TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abalima ebikajjo nabo bazinze Kadaga nga beemulugunya ku musolo ogwabassiddwaako.

Abalima ebikajjo nabo bazinze Kadaga nga beemulugunya ku musolo ogwabassiddwaako.

By Musasi wa Bukedde

Added 25th July 2018

Abalima ebikajjo nabo bazinze Kadaga nga beemulugunya ku musolo ogwabassiddwaako.

Reb1 703x422

Rebecca Kadaga

ABALIMI  b’ebikajjo nabo beemulugunyirizza sipiika olw’omusolo gavumenti gwe yabateekako nga bagamba nti gubayinze obuzito.

Kino wekituukidde ng’abantu bali mu kwemulugunya ku musolo ku ‘social media’ ne ‘mobayiro mane’ nagwo gwe baagalagu guveewo. Kyokka ensonga z’okukyusa mu nsolooza y’omusolo guno zo zazeeyo mu palamenti obutafanana gwa bikajjo.

Wabula abalimi b’ebikajjo abeegattira mu kibiina kya ‘Uganda National Association of Sugar cane Growers’ baagenze ewa sipiika ne basaba gavumenti ebasonyiwe omusolo ogwabasibwako mu tteeka lya ‘Income tax amendment Bill,2018. Gavumenti yassaawo omusolo gwa shs 1 buli kikumi ku balimi abatunda ebirime ebisussa akakadde akamu.

Abalimi b’ebikajjo okuva e Busoga aba ‘Busoga Sugar Cane Growers Association’ abaakulembeddwa  Isa Budhungo baagambye nti omusolo guno ssi gwa bwenkanya.Baagambye nti omusolo guno gwasibwawo nti gugyibwa  ku magoba kyokka bo abalima ebikajjo tebakola magoba.

Beemulugunyizza nti omusolo gwabassibwako nga tebasoose kwebuuzibwako  ng’ate n’ababaka abava mu bitundu ebirimwamu ebikajjo tebafaayo kusomesa bantu baabwe bikwata ku musolo guno.

Abalimi b’ebikajjo basabye gavumenti okugatta abalimi n’abakamula ssukkaali mu bikajjo ssukkaali bakaanye ku bbeeyi yabyo.Bagamba nti kino kijja kubayamba okutunula mu bizibu bye bayitamu okulima n’okukungula n’okutambuza ebikajjo kuba tebakyakola magoba.

Kadaga yasuubizza okutabaganya abalimi bano ne gavumenti bagibuulire ebizibu byabwe.’’ Nja kwogeraganya ne Katikkiro wa Uganda tulabe engeri y’okubasisinkanyaamu ne baminisita abakwatibwako’’ Kadaga bwe yeyamye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasibante2 220x290

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo...

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako...

Jmcweb 220x290

Kyetume ekutudde JMC Hippos

Kyetume evudde emabega n'ewangula JMC Hippos mu Big League mu ddakiika ezisembayo

Joshuaweb 220x290

Cheptegei ataddewo likodi ng'awangula...

Joshua Cheptegei ataddewo likodi y'ensi yonna empya, ng'awangula kiromita 15 mu misinde gya 2018 NN Seven Hills...

Afcon16 220x290

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda...

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda mu AFCON2018 e Cameroon.

2016manuvbournemouthbailly 220x290

AC Milan ayingidde olwokaano lw'okugula...

Bailly yava mu Vallrreal eya Spain okwegatta ku ManU.