TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kayihura ayogedde ku musajja we Baroza eyakwatibwa

Kayihura ayogedde ku musajja we Baroza eyakwatibwa

By Musasi wa Bukedde

Added 31st July 2018

Kayihura ayogedde ku musajja we Baroza eyakwatibwa

Kub1 703x422

Kayihura ne Baroza

GEN. Kale Kayihura ayogedde ku musajja we Jonathan Baroza nti ekyamutwaza mu Algeria kukwanaganya pulojekiti y’okugula kkamera ezigenda okussibwa ku nguudo okunyweza ebyokwerinda.

Pulezidenti Museveni yalagira okussa kkamera ku nguudo mu bibuga ziyambeko okukwata ebifaananyi by’abeenyigira mu bumenyi bw’amateeka.

Kayihura yabadde ayanukula bambega ku bigambibwa nti yasindika Baroza mu Algeria ng’amuddusa oluvannyuma lw’okumuzuula nga yeenyigira mu kutemula Felix Kaweesi.

Kyategeezeddwa nti Kayihura bwe yabadde ne bambega abamunoonyerezaako aliko ebintu bingi bye yayogeddeko ng’ebimu abyegaana ate ebirala n’agezaako okutangaaza bitegeerekeke. Baroza yali muyambi wa Kayihura era y’omu ku beetoololerako obujulizi ku kutta Kaweesi.

Kayihura yamusindika Algeria. Kyokka bwe kyasalwawo akomewo mu Uganda abeeko by’abuuzibwa ku kutta Kaweesi n’adduka mu Algeria era kati anoonyezebwa.

Omu ku bambega ababuuliriza ku Kayihura yategeezezza Bukedde nti bwe baamusisinkanye yabannyonnyodde yasindika Baroza mu Algeria akwatagane ne poliisi yaayo kubanga poliisi ya Algeria yali ekkirizza okuyamba Uganda ku by’okussa kkamera ku nguudo.

Algeria limu ku mawanga agalina kkamera mu bibuga okulwanyisa obumenyi bw’amateeka naddala ebikolwa by’abatujju. Kaweesi yatemulwa March 17, 2017 e Kulambiro. Yattibwa ne ddereeva we Godfrey Mambewa n’omukuumi we Kenneth Erau. Kayihura yategeezezza bambega nti yalina enkolagana n’abaduumizi ba poliisi z’amawanga ga Afrika amalala.

Bano baamuwa amagezi ku ngeri y’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka mu bibuga. Pulezidenti bwe yamuwa obuvunaanyizibwa bw’okugula kkamera ne kizuulwa ng’obukugu buli mu Algeria. N’agamba nti Baroza yali akoze ku pulojekiti eziwera kye yava amusindika mu Algeria okukwanaganya ebya kkamera.

Bino biddiridde ebiwandiiko ebyavudde mu poliisi ya Afrika (AFRIPOL) okuva mu Addis Ababa ekya Ethiopia nga biraga engeri Baroza gye yafunamu omulimu. Ebbaluwa okuva mu AFRIPOL ennyonnyola engeri Baroza gye yava ku mirimu egyali gimusindikid-dwaako mu Congo Brazzaville n’endagaano ey’emyaka ebiri kwe baamuweera omulimu.

Ebbaluwa eraga n’engeri gye yasindikibwa mu Algeria nga tayise mu kakuhhunta. Kyokka ensonda zigamba nti Kayihura alina mukwano gwe Gen. Abdelghani Hamel aduumira poliisi ya Algeria eyakola ku nsonga zino. Era mu Algeria, Baroza tabadde ku kitebe kya Uganda mu ggwanga eryo abadde akola na poliisi ya Algeria.

Bambega olwafunye kkopi z’ebbaluwa zino ne baddamu okusisinkana Kayihura annyonnyole;

Baamubuuzizza lwaki mu baserikale bonna abakugu be yalina mu kitongole ekirwanyisa abatujju, yalonda Baroza ataalina bukugu bwonna.

Mu kumusindika mu Algeria, ebbaluwa esemba Baroza emulaga nga Senior Counter Terrorism Officer, kubanga ekyandibaddemu omukugu mu by’obutujju kyokka nga Baroza talina bukugu obwo. Mu bbanga ly’amaze mu poliisi, Baroza abadde akolera mu poliisi eyaabulijjo gye yava Kayihura n’amufuula omuyambi we.

Ebbaluwa esemba Baroza okuweebwa omulimu mu AFRIPOL era okwasinziirwa okugenda mu Algeria, yaweerezebwa August 7, 2017. Mu kiseera kino, Baroza yali omu ku baali basongebwamu olunwe okumanya ku kutemulwa kwa Kaweesi.

Omuserikale Judas Tadeo eyakwatibwa n’omusajja omulala nga bayoola omusaayi mu kifo awattirwa Kaweesi yategeeza abaamukwata nti, Baroza ye yali agumutumye era yalina ekifo ekimu we yali amulindidde agumutwalire. l Bambega baalaze nti ebbaluwa esemba Baroza mu AFRIPOL yasindikibwayo August 7, nga Baroza yaweebwa dda omulimu kubanga mu Algeria yagendayo mu April.

Kino bambega bagamba nti bakiraba ng’ekiraga obutali bulambulukufu ku ngeri Kayihura gye yakolamu ebintu. ABA AFRIPOL BEEGASSE KU MUYIGGO GWA BAROZA Endagaano ya Baroza ne AFRIPOL eggwaako nga September 15, 2019. Endagaano eno ya myaka ebiri, yamuweebwa nga September 15, 2017.

We yabuliddewo, abadde yaakagitambuzaako emyezi mwenda (9). Kino kiwalirizza abakungu ba AFRIPOL okuyingira mu muyiggo gwa Baroza kubanga nabo akyali mukozi waabwe.

Mu bbaluwa eyawandiikiddwa Amine Idriss Adoum akulira abakozi mu AFRIPOL nga July 22, 2018, baagambye nti bagenda kuyambako Gavumenti ya Uganda okuyigga Baroza. Baroza okubula, yali asindikiddwa mu lukuhhaana lw’abaduumizi ba poliisi mu masekkati n’obugwanjuba bwa Afrika olwaliwo nga June 13 ne 14, 2018 mu Congo Brazzaville. Okusinziira ku bubaka obwavudde ku kitebe kya AFRIPOL mu Addis Ababa, omukwanaganya wa AFRIPOL mu Uganda ye yabategeeza nti, Baroza yali yeetaagibwa mu Uganda okulaba omuduumizi wa poliisi Martin Okoth Ochola ne tiketi y’ennyonyi ekomyawo Baroza mu Uganda n’esindikibwa. Okuva olwo, Baroza tamanyiddwaako mayitire.

BASABYE MINISITULE ENNYONNYOLE EBYA BAROZA Abavunaanyizibwa ku Byokwerinda baasabye Minisitule ekola ku nkolagana ya Uganda n’amawanga amalala okunnyonnyola Baroza gy’ali.

Mark Sseremba omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule eyo yawandiikidde omubaka wa Uganda mu Algeria Alintuma Nsambu nga July 9, 2018, annyonnyole Baroza gy’ali. Nga July 22, 2018, Alintuma Nsambu yazzeemu ebbaluwa ng’amutegeeza nti tamanyi Baroza gy’ali era mu bbanga lyonna ly’amaze mu Algeria, yamulabako omulundi gumu gwokka ku kitebe ng’abuuza ku bakozi. Ebbaluwa zonna zaawerezeddwaako ne Pulezidenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....