TOP

Munnayuganda yettidde mu America

By Musasi wa Bukedde

Added 31st July 2018

Munnayuganda yettidde mu America

Kib2 703x422

Antony Ayinza

BANNAYUGANDA ababeera mu ssaza ly’e Massachusetts mu kibuga Boston mu katawuni ka Watertown baguddemu ekyekango owooluganda lw’Omusumba w’Ekkanisa yaabwe bwe yettidde mu limbo olwa muganzi we okufumbirwa omusajja omulala.

Abasinga amawulire g’okufa kwa Abel Anthony Ayinza 25, baagafunidde mu kirango, omubuulizi w’enjiri Suzette Ssajjabbi omu ku baddukanya ekkanisa ya New Life International Christian Center ey’Omusumba Sam Mutyaba mu Amerika mu kibuga Boston kye yayisizza eri abagoberezi.

Ayinza, mutabani w’omugenzi Joseph Katabalo ow’e Wakiso yesse ku Lwakusatu lwa wiiki ewedde omulambo gwe ne gusangibwa mu kifo awaziikibwa abafu mu katawuni k’e Watertown.

Okusinziira ku Bannayuganda abali mu kibuga Boston, Ayinza abadde omu ku bavubuka ababadde bakuguse mu kubuulira enjiri era abadde atera okufuna obudde n’akwata obutambi ng’aliisa ekigambo kya Katonda n’ateeka ku mikutu gya yintanenti okuli; WhatsApp, Facebook n’emirala, abadde muvubuka ayagalwa olw’enneeyisa ye.

Ono abadde yatikkirwa mu 2016 e Kyambogo era olwamala okutikkirwa n’agenda mu Amerika awali abamu ku ba famire ye. Kigambibwa nti, alina omuwala Munnayuganda omulungi lwondo gwe yafuna mu Amerika, essuubi lye lyonna ery’obulamu obw’omu maaso, abadde yaliteeka mu ye, era kigambibwa nti, buli bazadde be lwe babadde bamubuuza ku nteekateeka z’okuwasa ng’abagamba kimu ‘Mukama yansalirawo dda’.

Omuwala gwe yali ateekateeka okuwasa yalinnya ennyonyi n’akomawo mu Uganda ng’amugambye nti yali azze kulaba ku famire ye kyokka wakati mu wiiki ewedde, yafuna amawulire nti muganzi we yali ateekateeka kwanjula. Okusinziira ku nsonda bino teyasooka kubikkiriza wabula kyamumaze enviiri ku mutwe bwe baamusindikidde ebifaananyi by’omukolo.

Abaserikale ba poliisi y’e Boston abaayitiddwa okutwala omulambo bwe baamukebedde baamusanzeemu essimu. Mu ssimu eno mwe baasanze ebifaananyi by’omuwala ng’ali ku mukolo gw’okwanjula omusajja mu maka ga bakadde be. Yabadde ayambadde gomesi emmyufu ng’alabika yenna musanyufu n’engeri omukolo gye gwabadde gutambulamu.

Omubuulizi w’enjiri Ssajjabbi yategeezezza abagoberezi nti, enteekateeka z’okukungubagira Ayinza zaabadde zigenda kubategeezebwa oluvannyuma kyokka teyalambise oba omulambo gwakukomezebwawo muUganda oba gwabadde gwa kuziikibwa mu limbo e

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sema 220x290

Mesach ekivvulu kimuwuuba

OMUYIMBI Mesach Ssemakula amanyiddwa nga Golden Papa kati gwe baawadde n’ekitiibwa kya ‘‘Sir’’ bw’oba omunoonya...

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka

Siralexferguson1132188 220x290

Aba ManU bampisaamu amaaso - Sir...

EYALI omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ayogedde ku mbeera eyali ttiimu ye gy'erimu n'agamba nti ekwasa ennaku....