TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekyaviiriddeko okwanjula kwa Babirye okuggweera mu mbaga

Ekyaviiriddeko okwanjula kwa Babirye okuggweera mu mbaga

By Josephat Sseguya

Added 30th July 2018

Okwanjula kwa Judith Babirye kwaggweeredde mu mbaga bwe yayambadde kadaali n’akumba n’omwami we Paul Musoke Ssebulime oluvannyuma ne benaanika empeta. Abasumba Imelda Namutebi ne Irene Manjeri be baasabidde empeta.

Babirye 703x422

Babirye nga baakamunaanika empeta.

Nga banekedde mu byambalo by’abagole, Babirye ne bba baasaze keeke. Oluvannyuma baatudde ku ntebe buli omu n’aliisa munne.

Ekyaddiridde buli omu yakutte egiraasi n’anywesa munne. Babirye yakkirizza nti eno yabadde mbaga yaabwe esooka. Kyokka eriyo embaga endala ey’okugattibwa mu kkanisa eribaawo oluvannyuma.

Ku luno Abasumba baakomye ku kusabira mpeta. Ku mbaga eriddako Abasumba bagenda kutugatta.

Gwabadde mukolo gwa kitiibwa ogwategekeddwa mu kibangirizi kya woteeri ya Las Vegas e Bunga ku Lwomukaaga, wakati mu byokwerinda okw’amaanyi.

Wadde gwategekeddwa mu kyama kyokka gwabaddeko abantu bangi abasoba mu 1,000 okwabadde Omumyuka wa Pulezidenti Edward Sekandi, ababaka ba palamenti n’ebikonge ebirala.

Babirye ye mubaka omukazi owa Buikwe ate bba y’akiikirira Njeru Munisipali mu palamenti.

Okutya okwasoose okubaawo nti waliwo abakazi Sebulime be yazaalamu abaana abaabadde ne pulaani etaataaganya omukolo, bonna tewali yalabiseeko.

 abirye ngayanjulira bba muwala waabwe ana gwe yazaala mu bufumbo obwasooka ne amuel iiwo Babirye ng’ayanjulira bba, muwala waabwe Nana gwe yazaala mu bufumbo obwasooka ne Samuel Niiwo.

Abako baatuukidde munda mu woteeri eyategekeddwa emikolo gy’okubazaala era oluvannyuma lw’okubagabula ne balyoka bajja mu weema ennene eyassiddwa mu kibangirizi kya woteeri.

Wakati mu mikolo, Babirye yagenze mu woteeri okukyusa n’akomawo ng’anekedde mu kadaali ng’ayimba oluyimba lwe olupya lwe yatuumye “Embaga eya ddala” lwe yayiiyirizza Musoke.

Yakulembeddwa abaana abawala nga bambadde ebyeru nga n’owa Babirye ayitibwa Nana ow’emyaka 11 gwe yazaala mu Samuel Niiwo kwali. Yayanjudde abaana bano n’agamba nti bonna babe.

Kigambibwa nti kuliko aba bagandabe n’aba Musoke. Yayanjudde Nana eri Musoke n’amutegeeza nti: mwana wange Nana ono ye kitaawo agenda okukulabirira.

Musoke yasemberedde Nana n’amwaniriza n’okumugwa mu kifuba enduulu n’evuga. Babirye yazizzaako okuyita Abasumba Namutebi ne Manjeri abaasabidde empeta.

Babirye nga tannayambaza Musoke mpeta yakubye ekirayiro: Nze Babirye, nkwagala nnyo mwami wange.

Nja kukwagala mu bulungi ne mu bubi, mu bulwadde ne mu bulamu, mu bugagga ne mu bwavu okutuusa okufa lwe kulitwawula.

N’agattako: Musoke nja kukwagala mu ddembe ne ku kifuba kubanga ggwe mwami wange asembayo siriddamu kufuna mulala.

Bino byayaniriziddwa n’enduulu, kyokka ng’abamu bwe beekuba obwama kubanga omukolo gw’okwanjula gwabadde gumaze okufuuka embaga.

abirye ne bba nga basala kkeekiBabirye ne bba nga basala kkeeki.

Musoke naye yalayidde ebintu bye bimu ng’anaanika Babirye empeta n’ategeeza nti eby’omukazi (Lukia Ntale) eyali akaayana nga bwe yamusuulawo, by’ebintu ebyogerwa ku muntu alina omulamwa mu bulamu.

Yeegezezza ku muti ogulina ebibala nti bulijjo gufa enkonyogo. Nga bamaze okusala keeke n’okweriisa n’okunywa baagabudde amadaala ga keeke eri abazadde, abategesi ne mikwano gyabwe.

Bassizza emikono ku kiwandiiko ekikaksa obufumbo bwabwe, mu maaso ga taata wa Babirye, Ssalongo Henry Mukooza ne maama wa Babirye Joyce Namutebi.

Besitimani ne metulooni nabo baataddeko emikono. Okwanjula; Okwanjula kwatandikidde mu ggiya, Babirye bwe yafulumye ennyumba (wooteeri) ng’ali mu Benz embikkule nga bassengabe bagivaako mabega, eno yamutuusizza ku weema.

Abayimbi kwabaddeko babiri bokka, Hanson Baliruno eyamufulumizza enju ne Pasita Wilson Bugembe. Ennyimba endala Babirye ye yazeeyimbidde.

Abaabuuzizza baabadde baganda ba Babirye, bannyina(abako) ne bassenga bokka. Aboogezi okwabadde Mzee Bakkiddaawo ensonga baaziyisizza mu bwangu, okusobozesa ekitundu ekiddako eky’embaga okutandika.

Musoke yaleese ebirabo bingi ebyajjidde ku loole Fuso ssatu ne kabangali.

........................................................................................................................

EMBOOZI ENDALA...

Ensonga lwaki okwanjula kwa Judith Babirye kaggweeredde mu mbaga,

Okwanjula kwa Judith Babirye kwabaddeko obukolomooni

Ebyokwerinda mu kwanjula kwa Judith Babirye binywezeddwa

Judith Babirye yeewangulidde mubaka munne: Okwanjula kwengedde

Okwanjula kwa Judith Babirye bakugaanye ewa kitaawe: Akututte mu woteeri

Judith Babirye yeewangulidde mubaka munne: Okwanjula kwengedde

Mukyala w'omusajja Judith Babirye gw'agenda okwanjula asitudee enkundi

Okwanjula kwa Judith Babirye kwengedde: Emikolo gimuwuuba

..........................................................................................................................

 

 

 

 
 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Leero mu mumboozi y'omukenkufu...

Leero mu mumboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'empirinvuma okulwanyisa obulumi ng'oli...

Kuba1 220x290

Abalamuzi mu nsi za Afrika 5 basisinkanye...

HENRY Peter Adonyo akulira ettendekero ly’abalamuzi akubirizza abalamuzi ba Kkooti Enkulu okwenyigiranga mu misomo...

Haki 220x290

Kamoga atongozza hakki eyookuna...

HAJJI Muhammadi Kamoga naye nno tasaaga. Ayingizzaawo hakki eyookuna Zanei Birungi.

Tuula 220x290

Spider Roxy atandise okukokoolima?...

ABANTU abaalabye omuyimbi Spider Roxy n’ekyana nga beekuba obuwuna n’obwama baasigadde beebuuza oba naye yatandise...

Tuma 220x290

Omuwala yankyawa lwa bwavu

NZE Wilson Musoga, nzaalibwa mu disitulikiti y’e Mayuge. Mu 2018, nnasalawo okufuna omwagalwa era amaaso gansuula...