TOP
  • Home
  • Agawano
  • Baabano ababaka abatavuddemu kigambo kyonna mu mwaka ogwokubiri mu Palamenti

Baabano ababaka abatavuddemu kigambo kyonna mu mwaka ogwokubiri mu Palamenti

By Kizito Musoke

Added 29th July 2018

Baabano ababaka abatavuddemu kigambo kyonna mu mwaka ogwokubiri mu Palamenti

Yohe 703x422

Ababaka; Kato Lubwama ne Simeo Nsubuga kati myaka ebiri mu Palamenti naye tebavangamu yadde ekigambo oba omwasi!

OMWAKA ogwokubiri ogwa Palamenti eya 10 gujjukirwako ebintu bingi naddala ekiteeso kya ‘Togikwatako’. Enki? Ssemateeka! Mu mwaka ogwo ogwakomekkerezeddwa mu May 2018, ensonga endala nnyingi ng’oggyeeko ebya ‘Togikwatako’ ezaateeseddwaako mu Palamenti eno ey’ababaka 453.

Wakati mu kuteesa, okuyisa amateeka n’ebiteeso, ku babaka 453, waliwo abaateesezza n’ennyenje ne zikunkumuka, kyokka nga bannaabwe abamu bamumunyadde ng’omwaka gutuuse kuggwaako nga tebavuddemu wadde ekigambo.

........................................................................................................................

Ababaka ba Buganda abateesezza ne mukeerere n'amwenya

........................................................................................................................

Okusinziira ku nnyingo eya 79 eya Ssemateeka, omulimu omukulu ogwa Palamenti gwa kukola mateeka.

Ng’oggyeeko okukola amateeka, Konsitityusoni era ewa ababaka obuyinza okulondoola ensaasaanya y’ebitongole bya gavumenti, okuyisa bajeti y’eggwanga, okulondoola emirimu gya gavumenti n’okusakira ebitundu byabwe okutuusibwako empeereza ya gavumenti.

Tutunuulidde enteesa y’ababaka abava mu Buganda okuva mu June wa 2017 omwaka ogwokubri ogwa Palamenti ey’e 10 lwe gwatandika okutuuka mu May 2018, omwaka ogwokubri lwe gwakomekkerezeddwa.

Johnson Muyanja Senyonga (Mukono South), ssentebe w’ababaka abava mu Buganda ab’akabondo aka Buganda Caucus yagambye nti mu kiseera kino bawera 108.

Ng’oggyeeko olunaku lwa November 20, 2017 ababaka lwe baakuba akalulu ku ‘Togikwatako’ buli mubaka lwe yalina okuvaamu ekigambo ‘Ye’ oba ‘Nedda’, tukubye ttooci mu ntuula za Palamenti ennene ne tuzuula ababaka abatavuddeemu kigambo kyonna!

.

TEWALI TTEEKA LIWALIRIZA BABAKA KWOGERA - MUBAKA

Clement Ongalo Obote (Kalaki/ Kaberamaido) akulira akakiiko akakwasisa empisa mu Palamenti yagambye nti tewali tteeka likaka mubaka kwogera.

Omubaka ne bw’amala emyaka etaano nga tayogedde kigambo mu Palamenti tewali amuvunaana.

Etteeka lyonna omubaka mw’asobola okuvunaanibwa lya kwosa singa amala entuula 15 ez’omuddirihhanwa nga talabiseeko mu Palamenti.

Yawadde eky’okulabirako nti gye buvuddeko Sipiika aliko ababaka be yawandiikidde ebbaluwa ng’abasaba bennyonnyoleko lwaki tebalabikako mu bukiiko.

BANO BAFUBA OKUTEESA

Luttamaguzi Semakula (Nakaseke South) ateesezza emirundi 15, Francis Zaake (Mityana Municipality) emirundi 14, Rosemary Seninde (mukazi/ Wakiso) emirundi 14, Sydah Bumba (Nakaseke North) 13, Charles Bakkabulindi (bakozi) 12, Henry Kamya Makumbi (Mityana South) 12, ne Mubarak Munyagwa (Kawempe South) 11.

ABALINNYISIZZA OMUTINDO

James Abraham Byandala, Ruth Katushabe, Sylivia Nayebale baateesezza emirundi musanvu ne John Bosco Lubyayi emirundi 5.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tulu 220x290

Mwegendereze siriimu akyaliwo -Minisita...

MINISITA w’obulimi, obulunzi n’obuvubi Vincent Ssempijja ajjukizza abavubuka nti siriimu akyaliwo akyegiriisa n’abasaba...

Pala 220x290

‘Kirungi okuyamba abali mu bwetaavu’...

BANNADDIINI okuva mu kigo kya Blessed Sacrament Kimaanya mu ssaza ly’e Masaka badduukiridde abakadde abatalina...

Batya1 220x290

‘Mufe ku mitima so si nnyambala’...

ABAKRISTU b’e Lukaya mu disitulikiti y’e Kalunguku Lwomukaaga baasuze mu Klezia nga batenderezza Katonda mu Mmisa...

Papa 220x290

Obukadde 600 nakozesaako 70 endala...

Town Clerk w’Eggombolola y’e Gombe, Sulaiman Kassim asobeddwa mu lukiiko RDC w’e Wakiso, Nnaalongo Rose Kirabira...

Untitled4 220x290

Ssegirinya waabwe lwaki munsibako...

KANSALA Muhammadi Ssegirinya ‘’Ddoboozi lya Kyebando’’ yeewozezzako ku by’omukazi gw’apepeya naye mu Amerika.