TOP

Engeri gye navuga Kabaka ng’akomawo

By Musasi wa Bukedde

Added 30th July 2018

Engeri gye navuga Kabaka ng’akomawo

Kub2 703x422

Bbaale Mugera ne Kabaka mu 2005. Mugera ye yavuga Kabaka okumukomyawo mu Uganda.

Mu 1986, ng’abataka bamaze okukola enteeseganya ez’enjawulo ne Pulezidenti Museveni ng’akkirizza Ssaabasajja okudda nga Ssaabataka, Ssaabasajja ng’akyali Bungereza, yateekawo akakiiko k’abantu abawerako nga nange kwendi, looya John Katende, Joyce Mpanga, Joseph Musoke, Omulangira Badru Kakungulu eyali akakulembera, Paul Kavuma, Ssenteza Kajubi, Ssaabalangira Kayima, Rev. Gwayambadde, Omulangira Jjuuko Walugembe, George Kabugo, Rev. Fr. Ssebayigga, Patrick Bukenya Kiwanuka, n’abalala. Buli muntu yalina olubimbi lwe era buli omu yamuwandiikira ebbaluwa ng’amutegeeza nti alondeddwa okubeera ku kakiiko akakola ku ntegeka z’okudda kwe n’okuteeseganya ne gavumenti.

Twasanga obuzibu, ng’abamu baagala enteekateeka z’okudda kw’Omutanda zibeere mu lwatu Abaganda balage essanyu lyabwe ate abalala nga bagamba zibeere za kyama kuba tetumanyi bantu balala kye balowooleza Bwakabaka bwaffe.

Ebiseera ebyo Kabaka yali avudde e Bungereza ng’asembedde e Kenya, twasalawo nti tumuleete mu kasirise, tuleme kuleetawo buzibu kuba n’abaamagye bangi baali basimbidde ekkuuli eky’okudda kwe. Obuvunaanyizibwa era bwagabwa, obwange bwali butereevu ku Ssaabataka, nga nze nkola ku bantu abalina okumulaba ne mbasunsulamu. Nvuga Kabaka okumuzza okwaboobwe Mu 1986, nze ne Patrick Kiwanuka twalondebwa okunona Omutanda e Kenya okumukomyawo kuno. Ekiro ekyo lwe nategeera nti nze nja okuvuga Omutanda era nasula seebase.

Nabukeereza nkokola ne tukwatagana ne Kiwanuka, buli omu yavuga mmotoka ye, zonna zaali Benzi, yali aggyidddwa e Kenya Omw. Wasswa Biriggwa ng’amuleese ku nsalo emu we twalina okumunona, twagenda babiri ffekka nze ne Kiwanuka. Olwatuuka ku nsalo we yali, twebuuza nti atuule mu mmotoka y’ani, Kiwanuka ate ye yali akankana nnyo ne tusalawo atuule mu yange.

Omutanda aba tannatuula mu mmotoka, abajaasi babiri ne batuva erudda n’erudda, omu yali James Lutaaya ate omulala Major Lukyamuzi. Lutaaya yatutegeeza nti “Am taking command of this mission” nti Pulezidneti ye yali amutumye nti era tugoberere ebiragiro bye. Emmotoka z’amagye bbiri nazo ne ziyingirawo nga kuliko abajaasi, Ssaabasajja yatuula mu mmotoka yange, ez’amagye ne zitukulembera emu mabega endala mu maaso.

Natya nga simanyi kiddirira, ng’Omutanda ye mugumu nnyo era Ssaabasajja nkakasa tatiiririrangako Buganda, abadde mugumu mu mbeera yonna. Namuvuganga ambuuza nti, “Ee Vincent muli mutya eno, ebintu bibadde bitambula bitya?” naye nga nze gw’abuuza omwoyo nga gwanvuddemu dda, nga simanyi bigendererwa by’abajaasi bano abatuwerekera na gye batutwala. Bampa ebiragiro nti nvuge nga nzira Kampala teri we tukyamako yadde ate nga ne Museveni ebiseera ebyo tetunnamwesiga.

Bwe twatuuka e Kampala, Lutaaya n’ambuuza, ntegeka ki ku gye tutwala Omutanda, ne mmutegeeza, tubadde tumutwala mu maka gange e Muyenga. Mba sinnamugamba nti okwata kkubo lino, n’atukulemberamu okutuuka mu maka gange, nasigala nneebuuza yategeddeyo atya!

Mukyala wange Sarah Kagere twasanga yategese dda ebyokunywa n’atuwa olwo amagye ne gagenda naye ng’ebweru waliyo abali mu ngoye za bulijjo abatambula. Waayita akaseera katono, omuntu n’akonkona ku geeti, okutuukawo nga William Pike eyali akulira kkampuni ya Vision Group, yahhamba nti awulidde ng’Omulangira Mutebi ali wange era ayagala kwogerako naye, Omutanda yakkiriza era n’ayingira ne boogera.

Natya nga mpulira siteredde Omutanda okusuzibwa mu maka gange, nga buli omu ategdde nti nze mmulina, nayogera ne Kiwanuka ne mmugamba ategeke we tunaasuza Omutanda, yagenda ewuwe e Komamboga n’atereeza amaka ge, zaali ziwera ssaawa 2:00 ez’ekiro Omutanda ne tumutwala n’atandika okusula eyo.

Abantu bangi bajjanga okumuleetera ebintu era Abaganda baatulaga omwoyo gwa Buganda ogutafa kuba baafaayo eri Kabaka waabwe eyali ng’asenze mu mutala omupya okutali kantu ng’atandika butandisi.

E Komamboga yamalayo emyezi mitono n’addayo e Bungereza, twali twekengedde abantu abamu abajjanga okumulabako. Mu 1987 twazzaawo emipiira gy’ebika ne tuteekawo akakiiko ka Bika Football Association (BFA) okusembeza abantu okumpi ne Kabaka waabwe ate naye okumusembeza mu bantu be. Lumu mu 1989 Pulezidenti Museveni yatubuuza nti, Kabaka agenda kweyimirizaawo atya? Ne wabaawo abamuwabula nti aweebwe omulimu mu gavumenti akole, twagaana nga tukimanyi Kabaka akolera bantu be si kukozesebwa.

Ne tutandika okulowooza ku bintu byaffe ebingi ebyali biri mu gavumenti ya wakati. Ne tutandika okubanja Ebyaffe era bingi bigenze bikomawo. Ennaku z’omwezi bwe zaaweebwa ez’okutikkira Omutanda, buli omu yeebuga.

Nawulira essanyu lye sifunangako mu bulamu, nga ndaba kye twalwanirira ebbanga eddene kituukiridde, essanyu eryo lyanneerabiza ennaku gye nalaba mu kuwamba olubiri mu 1966.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det1 220x290

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa...

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa

Nom1 220x290

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya...

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya ku bidduka

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka