TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ensonga abalamuzi ze beesigamyeko nga basala omusango ogwa Togikwatako

Ensonga abalamuzi ze beesigamyeko nga basala omusango ogwa Togikwatako

By Musasi wa Bukedde

Added 27th July 2018

Ensonga abalamuzi ze beesigamyeko nga basala omusango ogwa Togikwatako

Lop2 703x422

Omumyuka wa Ssaabawolereza wa Gavumenti Mwesigwa Rukuntana ( ku kkono) ne Ladisras Rwakafuuzi ( ku ddyo).

ABALAMUZI okwabadde omumyuka wa Ssaabalamuzi Owiny Dolo, Remmy Kasule, Elizabeth Musoke, Kenneth Kakuru ne Cheborion Barishaki bwe baabadde tebannawa nsala yaabwe beesigamye ku nsonga 14 abawaabi ze baateekayo mu kkooti.

1 Kkooti yatunuulidde eky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti okuva ku 75 ekibadde kigambibwa nti kyakolebwa mu bukyamu naddala okukyusa ennyingo ya 102 (b). 2

Oludda oluwaabi lwalaga nti eryaanyi eryakozesebwa ebitongole ebikuumaddembe okuviira ddala mu nkuhhaana ezaategekebwa okwebuuza ku bantu okutuukira ddala mu Palamenti byali bikontana ne Ssemateeka era nga bissaawo embeera etasobozesa bantu kusalawo nga tebali mu kutya.

3 Eky’okwongeza ekisanja ky’ababaka okuva ku myaka etaano okutuuka ku musanvu nga kitandikira ku bakulembeze abaliko mu kisanja kino.

4. Kkooti era yatunuulidde eky’okwongerayo ekisanja ky’abakulembeze mu Gavumenti z’ebitundu ekyafuulibwa eky’emyaka omusanvu.

5 Oludda oluwaabi lwalaga nti tewali muntu yenna ababaka gwe beebuuzaako nga bongezaayo ekisanja okuva ku myaka etaano kuba ne Sipiika bwe yali asindika ababaka okwebuuza ku balonzi ensonga eno teyaliimu.

6 Ekikolwa ky’okukozesa eggye erikuuma Pulezidenti erya Special Forces Command (SFC), eryeyambisibwa mu kufulumya ababaka ku kifuba kkooti yabadde erina okukiwaako ensala oba nga kyali mu mateeka. Abawaabi baabadde bagamba nti kino kikontana n’ennyingo eziwerako okuli; 1, 2, 3 (2) ne 8A eza Konsitityusoni.

7 Ekikolwa ky’okuzzaawo ekkomo ku bisanja by’emyaka gya Pulezidenti; abawaabi bagamba nti kyakolebwa mu bukyamu kuba kino kirina kukolebwa nga bayita mu kalulu k’ekikungo.

8.Abawaabi baateekayo omusango nga bagamba nti kyali kimenya mateeka omubaka ssekinnoomu Raphael Magyezi (Igara West) okwanja ekiteeso ky’okukyusa Konsitityusoni nga tekivudde mu Gavumenti.

9 Abawaabi baabadde bawakanya ne ky’okugamba nti okugaana omuntu awezezza emyaka 75 okwesimbawo kubeera kumusosola kuba y’emu ku nsonga eyaweebwa abaakyusa Konsitityusoni.

10 Abalamuzi era baatunuulidde oludda oluwaabi kye lwassaayo nga lugamba nti abantu tebeebuuzibwako ng’ababaka bagenda okuteesa ku by’okukyusa Konsitityusoni ku nsonga ezimu ezaayisibwa.

11 Palamenti nayo kennyini kigambibwa nti teyagoberera mateeka ng’ekyusa Konsitityusoni kuba abantu abatali babaka baalabibwa nga bayingidde mu kisenge omuteesezebwa.

12 Oludda oluwaabi era lwabadde lugamba nti ekiseera ennongoosereza we baagireetera tewaali babaka ba ludda luvuganya mu Palamenti kubanga baali bafulumye nga bawakanya engeri bannaabwe gye baali bakubiddwa.

13 Ekirala baabadde bawakanya engeri amateeka agafuga eby’okuteesa gye baagavvoolamu. Okugeza ababaka bonna tebaaweebwa mukisa kuteesa, awamu n’okulemwa okwawula olusoma lw’ebbago Olwokubiri n’Olwokusatu nga tebayisizzaawo nnaku

14. Abalamuzi era baatunuulidde engeri Pulezidenti gye yateeka omukono ku bbago ly’etteeka nga tewali satifikeeti okuva ewa Sipiika eya Certificate of Compliance ne satifikeeti okuva mu kakiiko k’ebyokulonda nga bwe kirina okuba.

ABABADDE MU MUSANGO GUNO Oluvannyuma lw’okuyisa ekiteeso ky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti abantu abeenjawulo baatandika okuvaayo mu January w’omwaka guno nga bawakanya engeri ekiteeso gye kyayisibwamu.

Ababaka ba Palamenti okuli; Winfred Kiiza akulira oludda oluvuganya Gavumenti, Ibrahim Ssemujju Nganda (Nnampala w’oludda oluvuganya Gavumenti), Gerald Karuhanga (Ntungamo Munisipaali), Mubarak Munyagwa (Kawempe South), Allan Ssewannyana (Makindye West) ne Jonathan Odur (Erute South).

Aba Uganda Law Society nabo bawaaba. Oludda oluwakanya okukyusa Konsitityusoni lubadde lukulemberwa; Loodi Meeya Erias Lukwago, Ladislaus Rwakafuuzi, Dan Wandera Ogalo, James Byamukama, Yusufu Musembuli, James Jjabi, Moses Okalany, Luyimbazi Nalukoola ne Badru Wanjiyu. Male Mabiriizi y’omu ku babadde abawaabi nga yeekiikirira yekka ng’alumiriza nti eky’okwongeza emyaka gy’ekisanja okuva ku etaano okutuuka ku musanvu kyakukusibwa.

Ate oludda oluwawaabirwa olwa Gavumenti nga lukulemberwa; Mwesigwa Rukutana (omumyuka wa Ssaabawolereza wa Gavumenti) ng’ayambibwako Francis Atoke, omuwabuzi wa Gavumenti ku by’amateeka (Solicitor General), Christine Kaakwa, Martin Mwambutsya, Henry Oluka, Elisha Bafirawala, George Kalemera, Richard Adrole, Geoffrey Madete, Imelda Adongo, Susan Akello, Johnson Akwera ne Jackie Amusgut.

Oludda oluwaabi lwaleeta obujulizi nga lusaba etteeka lino lyonna n’obuwaayiro bwamu bisazibwemu, Ssemateeka asigale nga bwe yali nga beesigama ku kunnyonnyola kwe baawa okulaga nti ababaka tebaagoberera mateeka mu kuyisa etteeka lino era n’omutima mwe baalireetera gwali mubi nga baagala lisazibwemu bukolokolo.

Abantu ab’enjawulo baawa obujulizi omuli ababaka abaakubwa ate oludda lwa Gavumenti ne luleeta abajulizi okunnyonnyola ebyaliwo n’okulaga nti baabikola bagoberera mateeka era waaliwo enkalu ng’abajulizi ab’enjawulo bababuuza akana n’akataano ku bujulizi bwabwe. Mu kuwulira omusango Gen. David Muhoozi, omuduumizi w’eggye lya UPDF y’omu ku baalabika mu kakiiko ng’awolereza obulumbaganyi obwakolebwa eggye erikuuma Pulezidenti erya SFC. Betty Nambooze naye yawa obujulizi n’alaga nti y’omu ku babaka 25, abaafulumizibwa aba SFC ku kiragiro kya Sipiika nga September 27, 2018. Abajulizi abalala abaawa obujulizi ku ludda lwa Gavumenti kwaliko; Keith Muhakanizi akulira eggwanika lya Gavumenti, akulira ebyokwerinda ku Palamenti Ahmed Kagoye, eyali omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Frank Mwesigwa, omuwandiisi wa Palamenti omukulu Jane Kibirige, akulira abakozi ba Gavumenti John Mitala nga buli omu baali bamulumiriza okubeerako kye yakola mu kuyisa ennongoosereza mu Ssemateeka mu December wa 2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...