TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Munnayuganda mu Amerika yettidde mu limbo lwa muganzi we okufumbirwa omusajja omulala

Munnayuganda mu Amerika yettidde mu limbo lwa muganzi we okufumbirwa omusajja omulala

By Joseph Makumbi

Added 31st July 2018

BANNAYUGANDA ababeera mu ssaza ly’e Massachusetts mu kibuga Boston mu katawuni ka Watertown baguddemu ekyekango owooluganda lw’Omusumba w’Ekkanisa yaabwe bwe yettidde mu limbo olwa muganzi we okufumbirwa omusajja omulala.

102870036254092775390258890611552112095014o 703x422

Abasinga amawulire g’okufa kwa Abel Anthony Ayinza 25, baagafunidde mu kirango, omubuulizi w’enjiri Suzette Ssajjabbi omu ku baddukanya ekkanisa ya New Life International Christian Center ey’Omusumba Sam Mutyaba mu Amerika mu kibuga Boston kye yayisizza eri abagoberezi.

Ayinza, mutabani w’omugenzi Joseph Katabalo ow’e Wakiso yesse ku Lwakusatu lwa wiiki ewedde omulambo gwe ne gusangibwa mu kifo awaziikibwa abafu mu katawuni k’e Watertown.

Okusinziira ku Bannayuganda abali mu kibuga Boston, Ayinza abadde omu ku bavubuka ababadde bakuguse mu kubuulira enjiri era abadde atera okufuna obudde n’akwata obutambi ng’aliisa ekigambo kya Katonda n’ateeka ku mikutu gya yintanenti okuli; WhatsApp, Facebook n’emirala, abadde muvubuka ayagalwa olw’enneeyisa ye.

Ono abadde yatikkirwa mu 2016 e Kyambogo era olwamala okutikkirwa n’agenda mu Amerika awali abamu ku ba famire ye.

Kigambibwa nti, alina omuwala Munnayuganda omulungi lwondo gwe yafuna mu Amerika, essuubi lye lyonna ery’obulamu obw’omu maaso, abadde yaliteeka mu ye, era kigambibwa nti, buli bazadde be lwe babadde bamubuuza ku nteekateeka z’okuwasa ng’abagamba kimu ‘Mukama yansalirawo dda’.

Omuwala gwe yali ateekateeka okuwasa yalinnya ennyonyi n’akomawo mu Uganda ng’amugambye nti yali azze kulaba ku famire ye kyokka wakati mu wiiki ewedde, yafuna amawulire nti muganzi we yali ateekateeka kwanjula.

Okusinziira ku nsonda bino teyasooka kubikkiriza wabula kyamumaze enviiri ku mutwe bwe baamusindikidde ebifaananyi by’omukolo.

Abaserikale ba poliisi y’e Boston abaayitiddwa okutwala omulambo bwe baamukebedde baamusanzeemu essimu.

Mu ssimu eno mwe baasanze ebifaananyi by’omuwala ng’ali ku mukolo gw’okwanjula omusajja mu maka ga bakadde be.

Yabadde ayambadde gomesi emmyufu ng’alabika yenna musanyufu n’engeri omukolo gye gwabadde gutambulamu.

Omubuulizi w’enjiri Ssajjabbi yategeezezza abagoberezi nti, enteekateeka z’okukungubagira Ayinza zaabadde zigenda kubategeezebwa oluvannyuma kyokka teyalambise oba omulambo gwakukomezebwawo mu Uganda oba gwabadde gwa kuziikibwa mu limbo e

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.