TOP

Maximo Van Pee yeefuse Ddigi

By Dickson Kulumba

Added 31st July 2018

Maximo Van Pee yeefuse Ddigi

Set1 703x422

OBUNKENKE, essanyu n'emizira byabuutikidde ekisaawe kya ddigi e Busiika ku luguudo oludda e Gayaza ku Ssande, abavuzi 75 bwe baabadde balwanira obubonero ku ngule z'eggwanga ez'enjawulo n'ebifo ku ttiimu y'eggwanga egenda okukiika mu mpaka za Afrika. Abavuzi obwedda buli ajja ku kisaawe alaga nti ddala agwanidde okubeera ku ttiimu egenda e Zambia.

Baabuusizza ddigi nga kwe bagasse n'okukola obukolomooni obw'enjawulo obwedda obukubya abantu enduulu mu ngeri y'okubawagira n'okubalaga nti kye bakola kisaanye okusasulirwa ssente okubalaba. Omwezi ogujja ku wiikendi ya 17-19, Uganda yaakutwala ttiimu y'abavuzi 35 e Lusaka, Zambia awagenda okubeera empaka za Afrika.

Uganda y’erina engule ya Afrika ng’omwaka guno eyagala kugyeddiza. Buli muvuzi eyamalidde mu bifo ebisatu ebisooka mu mutendera gwe, yayiseewo okugenda ku ttiimu.

Okusinziira ku kapiteeni wa Uganda, Maxime Van Pee, abavuzi bonna be balina kwe bagenda okulonda, balungi era basobola okuyamba ttiimu okweddiza ekikopo. “Abavuzi abamu bamaze wiiki nga batendekebwa Neil Van Der Ross okuva e South Afrika era mbalinamu obwesigwa.

Buli agenda okulondebwa ajja kuba atuukiridde okwambala omujoozi gwa Uganda mu mpaka ez’amaanyi,” Van Pee bwe yagambye. Van Pee, ye yawangudde omutendera gwa bakafulu (MX1), Fatuh Kiggundu (MX2), Alestair Blick (MX125cc), Fortune Ssentamu (MX85), Jeremiah Walugembe (MX65) ne William Blick Jr mu guddirira abato (MX50cc). Ramathan Mubiru, ye yawangudde mu bato (Peewee).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba

Muwanga1 220x290

Eyalumbye owa difensi akwatiddwa...

Ono omusango gw’okutta agwegaanye ng’agamba yabadde agenze kumukangamu.

Bp 220x290

Temuva mu ddiini za bakitammwe...

Omulabirizi eyawummula owa Central Buganda, George Ssinabulya yennyamidde olw’abaana abasuulawo eddiini bazadde...

Kip2 220x290

Muzeeyi otubuzeeko!

Muzeeyi otubuzeeko!

Bash1 220x290

Obunkenke nga Bashir atwalibwa...

Olwamusomedde emisango tebaamuganyizza kwennyonnyolako, omulamuzi n’amuwa wiiki emu ng’amaze okuteekayo okwewozaako...