TOP

Abalamuzi basuuzizza ababaka emyaka 7

By Musasi wa Bukedde

Added 27th July 2018

Abalamuzi basuuzizza ababaka emyaka 7

Kib2 703x422

Rukutana (ku kkono) ne Nandala awakanya okugikwatako ku kkooti e Mbale.

ABABAKA baviiriddemu awo! Abalamuzi babasuuzizza eky’okweyongezaayo ekisanja kyabwe kifuuke eky’emyaka omusanvu. Mu kuyisaawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti, ababaka baali bakoze ddiiru nabo okweyongezaamu emyaka ebiri bave ku kisanja eky’emyaka etaano badde ku myaka musanvu, wabula bino kkooti etaputa ssemateeka yabisazizzaamu eggulo, ababaka ne bakola loosi.

Abamu mu ku babaka mu kuwagira ekyokweyongeza emyaka baali bakibaze nti ne bwe baba tebazzeemu kwesimbawo, ssente ze baba bafunye mu myaka ebiri mu Palamenti giba gibamala okufuna entandikwa, ate abalala nga bagamba nti we balituukira mu 2023 abalonzi bajja kuba beerabidde, wabula byonna kati bikyuse era akalulu kaakubeerayo mu 2021.

ABABAKA OKWEYONGEZA EMYAKA GWALI MULULU Abalamuzi mu kkooti eyatudde e Mbale bakatyemudde nti ababaka baalaga omululu, obuluvu n’okweyagaliza mu kusisa eky’okweyongeza emyaka. Baagasseeko nti ababaka baalaga obwannakyemalira ne bawamba obuyinza bw’alonzi era emyaka ebiri gye beeyongeza tegiri mu mateeka.

Abalamuzi baalagidde ababaka nti bwe baba baagala okweyongeza emyaka bategeke akalulu k’ekikungo abantu bonna basalewo. Kino kitegeeza nti okulonda kwa bonna kwakubeerawo mu 2021 ku bifo byonna okuva ku Pulezidenti, ababaka n’abakulembeze ba disitulikiti okutuukira ddala ku LC I.

Abalamuzi baakittaanyizza nti mu Ssemateeka wa 1995 abantu beesalirawo nti bajja kukyusanga abakulembeze baabwe buli luvannyuma lwa myaka 5 nga tewali babaka gye bajja buyinza kukikyusa nga tebazzeeyo mu balonzi.

Kkooti etaputa ssemateeka eyasaze omusango yabaddeko abantu bataano okuli omumyuka wa Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo, n’abalamuzi abalala bana: Cheborion Barishaki, Elizabeth Musoke, Remmy Kasule ne Kenneth Kakuru. Abalamuzi baasinzidde ku bujulizi obwaleetebwa oludda oluwaabi ne bagamba nti mu nkung’aana ababaka ze baakuba nga beebuuza ku balonzi, eky’okweyongeza emyaka tekirina we kyakoonerwako, wabula baakyekangira mu Palamenti era abalamuzi ne bakkaanya n’abawaabi nti kyakukusibwa bukukusibwa.

Omulamuzi Barishaka yagambye nti, “Ababaka mu kuyisa etteeka ly’okweyongeza emyaka baakikola na kweyagaliza kubanga, bandibadde bakiyisa nga balaga nti kitandika mu kisajja ekiriddako; wabula baateekamu akawaayiro akalaga nti kitandikira ku bbo ekiraga omululu n’okweyagaliza.” Abalamuzi era baasinzidde ne ku bujulizi bwa bwa Polof. Fredrick Ssempebwa eyali mmemba w’akakiiko akaakung’anya ebirowoozo bya Konsitutyusoni ya 1995eyalaga nti Bannayuganda mu kuwa ebirowoozo baasalawo nti omukulembeze yenna ajja kumalanga emyaka 5 mu ofiisi olw’o baddemu okulonda. Etteeka likkiriza kwongezaayo myezi mukaaga gyokka singa wabeerawo embeera ey’akaziggiziggi etasobozesa kulonda kubeerawo.

Barishaka yaggumizza nti; “Tewali mbeera ya kazzigizzigi, naye ababaka beeyambisa ebbago nabo okuddamu okweronda ekikontana ne Ssemateeka era emyaka ebiri gye beeyongeeza tegiri mu mateeka”. Elizabeth Musoke yanenyezza ababaka olw’obutebuuza kimala ate nga Konsitutyusoni obuyinza yabuwa bantu.

Remmy Kasule naye yawakanyizza ekya babaka okweyongeza emyaka gye kisanja n’agamba nti; “Tulina okuggyawo ensobi ezaakolebwa Gavumenti ezaayita tuleme kuziddamu okwewala ebyagwawo”.

BAMINISITA BALAGIDDWA OKUZZAAYO SSENTE

Omulamuzi Kakuru yeewuunyizza engeri Baminisita abatuula mu Palamenti wabula nga tebalina Konsitutyuwensi ze bakiikirira (Ex Officials) gye baafunamu obukadde 29 ezaali ez’okwebuuza ku balonzi nga bakimanyi bulungi nti tebalina gwe bakiikirira gwe bagenda kwebuuzaako era tebakkirizibwa kukuba kalulu.

Yalagidde baminisita bano okuzzaayo ssente bunambiro kuba baazirya mu bukyamu. Kakuru yasambazze n’obujulizi obwaleetebwa omubaka Betty Nambooze (Mukono Municipality) mu kkooti bwe yategeeza nti yazzaayo ssente ze baamuwa ekintu ekitaali kituufu okusinziira ku bujulizi obwavaayo.

KYALI KIKYAMU OKUKUBA ABABAKA BA PALAMENTI Omulamuzi Kakuru yasimbye nnyo amannyo ku nneeyisa ya poliisi n’agamba nti emirundi egimu yeeyisa ng’eri mu ggwanga eritagoberera ssemateeka. Yagambye nti eryanyi eryakozesebwa ku babaka ba Palamenti n’okukuba ab’oludda olwali luwakanya okuggyawo ekkomo ku myaka byali bimenya mateeka.

Yavumiridde ekyabasirikale okukuba ababaka mu ngeri ey'obuswavu n’agamba nti omubaka eyakubwa tomanya enkya ayinza okulondebwa ku bwa minisita oba n’abeera Ssaabalamuzi w’eggwanga. Omulamuzi Barishaka naye yagambye nti okukuba ababaka kyali kikyamu wabula yakkiriziganyizza ne sipiika Rebecca Kadaga okugoba ababaka abamu mu palamenti olw’okusiiwuuka empisa.

Kasule yavumiridde n’eky’abasirikale okuyingira mu Palamenti n’agamba nti; “Kyali kibi era ekitalyerabirwa mu byafaayo bya Uganda”. Kakuru ne Kasule baanenyezza nnyo AIGP Asuman Mugenyi (akulira ebikwekweto mu poliisi) okuwandiikira abakulira Poliisi mu ggwanga lyonna ng’abalagira obutakkiriza nkung’aana za babaka abaali bawakanya okuggyawo ekkomo ku myaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...