa. Ku ddyo ye Dr. Daaki

Sarah Nangobi, 28, omuzaalisa ye yaloopye akulira eddwaaliro lino Dr. Stephen Daaki nti yamukubye ng’amulanga kulagajjalira omulwadde gwe yabadde yaakalongoosa.

Ekyamuwalirizza okuloopa bwe bulumi bw’awulira mu kibegabega era nga n’omugongo gumuluma, ng’ate ali lubuto lukulu.

N’ekirala nga bw’ali omuntu omukulu kyamuyisizza bubi era yafunye n’okutya era n’ekitiiibwa ky’amukendeddeko olw’okumuyisaamu empi ng’omwana.

Omusango yaguloopye ku CPS e Kamuli mu ofi isi enoonyereza ku buzzi bw’emisango, era poliisi yatandise okunoonyereza wadde nga tennaba kukwata dokita ono. Agamba nti yali akola ku balwadde kyokka dokita n’amutabukira nti yagayaaliridde omulwadde eyabadde yaakalongoosebwa ng’azze n’engulu.

Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kya Busoga North, Michael Kasadha yakakasizza ng’omusango bwe gwaloopeddwa n’agamba nti bakyanoonyereza kwe kyavudde.

NNAMUKUBYE LWA BUGAYAAVU - DOKITA

Bukedde bwe yatuukiridde Dr. Daaki mu ofi isi ye ku Lwokutaano, yagambye nti, naye awulira ηηambo nti gw’akulira yamuwawaabidde.

Teyeegaanyi kya kumukuba, wabula yabuuzzizza oba kiba kya buvunaanyizibwa omulwadde amaze okulongoosebwa ng’azze n’engulu, okumuleka ng’abooyaanira ku katanda ng’omusawo eyandimusindise mu kagaali amutwale mu woodi talabikako, ali mu bibye!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...